Bapulo beegase ku Cranes

By Ismail Mulangwa

Emmanuel Okwi, Khalid Aucho, Allan Kyambadde, Robert Odong’kara, Tadeo Lwanga ne Hassan Wasswa be batendekeddwa ne Cranes wadde nga tebagenda kuzannya e Katakwi.

Cranes4 350x210

Lwamukaaga

North Eastern - Cranes, Katakwi Ground

OMUTENDESI wa Cranes Jonathan McKinstry atenderezza abazannyi be olw’okwolesa omutindo omulungi mu kutendekebwa okubadde e Lugogo.

Cranes ey’abaguzannyira awaka yetegekera okuttunka ne ttiimu ya North Eastern mu kampeyini ya Cranes na mutima egenda okubeera e Katakwi.

Mu nkola eno, eyambako omutendesi okulaba abazannyi basobola okukozesa naddala nga balina empaka ze beetegekera. Cranes yeetegekera mpaka z’okusunsulamu abalizannya AFCON ate nga n’abazannyira wano beetegekera CHAN.

 asswa ku ddyo ngattunka ne ucho mu kutendekebwa u kkono ye cinstry Wasswa (ku ddyo) ng'attunka ne Aucho mu kutendekebwa. Ku kkono ye McKinstry.

 

Mu kutendekebwa okubadde e Lugogo, abazannyi abaguzannyira ebweru w’eggwanga na bo batendekeddwa n’abazannyira awaka. Emmanuel Okwi, Khalid Aucho, Allan Kyambadde, Robert Odong’kara, Tadeo Lwanga ne Hassan Wasswa be batendekeddwa wadde nga tebagenda kuzannya e Katakwi.

Mc Kinstry yategeezezza nti, “Omukisa ng’enda kuguwa abaana abazannyira awaka ndabe beensobola okugatta ku bazannyira ebweru okufuna ttiimu ey’amaanyi.”

Abazannyi abagenze ne Cranes e Katakwi kuliko; Charles Lukwago, James Alitho, Paul Willa,  Halid Lwalilwa, John Revita, Paul Mbowa, Nicolas Kasozi, Shafiq Kagimu ne Hassan Senyonjo

Abalala ye; Muzamiru Mutyaba, Allan Okello, Bright Anukani, Joachim Ojera, Vianne Sekajugo, Allan Kayiwa, Joel Madondo, Fahad Bayo , Ashraf Mandela ne Edrisa Lubega.