Kooko kati y’aliko akaliibwako

By Edward Sserinnya

Mu kiseera kino kkiro enkalu eya Kooko egula 8,000/-okuva ku mulimi ate embisi kati eri ku 2,800/- kyokka alina Kooko omungi tumugula ku 3,000/-.

Kooko1 350x210

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. EDWARD SSERINNYA awandiise ku Henry Lwanga, omulimi wa Kooko e Kasawo mu Mukono ng’akulaga lwaki y’aliko akalibwako.  

OKULIMA Kooko mu Disitulikiti okuli Mukono, Buikwe ne Kayunga kweyongedde nnyo era ab’eno kizibu okubabuulira ekirime ekirala ekifuna nga Kooko. Mu bitundu ebimu e Mukono batandise n’okutema emmwaanyi nga basimba Kooko nga bagamba kati y’aliko ebifuna.

Kkampuni z’ebweru ze zisinga okumugula ne bagenda ne bamukolamu ebirungo ebigenda ku caayi n’obuwoowo obulala ate oluvannyuma bamuzza kuno ne bamutuguza mu pawuda.

Henry Lwanga, omulimi wa Kooko e Kasawo mu Mukono agamba, kino kivudde ku kuba ng’ekitundu kino kyalabibwa era ne kizuulibwa ng’ekimu ku bitundu ebiddamu Kooko mu Buganda.

 wanga ngalongoosa ennimiro ye eya ooko e asawo Lwanga ng’alongoosa ennimiro ye eya Kooko e Kasawo.

 

OKUKOLA NASSALE N’OKUSIMBA

Ofuna obuveera sayizi ennene, n’oteekamu ettaka eriddugavu nga liyiikayiika nga ssinga oba oluddewo okufukirira terikwata kutta nsigo.

Awo ekiddako kuba kufuna mabeere ga Kooko amalungi g’olaba agasobola okukola ensigo ennungi ate ng’ekuze. Gisimbemu nga ogyebasizza, ejja kukuba emirandira n’okwenoonyeza ekkubo.

Wabula tosimba wala nnyo, otakulako katono kuba bw’ogiteeka wansi ezimu zigaana okumera ate bw’oba okuba ettaka tolina kulikattira kukwata mu kaveera.

Oluvannyuma lwa wiiki bbiri ensigo eba emeze, olwo otandika okugirabirira ng’ofukirira nga buli luvannyuma lwa nnaku ssatu oba ofukirira naye olumu kisinziira ku mbeera y’obudde. Mu nassale ejja kumalamu emyezi esatu n’osimbuliza.

Mu kusimbuliza osima ekinnya ekya ffuuti bbiri ku bbiri obuwanvu n’obugazi, bw’oba olina ebigimusa oyinza okuteekamu obusa oba nnakavundira naye bw’oba tolina ate nga n’ettaka ggimu osimbirawo.

Okuva ku kinnya okutuuka ku kirala olekawo ffuuti 10 ku 10, mu kinnya zzaamu ku ttaka eriddugavu oluvannyuma ggyako akaveera, labirira mu ndabirira eya bulijjo okukuuma nga temuli muddo era oluvannyuma lw’ebiri ekitundu ku myaka esatu ku ttaka eggimu oba onogako Kooko.

Ebbeere kasita liteekako limala emyezi mukaaga ne likula n’oba ng’osobola okunoga n’okulya.

OKUKUNGULA N’OKUTUNDA

Kasita onogako ebbeere erikuze era likyusa langi ne lifuuka erya kyenvu naawe oba omulaba ng’akuze. Okikoona n’oggyamu ensigo n’ekitima tebakitwaliramu batwala nsigo zokka. Wabula ekirungi ekibaawo, amabeere ago omuva Kooko ate osobola okugakozesa mu nnimiro kubanga gavunda mangu olwo ne kifuuka ekigimusa.

OKUSOOMOZEBWA

Okufuna bbomba efuuyira, ey’amasannyalaze ng’esobola okukuba waggulu mu makoola ga Kooko bw’aba awanvuye ne kiba nga kimuyamba obutakwatibwa buwuka. Obuzibu kati obuzze bwa babbi, abanoga Kooko ekiro ne bamwasa ne bamutwala, era kati abantu batuuse kusula mu nnimiro nga bwe gwali ku Vanilla.

OKWANIKA N’AKATALE

Lwanga akolera kkampuni ya Icam, abagula Kooko omukalu ne bamutwala e Yitale. Bw’okungula Kooko ekiddako kuba kumwanika, oyinza okutunda omubisi oba omwanike wabula kkampuni ntono ezigula omubisi.

Kasita omala okumukungula n’ofunamu ensigo awo ekiddako kumubikkira mu bibookisi n’akenenuka ssupu, okutta akatima akamera, okukyusa langi n’okukola akawoowo ka cokoleeti.

Oluvannyuma lwa wiiki emu olwo n’olyoka omuteeka mu musana, oyinza okwanika mu kasana oba mu dulaaya wabula olw’okuba Kooko kyakulya talina kwanikibwa ku ttaka, alina kubeera ku bitandaalo oba ku matundubaali ate nga biyonjo.

Wano abalimi abamu we basuulira obubonero ne batta omutindo gwa Kooko. Lwanga ayongerako: Mu kiseera kino kkiro enkalu eya Kooko egula 8,000/-okuva ku mulimi ate embisi kati eri ku 2,800/- kyokka alina Kooko omungi tumugula ku 3,000/-.

Ekirungi ekiriwo kati, Gavumenti nayo erabye obulungi bwa Kooko era eyongeddemu amaanyi mu kukubiriza abantu okumulima nga mu mwaka oguwedde esobodde n’okugabira abalimi endokwa nga bayita mu Operation Wealth Creation era abantu bongedde okumusimba.

 ooko tomwanika ku ttaka ate mulondemu ebikyafu ngono bwakola Kooko tomwanika ku ttaka, ate mulondemu ebikyafu ng’ono bw’akola.

 

TEKINOLOGIYA

Nazimba ekifo we nkaliza Kooko nga tagendamu nkuba, era nnina ne bookisi ze nkozesa okumukenenulamu amazzi n’okumuwa akawoowo ka cokoleeti nga kano Abazungu ke basinga okwetaaga mu Kooko olwo ne ndyoka mmutwala mu ddulaaya ezimukaza n’omusana ogw’ekigero.

Nnina oluzzi lwe nasima mu kifo awali nassale nga luno ndusibako pampu ne nkuba amazzi okuva mu kinnya ne nkozesa sepenkola okugasaasaanya mu nnimiro, era sibaako nkuba na musana mu nnasale yange.

OKUYAMBA ABANTU

Engeri gye nali omulimisa, ηηenda mpa abantu amagezi ku nnima ey’omulembe mu Buikwe, Kayunga ne Mukono era bangi bakyusizza ennima.

Bangi mbasikirizza okulima Kooko kuba mmaze emyaka egisoba mu 30 nga mmulima abamu baali tebamumanyi nti wa mugaso.

Nabaleetera akatale ku kyalo, Kooko omulima ate n’omunguza, kale tewaba kwekwasa lwa katale ate abalala bajja ne bayigira ku nnimiro yange. Okusimba Kooko kukuuma butonde kubanga Kooko kirime ekikola ekibira, ate asobola okuwangaala emyaka egisoba mu 50.

Kino kitegeeza nti nnyambyeko mu kukuuma obutonde ate nsimba n’emiti emirala nga emisizi, ate ne we nsimba Kooko sitemawo miti.