Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga kivuddeyo ku bbeeyi ya kasooli eserebye

By Sarah Zawedde

EKIBIINA ekigatta abalimi mu ggwanga ekya Uganda National Farmer Federation (UFFE) kivuddeyo ku bbeeyi eyateereddwawo gavumenti okubagulako kasooli gye batakkiriziganya nayo kubanga ebanyigiriza nga tebalina magoba ge bafunako .

Federation 350x210

Dr. Dick Nuwamanya  Kamuganga nga ye pulezidenti w'ekibiina kino agamba nti gavumenti yandibadde essaawo bbeeyi ya 700/= nga yeesembayo okubeera  wansi okusinzira ku bintu  omulimi by'atekamu ng'asimba kasooli .

Gavumeti  yataddewo bbeeyi ya 500/=  ng'eno  yeesembaayo okubeera wansi kwe bagenda okugulira kasooli ku balimi kyokka nga waliwo ebitundu ebimu gye bamugulira ku 150/ - 300/=.

Agamba nti abalimi babatuukiridde nga beebuuza eky'okukola kubanga ensigo bagigula ku bbeeyi ya waggulu , ne bagula ebigimusa, kuteekako bapakasi okumukoolamu omuddo , okukungula ku musiri.

Grace Musimami Kezio nga ye mwogezi w'ekibiina kino  agamba nti kyandibadde kirungi ssente ezigula kasooli gavumenti okuziyisa mu kibiina kyabwe kino kubanga kirimu abalimi ba kasooli abatuufu.