Cranes yaakutambulira mu Bombardier

By Silvano Kibuuka

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso mu mpaka ezisunsula abalizannya eza Afrika.

Fufaafconprepsoct23bukedde6 350x210

FUFA epangisizza ennyonyi ya Uganda Airlines empya (Bombardier) okutwala ttiimu ya Cranes e Burkina Faso basambe omupiira ogusooka ogw’okusunsula abanaasamba ez’akamalirizo eza AFCON Cameroon 2019.

Yaakubalinda n’okubazza basobole ate okwetegekera ogwa Malawi oluvannyuma lw’ennaku ssatu zokka mu kampenyi y’emu.

Entegeka zino zanjuliddwa Mengo ku kitebe kya FUFA bwe babadde batongoza kampeyini eno okusobozesa Uganda okuddayo mu African Cup of Nations omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa nga zirangiriddwa akola nga pulezidenti wa FUFA, Justus Mugisha abadde n’omutendesi John Mckinstry, omukwanaganya wa Cranes Decolas Kiiza ne Darias Mugoye omumyuka wa pulezidenti wa FUFA (asooka kati).

Bano balangiridde nti FUFA etaddewo ebifo 30 ku Bombardier eby’abawagizi abanaagenda ne Cranes e Burkina Faso nga baakusasula doola 1500 batambule ne Cranes wamu n’okusula ku wooteeri y’emu era ne tikiti okuyingira ekisaawe.

“Tusazeewo okupangisa ennyonyi kubanga olunaamala okusamba Burkina Faso nga November 13 tujja ate kusamba Malawi nga November 17 ekitegeeza tulina okudda e Kampala nga bukyali,” Mugisha bwe yategeezezza.