'Temweyambisa bikonde mu bumenyi bw'amateeka

By Moses Lemisa

Abazannyi b'ebikonde balabuddwa okukomya omuze gw'okubyeyambisa mu bumenyi bw'amateeka

Boxingweb 350x210

ABAKUBI b’ebikonde balabuddwa  obutabikozesa mu bumenyi bw’amateeka wabula okubifuula omulimu ogujja okubatuusa ku  birungi.

Lawrence  Kalyango, omutendesi  Copab Boxing Club, yagambye nti abantu abakyamu abeeyambisa ebikonde mu bumenyi bw’amateka be babireetera okuvumaganyizibwa, n’abazadde okutiisa abaana baabwe okubyetabamu, sso nga muzannyo mulungi nnyo.

Yabadde mu mpaka ezaategekeddwa ttiimu ez’enjawulo okwongera okuwawula abazannyi baabwe, ezaabadde ku bbaala ya Just Life e Mulago ku Ssande. Kiraabu mwabaddemu; Police, Kyebando , Copab, Kololo n’endala.   

Waasooseewo abazannyi abali wansi w’emyaka 20, n’oluvannyuma abakulu ne baddawo.

Oluzannya olwasinze okucamula abawagizi lwabaadde wakati wa Rajab Kibira (Kololo), omukinjaagi mu Lufula y’oku Kaleerwe ne Jamir Bullet Bullet (Rhino),  omusuubuzi w’amatooke mukifo kye kimu, nga buli ayagala okulaga munne nti yasinga.