Ssimwogerere ataanziddwa emitwalo 50

By Ismail Mulangwa

Guno mulundi gwakubiri nga Express ekaligibwa olw'okulagira ba bbooloboyi okugya emipiira ku kisaawe.

Simwogerere6 350x210

AKAKIIKO ka FUFA akakwasisa empisa aka ‘FUFA Disciplinary Panal’ (CDP) katanzizza omutendesi wa Express, George Ssimwogerere 500,000/-, lwa kulagira abaana abawereza emipiira okugigya ku kisaawe.

Abakungu ku kakiiko kano bagamba nti, nga October 4, 2019 mu mupiira Express mwe yawutulira Police FC ku kisaawe e Wankulukuku ggoolo 5-3, omupiira bwe gwatuuka mu ddakiika 58 Ssimwogerere yalagira babooloboyi okutandika okukweka emipiira nga bwe batwaliriza ku budde.

simwogerere ngawa abazannyi obukodyoSsimwogerere ng'awa abazannyi obukodyo.

 

Ssimwogerere oluvannyuma lw’ekibonerezo ekyamuwereddwa, yalabuddwa obutaddamu kikolwa kino nga singa anaakikola, waakugobwa ku ntebe y’obutendesi omupiira atandike kugulabira mu bawagizi.

Guno mulundi gwakubiri nga ttiimu ekaligibwa ng’ogwasooka baali battunka ne Mbarara City mu sizoni ya 2017/18 ne balagirwa okusasula 1,000,000/- wadde ng’omupiira baguwangulira ku ggoolo 1-0. Mu kiseera kino Express ekwata kifo kya 11 n’obubonero 10.