Bamweyana ne Bayo bakamirwa bina

By Gerald Kikulwe

Douglas Bamweyana ne Fahad Bayo balaze nti be bannantawunyikamu mu butendesi n'okucanga akapiira mu StarTimes Uganda Premier League

Bamweyanaweb 350x210

 

OMUTENDESI wa Maroons FC, Douglas Bamweyana n’omuteebi wa Vipers, Fahad Bayo, basitukidde mu birabo by'abasinze okukola obulungi mu September, mu StarTimes Uganda Premier League.

Bamweyana yayambye Maroons  okufuna wiini 3 mu September, nga yamezze Edward Kaziba owa Villa, sso nga Bayo, eyateeba ggoolo 3 mu mwezi gwe gumu, y’amezze David Owori (Villa) ne Steven Mukwala owa Maroons.

Bombi kkampuni ya Nile Breweries, ng'eyitira mu Pilsner Lager, ogumu ku myenge gye basogola, yabawadde ebirabo ne 1,000,000/- .

 ayo nekirabo kye yawangudde Bayo n'ekirabo kye yawangudde

 

“Ekirabo kino kibadde kinsaana kuba nkikoleredde, era ng’enda kwongeramu amaanyi sizoni yonna okulaba nga ggoolo nziteeba,” Bayo bwe yategeezezza.