Mutumbule emizannyo - Ssekandi

By Muwanga Kakooza

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola ag'enjawulo e Masaka beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro.

Vp1 350x210

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi akubiriza abakwatibwako okwongera amaanyi mu kutumbula omuzannyo gw’okusamba omupiira gw’abawala  ogw’ebigere ng’agamba nti gwongedde okukwata akati ennaku zino ng’ogw’abasajja.

Ssekandi yawadde eky’okulabirako nti ky’ekiseera okutandikawo ‘akademe’ ezitendeka abawala abato okusamba omupiira kyongere  mu kunoonya ebitone mu ggwanga.

Bino yabyogeredde mu kuggulawo empaka z’emizannyo gy’abavubuka mu Bukoto Central e Masaka egya ‘Edward Kiwanuka Youth Sports Tournament’.

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola  Kyesiiga, Kabonera ne Kyananamukaaka e Masaka  beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro mu ggombolola y’e Kyesiiga.

Empaka zino zaabaddemu abavubuka abalenzi n’awala okusamba omupiira, okubaka,okuvuga obugaali n’emirala. Era abawanguzi mu mupiira baafunye ekirabo kya 500,000/- emijjoozi, emipiira esatu  n’emidaali.Abawangudde okubaka  bafunye 400,000/-, ate eyawangudde empaka z’obuggaali n’afuna 300,000/-

SSekandi yagambye  nti omupiira gw’ebigere gwe gumu ku mizannyo egisinga okulabwa abantu mu Uganda era abawala abagusamba tebasaanye kulekebwa mabega.

Yebazizza akulira kkampuni ya ‘ Xabo Group of Companies, Dr. David Alobo,  olw’obuyambi bwe yawaddeyo mu kutegeka empaka ezo ezakung’anyzizza abavubuka okuva mu bitundu  by’e Bukoto.

Ssekandi yagambye nti ebyemizannyo bikola kinene mu kukuuma abantu nga balamu bulungi mu mibiri kuba bibagobako endwadde . N’agamba nti ng’ogyeko ekyo ebyemizannyo era bireeta ensimbi nga kati bisinga n’emirimu gy’abasiba amataayi  kwe kutemya ku bantu okutandikawo ‘akademe’ z’okutendeka abawala okusamba omupiira kuba n’ogwabwe gutandise okujjumbirwa.          

Dr. David Alobo  yagambye nti musanyufu olw’abavubuka okwenyigira mu mizannyo gino nga bayitira mu kibiina kya ‘Bukoto Central Youth Link’ era n’asiima Ssekandi  olw’okuyamba b’e Bukoto okutumbula ebyenfuna.