Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti

By Musasi wa Bukedde

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole Gunnar Solskjaer nti omulimu gugwe bwoya bagenda na kumupokera omusimbi agule bassita abalala ttiimu eggumire.

Olegunnarsolskjaer271019 350x210

Solskjaer abadde asulirira kugobwa oluvannyuma lw’okulemwa okuwangula ku mipiira 2 egiddiring’ana sizoni eno.

Wabula yakubye Spurs ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ne kyampiyoni Man City ku Ssande, n’akomyawo essuubi lyayo okumalira mu ‘Top 4’.

Abagagga Joel Glazer ne Avram Glazer, bagambibwa nti baasisinkanye Solskjaer ku Mmande ne bamukakasa nti y’asobola okutwala ttiimu mu maaso ne bamusaba atandike n’okunoonya abazannyi abayinza okumwongerako.

Solskjaer, enzaalwa y’e Norway, yayongedde amaanyi mu kuperereza munnansi munne, omuteebi Erling Braut Haaland owa Salzburg sso nga era ayagala kukansa muwuwuttanyi Saul Niguez okuva mu Atletico Madrid eya Spain.

ManU eri mu kyakutaano mu Premier ku bubonero 24 mu mipiira 16. Chelsea eyookuna erina 29 mu mipiira gye gimu.