Abawala baakwabika mu ddigi

By Ismail Mulangwa

Ku Aminah Zawedde, Esther Mwangala ne Shadia Kateete n'anaavugiza ddigi ye obukodyo obusinga, waakusitukira mu ngule y'omwaka guno.

Shadia 350x210

BANNABAWALA basatu; Aminah Zawedde Mayanja, Shadia Kateete ne Esther Mwangala bakwabika ebifuba mu mpaka za ddigi ezaakamalirizo eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship’ laawundi eyoomusanvu ezigenda okubeera e Garuga nga November 24.

Bano bavugira mu mutendera ogwookuna (MX85cc) wabula ng’anaakola ennyo mu mpaka eziddako, yajja okusitukira mu ngule eno.

Zawedde yaakulembedde n’obubonero 102 ng’asinga Shadia Kateete obubonro 27 bwokka ate Mwangala owookusatu bamusinga 42. Kateete awaga nti waakusitukira mu ngule eno kuba talina kyatya ku banne bwe bavuganya.

 ateete ku ddigi Kateete ku ddigi.

 

“Ndi mugumu nti ng’enda kuwangula engule eno kuba nfunye obukodyo obw’enjawulo n’amagezi okuva eri mukulu wange Sharifah Kateete.” Kateete bwe yagambye.

Empaka zino zaatumiddwa ‘Grand Finale’ nga zigenda kwetabwamu abavuzi bonna nga balwanira obubonero ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo.