Kiwanuka aweze okuwumiza Omuzimbabwe

Omuggunzi w'eng'uumi Shafic Kiwanuka ali mu kutendekebwa okwa kaasammeeme nga yeetegekera okulwana n'Omuzimbambwe

  Kiwanuka ng'akajjuza

Bya Fred Kisekka

OMUGGUNZI w'eng'uumi, Shafic Kiwanuka, ayongedde ebirungo mu kutendekebwa nga yeetegekera okuttunka n'Omuzimbabwe Dube Thamsanq.

Kiwanuka, eyakazibwaako erya ‘The Killing Machine' (ekyuuma ekissi) essira asinze kuliteeka ku  kusitula bizito n'okukajjuza,  ky'agamba nti kyakumuwa amaanyi agakuba  Omuzimbabwe eng'uumi egenda okumwebasa ku ttaka.

 iwanuka ku kkono ngattunka ne unnakenya avid amara mu lulwana olusembyeyo Kiwanuka (ku kkono) ng'attunka ne Munnakenya David Kamara, mu lulwana olusembyeyo

 

Yasangiddwa Katwe ng'asituula mipiira gya tulakita ng'eno gye yaweredde bw'amaliridde okumizza omuzibabwe omusu kuba amwetegekedde.

 Ababiri bakuttunkira omusipi gwa ‘WBF Heavy Weight title' nga November 29, ku International University of East Africa e Kansanga.