She Cranes yeetegekera za Afrika

By Gerald Kikulwe

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika

Shecraneswebnew 350x210

 

EKIBIINA ekifuga omuzannyo gw’okubaka mu Uganda (UNF) kigobye abatendesi  ba ttiimu y’eggwanga, eya She Cranes, ne kisalako n’abazannyi basatu, nga beetegekera empaka za Afrika ezigenda okubeera mu South Afrika, omwezi ogujja.

Vincent Kiwanuka, abadde omutendesi omukulu, n’omumyuka we Nelson Bogere baagobeddwa ne basikizibwa Rashid Mubiru ng’amyukibwa Robert Kisitu. Kiwanuka ne Bogere be baali ne She Cranes mu World Cup eyali mu kibuga Liverpool mu Bungereza, mu July.

Ku Mmande , She Cranes yatandise okutendekebwa ku MTN Arena e Lugogo, nga yeetegekera okweddiza ekikopo kya African Netball Championship.