‘Ennyaanya n’entula tubirima ku lusebenju ne tufuna ssente’

By Musasi wa Bukedde

Kino kye kibiina ky'abalimi b'omu kibuga mu disitulikiti y'e Kampala ekyanywa mu birala akendo mu munisipaali y'e Makindye omwaka gwa 2014 era Muky. Janat Museven n’akiwa ekirabo mu kujaguza olunaku lw'abakyala okwali ku ssomero lya Kitebi pulayimale mu May wa 2015.

Lima1 350x210

OKWEGATTA ge maanyi! Baabano abakyala abalimira mu kibuga mu kifo ekifunda abeegattira mu kibiina kya Lusaka Kwewaayo Community Based Organisation abasangibwa e Lusaka mu munisipaali y’e Makindye.

Kino kye kibiina ky'abalimi b'omu kibuga mu disitulikiti y'e Kampala ekyanywa mu birala akendo mu munisipaali y'e Makindye omwaka gwa 2014 era Muky. Janat Museven n’akiwa ekirabo mu kujaguza olunaku lw'abakyala okwali ku ssomero lya Kitebi pulayimale mu May wa 2015.

Florence Katumba, ssentebe w'ekibiina kino agamba; Twatandiikiriza mpola n'abakyala batono mu 2010 nga twegatta okutereka ssente ne tugabana oluvannyuma lw'ebbanga eggere.

Wabula twafuna emisomo egy'enjawulo olwo ne tutandika okukola ebintu omuli okuluka n'okutunga ebivaamu ssente.

Bwe twafuna bammemba abalala ne tugaziwa okutuuka ku 25, ekibiina kyaffe ne tukiwandiisa mu mateeka.

 kakutiya ke balimiramu bwe kafaanana Akakutiya ke balimiramu bwe kafaanana.

 

TUTANDIKA OKULIMA

Mu 2014 nga guggwaako, KCCA yayita abantu ab’enjawulo abaagala eby'okulima okubasomesa engeri gye bayinza okulimira awafunda ne bafunamu ssente.

Twagenda ku kitebe kya munisipaali yaffe e Makindye ne batuyigiriza ennima ez'enjawulo okulimira awafunda omwali okulimira mu Bikata (food towers), obukutiya ne mu mikebe.

Olwava mu musomo twatandikirawo okulima, nnina ka poloti kange okumpi n'awaka aka ffuuti 30 ku 30, kano nakawaayo ne tutandika okulima ebintu ebikula amangu naddala enva endiirwa omuli; ennyaanya, entula, kaloti, sukumawiiki, nnakati, ebbugga, doodo, emboga, bbiriηηaanya, kamulali, kotimiiri, obutungulu n'ebirala ebikula amangu.

Okuva lwe twabisimba, mu bbanga lya mwezi gumu twali tutandise okukungula. Ebintu bye tulima bikulira mu bbanga wakati w'omwezi gumu okutuuka ku myezi esatu.

 

OKUKOLA EBIKATA

Tukuηηaanya ettaka eddungi eriddugavu ne tuteekamu nakavundira, oluusi obusa bw'ente n'enkoko bwe tukazizza ne tubusa ne tulituuma wamu ng'ekikata.

Tufuna ettaka eddungi nga lino tusinga kuliggya mu bifo awakuηηaanyizibwa kasasiro ng'abadde avundiddewo okumala ebbanga ne libeera nga lirimu ebiriisa bingi.

Bwe tulituuma mu bikata, mu makkati g'ekikata tufuna emiti etaano ne tugyetoolooza mu ngeri y'akasiisira mu bugazi bwa ffuuti ttaano ne tuteekamu amayinja g'enkokoto era akatundu kano ke tuyita omutima gw'ekikata. Wano we tuyiwa amazzi agasaasaanira ekikata kyonna.

Ebbali w'omutima tuteekayo ettaka lyaffe liri eriddugavu lye tuba tukuηηaanyizza ne tulituuma mu bugazi bwe tuba twagala olwo ne tulitaayiza n'akatimba wamu n'emiti era mu ngeri y'akasiisira okuliziyiza obutayiika ne tulifukirira bulungi olwo ne tusimbamu ebirime bye tuba twagadde. Sizoni ya buli kaseera, tetulinda budde bwa nkuba.

Ebirime byaffe tubifukirira buli ku makya n'akawungeezi era ffe tetuliiko sizoni, buli kaseera ebirime tubeera nabyo era buli lunaku tutunda.

Olunaku tukozesa ebidomola by'amazzi 20 okufukirira nga buli kimu tukigula 200/- era zino tuzeesonda nga bammemba.