Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna

By Musasi wa Bukedde

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Kylianmbappe1 350x210

Kigambibwa nti Real Madrid etegeka okumugula pawundi obukadde 340 okuva mu PSG eya Bufalansa mu June w’omwaka ogujja.

Omutendesi wa Real, Zinedine Zidane aludde ng’ayagala Mufalansa munne ono nti y’asobola okuzza ttiimu engulu era pulezidenti wa Real, Florentino Perez yakkirizza okuzimuwa.

Neymar y’alina likodi y’okugulwa ssente ennyingi, PSG bwe yasasula pawundi obukadde 198 okumuggya mu Barcelona