Obuvune bulemesezza Mutyaba ogwa Burundi

By Musasi wa Bukedde

Cranes yeetegekera kudding'ana ne Burundi mu z'okusunsulamu abalizannya CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

Muzamirmutyaba1 350x210

Lwamukaaga mu za CHAN

Cranes – Burundi, Lugogo 10:00

ABAWAGIZI ba Cranes, ababadde beesunga okulaba ku ssita waabwe Muzamir Mutyaba nga badding’ana ne Burundi, tebagenda kumulabako. Mutyaba yafunye obuvune.

Mu kifo kye, omutendesi Abdallah Mubiru yayitiddemu Chrizestom Ntambi owa Wakiso Giants ne Ibrahim Orit owa Mbarara City. Mutyaba y’omu ku basinga okuba n’obumanyirivu ku ttiimu eno kuba yaakazannya ez’akamalirizo emirundi ebiri.

Mubiru yagambye nti wadde abazannyi bano bagenda kubasubwa, balina abalala abalungi era abasobola okuziba ebituli byabwe.

Cranes yeetegekera kudding'ana ne Burundi mu z'okusunsulamu abalizannya CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

“Burundi okugikuba omwayo tekigifuula nnafu kubulwako kyekola e Lugogo. Abawagizi batulinamu obwesige era tetugenda kubayiwayo,” Mubiru bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okutendekebwa eggulo e Lugogo. 

 serunkuuma ku kkono ne evita be bamu ku bali ku ttiimu ya han Sserunkuuma (ku kkono) ne Revita be bamu ku bali ku ttiimu ya Chan.

 

Mu luzannya olwasooka mu Burundi, Cranes yawangula ggoolo 3-0 nga mu nsiike y'Olwomukaaga e Lugogo yeetaaga maliri gokka, oba okugikuba ggoolo 2-0 eyitewo.

Mubiri yeegattiddwaako omuteebi Sulaiman Mutyaba, eyagambye nti bakimanyi bulungi nti omulimu tegunnaggwa kubanga ekiruubirirwa kyabwe kya kugenda mu CHAN.

"Omulimu tetunnagumaliriza,nze ne bannange tukimanyi nti enkizo y'okubeera awaka n'obuwanguzi obwasooka tulina kubizimbirako buzimbi, si kugayaala," Mutyaba, omu ku baateebera e Burundi, bwe yategeezezza. Mu gwasembye okuzannya mu ne kiraabu ye eya KCCA, yateebye ggoolo 3 nga bawuttula Onduparaka 4-0 mu liigi.

Abazannyi 23 be baatendekeddwa ku Mmande .Chrizestom Ntambi ne Allan Kayiwa abaabadde ne ttiimu enkulu eyawangudde Ethiopia 1-0 mu gw'omukwano ku Ssande, baakomyewo eggulo akawuungeezi, sso nga ensonga eyalemesezza Karim Watambala okwegatta ku banne teyategeerekese.