Budaaki etadde ssente mu kkolero erikola eddagala

By Herbert Musoke

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’abalunzi bakaaba olw’eddagala effu n’oluusi eritabeerawo mu budde ekibafiiriza ssente, ensolo n’ebinyonyi byabwe, Uganda efunye kkampuni etandise okufulumya eddagala ly’ensolo n’ebinyonyi mu ggwanga.

United 350x210

Bwe yabadde atongoza ekkolero lino, Omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Van Baker era abamu ku baatadde ssente mu kuzimba ekkolero lino yagambye nti ekkolero lino lyakuyamba okukendeeza ensolo n’ebinyonyi ebibadde bifa olw’endwadde n’ebbula ly’eddagala erisobola okubijjanjaba mu budde.

“Uganda efiirwa ensolo n’ebinyonyi naddala enkoko olw’eddagala eritali lya mutindo n’oluusi obutabeerawo ekizza obulunzi emabega.

Okufuna ekkolero nga lino mu ggwanga kyakuyamba abalunzi okukendeeza okufiirizibwa kwe babadde bafuna okuva ku ddagala”, Baker bw’agamba. Mu Uganda ekitongole ky’okulunda kye kimu ku bisinga okukula ng’ekola ebitundu 30 ku 100 eby’ennyingiza y’eggwanga okutwalira awamu.

“Mu by’ennyingiza, akatale k’ebiva mu bulunzi mu Afrika kasuubirwa okulinnya okutuuka ku bitundu 200 ku 100 mu mwaka gwa 2030”, Baker bw’agamba.

Dr. Stephen Birungi, dayirekita w’ekkolero lino agamba nti ekkolero lyakufulumya ebika by’eddagala lyonna erikola ku nsolo okuli eby’obuwunga, ery’amazzi n’ery’empiso wabula batandise n’ery’obuwunga lya mirundi 12.

“Twatandise okufulumya eddagala nga mu kiseera kino tulindirira ekitongole kya NDA okuliyisa olwo tutandike okulissa ku katale abalunzi baffe batandike okuligula n’okulikozesa.

Mu ngeri y’emu tuli mu nteeseganya ne minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi okulaba nga tutandikawo enkola y’okukola etterekero ly’eddagala okulaba nga tusobola okwahhanga ebbula oba okubalukawo kw’obulwadde bwonna mu ggwanga n’amawanga ag’omuliraano”, Birungi bw’agamba.

Bano era baakubidde gavumenti omulanga okubayamba okubakolera amakubo okubawonya enfuufu gye bagamba nti etaataaganya amateeka agakkirizibwa okukolerwamu eddagala, amasannyalaze agavaavaako n’oluusi okubeera amatono ne gabafiiriza eddagala eribeera litandise okukolebwa n’ekifo awasobola okusaanyizibwawo n’okusuulibwa kasasiro okuva mu kkolero n’enguudo okubayamba ku kalippagano k’ebiduka.