Oweebikonde bamutulisizza omumwa

Alistair Overeem 38, yasubiddwa engule y’ensambaggere, Jairzinho Rozenstruik bwe yamusooberedde n’amuwumiza eng’uumi n’emuyuza omumwa, ddiifiri n’ayimiriza omuzannyo gwe yabadde akulembedde mu bubonero.

Alistair Overeem

Bino byabaddewo ku Ssande mu kibuga Washington DC ekya Amerika, abazannyi bombi bwe baabadde battunka mu bikonde n'ensambaggere (martial arts) wansi w'empaka za UFC.

Overeem, alina obutuuze bw'e Bungereza ne Budaaki, yazannye bulungi laawundi ezisooka wabula ng'eyookutaano ebulako obutikiti buna okuggwaako, Jairzinho yamusooberedde n'amukuba eng'uumi ku mumwa n'emusuula ku ddimwa, ddiifiri Dan Miragliotta okumukebera ng'emuyuzizza omumwa ogwa waggulu omusaayi gufuuwa ng'ente esaliddwaako obulago.

Ddiifiri yayimirizza omuzannyo Jairzinho n'ajaganyiza obuwanguzi wadde ng'oluvannyuma Overeem yeemulugunyizza nti ddiifiri yapapye okusazaamu olulwana lwe.

Bo abalamuzi b'ensiike eno bonna baabadde balaga nti Overeem yabadde akyakulembedde.