Abembogo bacacanca lwa muvujjirizi

By Moses Kigongo

Ttiimu y'Ekika ky'Embogo amaliridde okweddiza Engabo y'emipiira gy'Abaganda

Mbogoweb 350x210

ENJOGERA egamba nti ‘alina yayongerwako’, yatuukidde bulungi ku ttiimu y’Ekika ky'Embogo oluvannyuma lw'abavujjirizi baayo, aba MK Publishers okubakakasa nga bwe bagenda okwongera okubateekamu ssente sizoni ejja.

Embogo ye nnatameggwa w'empaka z’Ebika oluvannyuma lw'okukuba Ekkobe ggoolo 1-0 ku fayinolo eyali e Masaka.

Ku Mmande, abakungu ba ttiimu eno  abaakulembeddwa  kapiteeni Henry Kiwanuka ne Shemmy Ssenkatuuka, ssentebe,  baagenze mu MK Publishers okubanjulira Engabo mu butongole n’okubasiima okubateekamu ssente ezaabasobozesa okugiwangula.

"Tugenda kwongera okubateekamu ssente ng'akabonero k'okubasiima n'okubazzaamu amaanyi aganaabasobozesa okuddamu okweddiza Engabo eno,” Samuel Majwega, ssentebe wa MK Publishers, bwe yeeyamye.