Tooro United bagikecuddeko obubonero 3!

By Gerald Kikulwe

TOORO United FC mu liigi y’eggwanga eya babinywera byongedde okujonoonekera, olukiiko olukwasisa empisa mu FUFA bwe lubasazeeko obubonero busatu ne ggoolo ssatu olw’okulemererwa okuzannya omupiira gwabwe ogwagguddewo ekitundu kya liigi ekyokubiri sizoni eno.

Onduparaka 350x210

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno (January 7), Tooro yali ekyazizza Onduparaka FC mu Star Times Uganda Premier League wabula ku kisaawe kwaliko abazannyi bana bokka aba Tooro nga tebasobola kuzannya Onduparaka eyalina abazannyi 9.

Mu mateeka g’omupiira, ttiimu okukkirizibwa okuzannya omupiira erina okuba ng’eweza abazannyi abatakka wansi wa musanvu.

Wano akakiiko akakwasisa empisa mu FUFA nga kakulembeddwaamu ssentebe Deo Mutabaazi we kasinziiridde okuwa Onduparaka obubonero busatu ne ggoolo ssatu oluvannyuma lwa Tooro okulemererwa okuwa ensonga erimu eggumba.

“Okusinziira ku tteeka lya FUFA nnamba 26(3), ttiimu bbiri nga tezinazannya mupiira, ba kapiteeni bawaayo Layisensi z’abazannyi abasukka mu mukaaga nga bayambibwako baddifiri, kino Tooro teyakikola era wano tubasazeeko obubonero(3) ne ggoolo(3) ne biweebwa Onduparaka FC,” Mutabaazi bwe yakakasizza.

Tooro kati yeegasse ku Proline FC ne Police FC abasaliddwaako obubonero sizoni eno olw’okulemererwa okuzannya emipiira gya liigi.