Acupula ggaasi afumba bamusanze mu Kikoni

By Ponsiano Nsimbi

POLIISI ekutte agambibwa okufera abantu ng’abaguza ggaasi ne ‘sirinda’ ez’ebicupuli.

Amanya1 350x210

Bya PONSIANO NSIMBI
 
POLIISI ekutte agambibwa okufera abantu ng’abaguza ggaasi ne ‘sirinda’ ez’ebicupuli.
 
Joseph Amanya 26, omutuuze w’e Ntinda yakwatiddwa poliisi y’e Makerere - Kikoni oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu kkampuni ezitunda ggaasi n’abatuuze.
 
Amanya yakwatiddwa ku Lwomukaaga ku luguudo lwa Sir Apollo okuliraana essundiro ly’amafuta erya Oli Com w’abadde akolera.
 
Yasangiddwa ne ‘sirinda’ 28 eza ggaasi wa kkampuni ez’enjawulo mu sayizi ez’enjawulo okuli Petrol City, Shell, Olibay, Mogas, Hass ne Mt. Meru ng’ono ye yavuddeko okukwatibwa.
 
Daud Kakeeto akulira ebikwekweto mu kkampuni ya Mt. Meru yategeezezza nti baludde nga bafuna okwemulugunya okuva mu bakasitoma baabwe mu kitundu kino kwe kutandika okusula enkesi okutuusa lwe baakutte Amanya.
 
Elly Ocheny munnamateeka wa Mt. Meru yagambye nti mu bbanga lya mwezi gumu
babadde baakafuna abantu basatu nga beemulugunya ku ggaasi waabwe era baagenzi
okuzuula nga Amanya alina abantu abalala b’akolegana nabo mu bitundu eby’enjawulo.
Yayongeddeko nti ‘sirinda’ yaabwe eya kkiro mukaga bagitunda 75,000/- kyokka nga
Amanya ggaasi owuwe amutunda 30,000/-.
 
Luke Owesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yakakasizza okukwatibwa kwa Amanya n’ategeeza nti, yagguddwaako omusango gw’okucupula ebintu
ku fayiro SD:15/02/11/2019.