Ekyamazima ManU yatusinze eddiba - Guardiola

By Musasi wa Bukedde

Pep Guardiola, atendeka Man City akkirizza nga ManU bwe yasinze ttiimu ye okuzannya obulungi ku Lwomukaaga n’anokolayo Marcus Rashford ne Anthony Martial nti baasukkiridde nnyo abazibizi be.

Guardiolaworried 350x210

MAN UTD YATUSINSE – GUARDIOLA

Man City 1-2 ManU

ManU yawangudde (2-1) mu mupiira abatunuulizi gwe baagambye nti gwawadde Liverpool ekikopo kya Premier. Liverpool erina obubonero 46 ate Man City 32 mu mipiira 16.

Rashford ne Martial be baateebedde ManU ate Nicolas Otamendi n’awonya bannyinimu okuvaayo engalo ensa.

“Tujja kuzannya emipiira gyonna nga tetulowooza ku muwendo gwa bubonero Liverpool bw’etusinza. Twatuuse mu bookisi ya ManU emirundi mingi naye ne tulemwa okuteeba kyokka twazannye bulungi,” Guardiola bwe yategeezezza ng’omupiira guno gwe baakyazizza guwedde.

Wabula yagasseeko nti, “ManU erina abazannyi aba sipiidi nga Rashford ne Martial. Olumu osobola okubakuuma ate oluusi bakulema. Leero batulemeredde. Enzannya yaffe ya kunyigiriza mulabe nga twerinda okutuzinduukiriza naye ManU etusobodde olw’abazannyi abalungi b’erina.”