Kalenda ya ddigi egaddwa mu sitayiro

By Ismail Mulangwa

Fortune Ssentamu ne Maxim Van Pee beeyabizza ebifuba nga buli omu ayagala okukakasa abawagizi be nti wa mutawaana.

Round7 350x210

LYABADDE ssanyu gyerere ng’abavuzi ba ddigi baweebwe engule zaabwe mu mitendera egy’enjawulo oluvannyuma lw’okumaliriza empaka za laawundi eyasembyeyo ku kalenda eggulo e Garuga.

 bawagizi nga beekubya ne sentamu ebifaananyi Abawagizi nga beekubya ne Ssentamu ebifaananyi.

 

Enduulu yabutikidde e kisaawe nga Fortune Ssentamu ne Maxim Van Pee baabika ebifuba mu lukontana olwasembyeyo oluvannyuma lwa Ssentamu okumalirizza enkontana ze (3) mu mutendera mw’avugira.

 an ee ngagoba sentamu Van Pee ng'agoba Ssentamu.

 

Obwedda Ssentamu akola obukodyo mu bbanga n’atuuka n’okubuusa ddigi  mitti saako n’okukuba Van Pee amataala ekintu egyaggye abawagizi be mu mbeera ne batuuka n’okwebuuza nti bulijjo omutindo guno agutekawa.

 sentamu ngayisizza li mar Ssentamu ng'ayisizza Ali Omar.

 

Mitendera emirala egy’asinze okukwata abawagizi omubabiro kwabaddeko ogw’abato MX50cc, Ogwokuna MX85cc, Ogwokutaano MX65cc era Gift Ssebuguzi, Pascal Kasozi, Miguel Katende, Waleed Ali Omar, William Blick, Ashraf Mbabazi ne Isaiah Larry Ssekamwa bavudde e Garuga nga bali omu abatenda.

 ift sebuguzi mu bbanga Gift Ssebuguzi mu bbanga.

 

 kuva ku ddyo ye iguel atendeshraf babazi ne alha ateete ku kkono Okuva ku ddyo ye Miguel Katende,Ashraf Mbabazi ne Talha Kateete ku kkono

 

Abawanguzi bawereddwa ebirabo eby’enjawulo okuva mu Ntende Properties, Shell ne Mountain Dew. Ashrah Mbabazi Jr yawangudde mu MX50 Jr, Miguel Katende (MX50cc), Gift Ssebuguzi (MX65cc), Waleed Ali Omar (MX85cc), Isabella Blick (65cc), Aminah Zawedde (MX85cc), Wazir Ali Omar (125), Sharifa Kateete (125) ne Maxim Van Pee (MX1).