Kalusu azinzeeko disitulikiti ssatu

By Musasi wa Bukedde

ABALUNZI mu disitulikiti ssatu okuli Luweero, Nakaseke ne Nakasongola basattira oluvannyuma lwa kalusu okuzinda ffaamu ya Kaaya eya sikweya mayiro 60 ng’egatta Disitulikiti zonsatule.

Walk 350x210

Bya EDWARD SSERINNYA NE SAMUEL KANYIKE
.......................................................................

Avunaanyizibwa ku byobulunzi mu disitulikiti y’e Luweero Dr. Aloysius Lumbuye yategeezezza nti obulwadde baabuzudde ku Paasika mu muluka gw'e Kalwanga mu ggombolola y'e Butuntumula era eno n’essibwako kalantiini, nga tewali nte, maliba, mbuzi, ndiga n’ennyama yaabyo, amata oba omuzigo ebiyingira wadde okufuluma mu ggombolola eno.

Akulira ebyobulunzi e Nakaseke Dr. David Sekandi yagambye nti Kalusu yazuuliddwa ku kyalo Kijunjuba mu ggombolola y'e Ngoma era baakwataganye n'ab’e Luweero ne Nakasongola okubulwanyisa.

OBUBONERO BWA KALUSU

Dr. Lumbuye agamba nti;

Ente ereeta olulusulusu olutakutuka, ogenda okugikebera mu kamwa ng’erina amabwa ku kibuno, ku lulimi n’akamwa konna. Amabwa gano gatambula ne gatuuka mu bigere ne mu mpataanya z’obugatto bw’ente.

Bw’eba nkazi, zimanyi okuvaamu amawako.

Ente egaana okulya.

Ente ento naddala ezirimu omusaayi gwa maleeto zanguwa okufa olw’okunafuwa amangu obulwadde.

Ogenda okuzipima zibaamu omusujja. Ente enkulu tezitera kufa nga zikwatiddwa kalusu, ziziηηama mu kukula ate n’olumu zifa. Bwolaba obubonero obwo, kirungi otegeeze omusawo w’ebisolo ajja kukuyamba okujjanjaba obulwadde kuba kisoboka.

OKUSAASAANA

Mu biseera by’enkuba nga bino, obulwadde busaasaana nnyo kubanga bwe zirinnya mu mazzi zirekamu obuwuka ate ezitali ndwadde nazo ne zirinnya mu mazzi ge gamu.

Kasita amalusu gagenda ku muddo kireetera endala nazo okulya ku muddo ogwo ne zirwala.

Ente ssinga ogiraba ng’eraga obubonero obwo waggulu gyawule ne zinnaazo, okutuusa nga bamaze okugijjanjaba n’ewona.

Era tegeeza mangu omusawo w’ebisolo nga waakalaba obubonero buno.