Ttimu y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi eyingidde enkambi

By Stephen Mayamba

Ttiimu y'eggwanga eya Crested Cranes eyingidde enkambi okwetegegera empaka za CECAFA

Crestedwebnew 350x210

CRESTED Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, eyingidde enkambi okwongera okwetegekera empaka z’amawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika.

Ku Mmande, omutendesi Farida Bulega, yalangiridde abazannyi 27 abagenda okutandika okwetegera CECAFA Women Challenge Cup 2019 , ez’okubeera mu kibuga Dar es Salaam e Tanzania okuva nga November 14.

Amawanga munaana ge gakakasizza okwetaba mu mpaka z’omwaka guno, nga Uganda eri mu kibinja B ne Kenya, Ethiopia ssaako Djibouti. Abategesi aba Tanzania era nga be baziwangudde emirundi ebiri egiyise (2016 ne 2018) bali mu kibinja A omuli Burundi, Zanzibar ne South Sudan.

Abazannyi abagenze mu nkambi;

Baggoolokipa; Ruth Aturo, Irene Paska Akiteng ne Daisy Nakaziro

Abalala kuliko; Viola Namuddu, Shadia Nankya, Bridget Nabisaalu, Marion Amangat, Stella Musubika, Eunice Ariokot, Grace Aluka, Aisha Namukisa, Asia Nakibuuka, Harriet Nakkuba,  Phiona Nabumba, Amina Nababi, Fauzia Najjemba, Hasifa Nassuna, Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Rashidah Nankya, Resty Nanziri, Zainah Namuleme ne Shamirah Nalugya.