Blick alidde engule ya October

By Ismail Mulangwa

Arthur Blick Jr yasooka kuwangula mpaka z'e Garuga n'azaako ez'e Hoima omwezi oguwedde.

Isma1 350x210

Arthur Blick Jr kafulu wa mmotoka z’empaka awangudde engule ya October eya ‘Real Stars Sports Awards’.

Ono yamezze banne okuli; Hassan Alwi ne Rajiv Ruparelia bwe baasinga okulaga omutindo omulungi mu mpaka z’e Hoima omwezi oguwedde. Mu mwezi gwe gumu, yawangula n’empaka z’omu bisaawe (sprint) ezaali e Garunga.

 lick  ngavuga e oima Blick ng'avuga e Hoima.

 

Blick ye yawangula empaka z’e Hoima eza Total Kabalega Rally nga kino kyatangaza n’emikisa gye okusitukira mu ngule y’eggwanga eya NRC. Ali mu kyaakubiri n’obubonero 385 ng’akulembedde Yassin Nasser alina 415. Ku ngule y’ez’omu bisaawe, Blick yaakulembedde n’obubonero 75.

Engule eno, Blick yagitonedde abawagizi be bwe yagambye nti, “Singa si bawagizi saandituuse ku buwanguzi mu mpaka mwe nneetabye omwezi oguwedde era nbasuubizza sigenda kubayiwa ne mu mpaka eziddako e Nakaseke.”