EMBUZI NGITUNDA EMITWALO 72 KU MYEZI MUKAAGA

By Herbert Musoke

EMBUZI NGITUNDA EMITWALO 72 KU MYEZI MUKAAGA

Kab1 350x210

OKULUNDA embuzi kimu ku bintu Bannayuganda bye banyooma nga balowooza temuli ssente. Wabula Ismail Ggobango Kakungulu 30, omulunzi w’embuzi n’okulima obutunda e Ddamba - Kibumbiro mu ggombolola ya Muduuma mu disitulikiti y’e Mpigi agamba nti endowooza eno nkyamu kuba embuzi bugagga bwennyini.

Alaga bw’alunda ne bw’addukanya eddundiro lye: Omuntu ayagala okufuna mu mbuzi alina okuzirunda nga bizinensi ng’aziwa obudde okuzitegeera n’okuzirowooleza. Wano olina okulonda olulyo olulungi, okuzijjanjaba, okuziriisa omuddo n’emmere erimu ebiriisa omubiri gwazo bye gwetaaga n’okukuuma obuyonjo. Embuzi kimu ku nsolo ennyangu okulunda era ezirimu ssente.

Okugeza okulunda ente ennansi erya kkiro 30-40 olunaku ate embuzi erya kkiro ssatu zokka. Ssinga ofuna olulyo olulungi embuzi esobola okuzitowa okutuuka ku kkiro 60 n’okusoba ku mwaka gumu ate n’ente ennansi era ebeera mu kkiro ezo era n’egula bbeeyi y’emu n’embuzi kuba ezange nzitunda doola 200 (eza wano 720,000/-) ku myezi mukaaga.

NTANDIKA OKULIMA N’OKULUNDA Ettaka lino yiika munaana nazigula mu 2014 nga njagala kussaawo kisaawe n’ebisulo by’abaana abasambi b’omupiira be ntendeka ku kyalo kyokka nga ssente ez’okutambuza n’okuyimirizaawo ttiimu siziraba kwe kusalawo okutandika okulima era ebirowoozo byagenda ku butunda bwe nali nnimyeko.

Wabula ettaka lino lya luyinja nga kyali kinneetaagisa ebigimusa bya nnakavundira ebyali eby’obuseere nga kigenda kumbeerera kizibu okufuna mu bulimi bwe nali njagala okuyingiramu, kuba bwe nabuuza obusa bw’ente nga akamotoka ka Elf bakatunda 150,000/- n’entambula ya 50,000/- okutuuka ku ddundiro ate nga kinneetaagisa obumotoka 10 nga mmalira mu 2,000,000/- emirundi esatu omwaka.

Nasalawo okutandika okulunda embuzi kuba zino nakizuula nga zirya kitono, zikula mangu, zirina akatale kyokka ng’obusa bwazo bukola bulungi ekigimusa okusinga obw’ente era natandika n’embuzi enzungu 10 nga buli emu nagigula 500,000/-.

Mu kiseera kino nfuna obusa bwe nali nneetaaga kuba buli wiiki bbiri nfuna ka Elf ak’obusa bwe nkozesa okuliikiriza obutunda bwange ne bumpa ekiwera.

NNUNDA MALEETO Embuzi zange ezisinga maleeto za kika kya Tennessee okuva mu ba Red Indians ng’eno mbuzi ya mu nsiko era abantu bano baagiyigganga na busaale ne Boar. Abazungu baakolamu embuzi gye bayita Texmaster, kati naffe tufunyeemu ezaffe nga zino ziba zikula mangu ate ekuwa amata n’ennyama.

Ebika ebirala bye nnina mulimu; Toggenburg okuva mu Sweden, Senene, Angola, Nubian ne Gloria. Abantu abasinga tebatunuulira nnyo mbuzi ng’ekintu ekisobola okuvaamu ssente ng’ate zirimu ssente empitirivu ssinga omanya ekibalo kyazo.

Okugeza ssinga olunda embuzi ennansi, n’obeera n’embuzi 25, zikuwa embuzi 100 omwaka kuba embuzi ku myezi etaano ebeera ewaka nga kitegeeza nti enkulu 25 bwe zizaala olusooka obeera n’embuzi 50 ssinga zonna zibeera nkazi oluddako ofuna obuto 50. Buli kabuzi bw’okatunda 200,000/-, kitegeeza nti olina obukadde 20.

Ate bw’obala enzungu nga toguzizza mulunzi abagula olulyo n’oguza asala ennyama, ku mwaka ebeera mu kkiro 25 - 40. Embuzi 25 zikuwa embuzi 100 n’okusoba kuba waliwo ezizaala abaana abasatu omulundi gumu. Mu mwaka bw’otunda embuzi 100 ku 250,000/- ofuna obukadde 25.

NTUNDA eMBUZI, AMATA N’OBUSA Nze nsinga kutunda mbuzi nnume eri abaagala okufuna olulyo olwa maleeto era nga ntunda buli luvannyuma lwa myezi mukaaga. Nsobola okutunda embuzi 18 oba 20 nga buli emu ngitunda doola 200.

Kino kitegeeza nti nfuna obukadde 12 nga ntunze embuzi 18 olwo omwaka ne nfuna obukadde 24 kuba ntundamu emirundi ebiri. Nfunamu n’amata kuba malungi nnyo gakola ng’eddagala kuba galimu ebirungo bya Zinc, Iron n’ebirala.

Embuzi ez’ekika kya Numbia, esobola okuvaamu liita bbiri olunaku kyokka olw’okuba twagala abaana abalungi, tuggyamu liita emu, naye engeri gye tulina ennyingi tusobola okufuna liita 10 olunaku nga tukama ku makya kwokka.

Embuzi zino era zimpa obusa nga buno mbukozesa okulima obutunda bwange n’olusuku kuba nze ndi ku mayinja n’ebinnya mbisimisa nsuuluulu. Buli wiiki nfuna ka loole nga kano bwe nkaguza abalima obutungulu, enva endiirwa n’ebirala kagula wakati wa 300,000/- ne 500,000/- ate abwagala abwekwata bukyali.

Nabuuzako e Bushenyi nga bakatunda kumpi kakadde! Mu kiseera kino nnina embuzi ezisoba mu 120, ng’omwaka oguwedde natunda embuzi ennume 30 ku doola 200 buli emu ne kitegeeza nti nafuna obukadde obusoba mu 22.

Endabi rira Embuzi zange nazizimbira ennyumba gye nakubisa amakooko era zisula waggulu kuba obunnyogovu bwa wansi buzireetera okulwala obulwadde bw’okukaluubirizibwa okussa olw’empewo olwo ne nziteerawo we ziriira n’okunyweera. Wabula mu kiseera kino nzimbawo ekiyumba eky’omulembe ddala okutwala faamu yange ku mutindo oguddako. Ennyumba eno nkirongoosa buli lunaku okukakasa nga nkuuma obuyonjo.

Kino era kituyamba okulunda embuzi nnyingi mu kafo katono kuba ekiyumba kyange kya fuuti 30 X 15 kyokka mugendamu embuzi eziwera 150. Zino tuzitemeratemera ebisagazi, ekimyuula, ebigogo n’omuddo omulala gwonna kuba ekirungi ku mbuzi tezisosola mu muddo gwe zirya. Wabula olw’okuba ettaka liweddewo nasimbayo yiika y’omuddo gwe ndiisa embuzi zange.

FFENNA TUKOLA TWAGALA’ Muky. Nabbuto agamba nti, okulunda n’okulima ne bba akikola ng’akyagala kuba kiyamba famire yaabwe okwekulaakulanya, okuweerera abaana n’ebirala. Akola emirimu omuli okulabirira faamu y’obutunda, embuzi n’ebirala. “Ffenna abali mu famire eno, tewali muntu n’omu akakibwa mu kukola emirimu gya ffaamu omuli n’abaana kuba ffenna tukimanyi nti mu kulima n’okulunda mwe tuggya ssente ezituyimirizaawo era bwe zijja tutuula ne tukubaganya ebirowooza ku kyetaagisa okulongoosa oba okwongerako gamba ng’embuzi okufunayo olulyo olulala okwongera okutumbula ffaamu yaffe oba okuzimba ennyumba empya”, Muky. Nabbuto bw’agamba.

Ekyeya kyannyamba okuzimba ttanka Ekyeya kyatukuba era kyatufiiriza nnyo mu bulimi. Wabula kyampa eky’okuyiga era naleeta abakugu mu by’amazzi abaapima wano ne bantegeeza nti wadde mayinja naye amazzi gali kumpi era basobola okugasima. Nasima n’okuzimba ttanka ng’ekinnya mwe ntereka amazzi ge nkozesa okufukirira obutunda kuba mu kiseera ky’akasana ate akatunda kabeera ku bbeeyi kuba bubeera bwa bbula. Engeri ekitundu kye kigan yulwa Ng’oggyeeko okufuna emirimu, we najjira kuno abantu baali bamanyi kulima mmwaanyi, bitooke, muwogo n’ebirime ebirala ebimanyiddwa, wabula mu kiseera kino bangi abatandise okusimba obutunda kuba balaba nga bulimu ssente.

Mu kubalamu okwangu, baketi y’obutunda egula 40,000/- naye ssinga osimbawo akatunda akatono osobola okufuna 40,000/- buli wiiki. Mu ngeri eyo, abaagala okulima obutunda, mbawa endokwa za bwereere ate ne hhendayo okulambula okulaba engeri gye bakikolamu n’okuwabula abo abanneebuzizzaako era ku bwereere.

Okubala ebitabo Ffaamu yange ngiddukanya nga bizinensi era nkuuma ebitabo nga mpandiika buli kikoleddwa omuli ennyingiza ne nfulumya si kulwa nga nkolera mu loosi nga ndowooza nti nkola magoba n’okumanya oba nga waliwo ekitagenda bulungi wamu n’okubaga enteekateeka z’omu maaso.

Ebitabo mbikuuma okulondoola embuzi zaffe okumanya lwe yazadde, lwe ziddamu okuweebwa ennume, enkula yaazo, okuzipima obuzito nga kino kinnyamba okutambula n’enkyukakyuka ku ffaamu yange kuba mbeera na bingi ku mutwe nga ssinga sibiwandiika bisobola okunvaamu ne mbyerabira.

Okwonge ra ku kuman ya Nkola okunoonyereza nga mpita ku ssimu, era byonna bye nneetaaga okumanya ku mbuzi n’obutunda mbifunira okwo, omuli endwadde n’enzijanjaba, ebika ebiriko, akatale n’ebirala. Ekirala, ndabira ku balimi abansingako nga mbakyalira n’okwetaba mu misomo n’emyoleso n’okusoma amawulire nga Bukedde (Enkumbi terimba ), abalagibwa ku ttivvi n’okuwuliriza pulogulaamu z’okulima ku leediyo n’ebirala kuba okuyiga tekuggwa.

Enteekateeka ez’omu maaso 1 Nnina ekika ky’embuzi okuva mu Amerika ekiyitibwa American LaMancha ng’eno evaamu liita z’amata 6 ku makya kuba njagala okukyusa endowooza y’abalunzi nti embuzi tezibeerawo lwa nnyama yokka. Kino ky’ekika ky’embuzi kye njagala okuleeta nnyingire bizinensi y’amata g’embuzi.

2 Nnina enteekateeka z’okwongera okulima omuddo n’okutandika okukola omuddo omukalu ekika kya sayiregi okuliisa embuzi zange mu kiseera ky’akasana era hhenda kwongera okugaziya ekiyumba kyange okulaba nga nyongera okubeera n’embuzi eziwera.

Ebyokwe rinda Tubadde tetunnaba kufuna babbi ku kitundu kyaffe ng’abantu baakwo abasinga bakozi ka babeere bavubuka noolwekyo buli omu abeera akola kyokka olw’okwerinda nnina embwa enkambwe ezikuuma wano naddala mu budde bw’ekiro kuba emisana tusiibawo nga ne faamu y’obutunda eri kumpi n’awaka.

Okusoomoozebwa Okusoomoozebwa kwe mbadde nakwo okusinga gabadde mazzi ge nnina okusomba okuva mu ttanka nga nnoonya ssente okulaba nga ngula pampu ngakube okuyita mu mpiira. Nnina n’ekizibu ky’amasannyalaze agakyatuli ewala nga kino kikyannemesezza okubaako bye nkola naddala mu kwongerako omutindo wabula nafuna Soola ennyambako okumulisa mu budde bw’ekiro.