Anthony Joshua addamu kuzannyira ku butaka

By Musasi wa Bukedde

Kyampiyoni w’ensi yonna ow’ebikonde mu buzito bwa babinywera ow’ekibiina kya WBA, Anthony Joshua akkirizza okuddamu okulwana nga May w’omwaka ogujja tannayita.

Joshuaruizjr 350x210

Omungereza ono waakuzannyira mu kisaawe ekipya ekya Tottenham (Spurs) e London ekya Bungereza nga waakuttunka ne Kubrat Pulev oba Oleksandr Usyk abagenda okukubagana nga February tannaggwaako.

Joshua yamezze Andy Ruiz Jr, enzaalwa y’e Mexico mu bikonde by’okudding’ana ebyabadde e Saudi Arabia ku Lwomukaaga ekiro.

Joshua yafunye pawundi obukadde 85 ate Ruiz Jr 13.

Singa Joshua awangula olulwana lw’omu May, waakugwisa bwenyi n’omuwanguzi wakati w’Omungereza Tyson Fury, n’Omumerika Deontay Wilder, nabo abategeka okudding’ana omwaka ogujja.