Ab’e Lwengo babagabidde enkoko z’amagi

By Musasi wa Bukedde

GAVUMENTI ng’eyita mu kitongole kya Operation Wealth Creation ( OWC ) ewadde ab’e Lwengo enkoko n’emmere yaazo bibayambeko okwekulaakulanya.

Para1 350x210

BYA FLORENCE TUMUPENDE

Enkoko 4,500 n’ensawo z’emmere 144 bye byagabiddwa mu magombolola munaana nga bibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 50.

Akulira ekitongole kya OWC mu Lwengo, Maj. Hassan Samba ye yabigabye n’akubiriza abaazifunye okuzirabirira obulungi.

Yakalaatidde abatuuze okuggya enkulaakulana mu byobufuzi kuba Gavumenti egaba ebintu awatali kusosola mu bibiina, eddiini n’obuwangwa.

Abatuuze baasoose kusomesebwa abasawo b’ebinyonyi n’ebisolo nga bakulembeddwaamu Dr. Samuel Mukuye n’abakubiriza okutegeezangako abakugu bwe balaba obubonero bw’endwadde eziyinza okulumba enkoko.

Enkoko ezaabaweereddwa za magi okusangula amaziga g’abatuuze abaaweebwa enkoko ezaabasakirwa omubaka Gertrude Nakabira wabula zonna ne zibafaako gye buvuddeko.