Vision Group ekomezzaawo emisomo egy’obwereere

By Musasi wa Bukedde

KKAMPUNI ya Vision group ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki bwe bakolagana mu kutegeka empaka z’Omulimi Asinga, bategese emisomo ku bulunzi egigenda okutegekebwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Waayo1 350x210

Emisomo gino gigenda kutegekebwa ku ffaamu z’abawanguzi b’empaka z’Omulimi Asinga abagenda okubangula n’okulaba abalunzi bye balina okukola okufuna mu faamu zaabwe nga bayambibwako abakugu mu bulunzi okuva mu Budaaki.

Emisomo gino gyakutandika n’ogw’enkoko nga August 29 ku Mish Farm e Kiwenda - Gayaza mu Wakiso eya Celia Kansiime; August 31, ku Jeka Poultry Farm eya Johnson Basangwa e Kamuli okusomesa enkoko n’embizzi; September 17 ku Nangoma Fish farm eya Vincent Masiga e Busia okusomesa okulunda ebyennyanja; October 17 ku Highmark Diary farm eya Nicholas Matsiko e Mbarara okusomesa okulunda ente z’amata ne October 19 ku Bwasandeku Mixed Farm eya Bashir Mayiga e Kalungu okusomesa okulunda enkoko era ng’emisomo gyonna gya bwereere.

Abakugu okuva mu kkampuni ya Koudjis Nutrition emu ku zissa ssente mu mpaka z’omulimi asinga ekola emmere y’ensolo n’ebinyonyi esinga okukuwa ekisinga be bagenda okubangula abalunzi mu bintu eby’enjawulo omuli endiisa, endabirira ya faamu, enzimba y’ekiyumba, ennunda y’olulyo n’ebirala.

Johan Verhoek omu ku bakulira Koudjis Nutrition agamba nti, bagenda kuleeta abakugu mu bintu eby’enjawulo okusomesa n’okubangula Bannayuganda mu okulaba nga balongoosa faamu zaabwe basobole okuzifunamu.

Budaaki emanyiddwa okubeera n’enkola ez’okulabirira n’okuddukanya faamu mu ngeri ez’omulembe ogusingayo mu nsi yonna era ng’abakugu baakusomesa mu bulunzi bw’ente, ebyennyanja, enkoko n’embizzi. Johan agamba nti, Bannayuganda balina okutandika okulonda endyo ennongooseemu n’okuliisa obulungi ensolo n’ebinyonyi byabwe.

“Bangi bakiraba ng’eky’obusere naye ofunamu nnyo mu nnyingiza okuva mu faamu yo”, Johan bw’agamba.

Johan agenda okukulemberamu abakugu agamba nti ekifuula ebirungo byabwe eby’enjawulo ku katale kwe kubeeramu ebirungo eby’enjawulo ebyetaagibwa mu mubiri kw’ekinyonyi oba ensolo omuli Vitamiini, Micro - minerals, amino acids, additives ne Protein okusobola okukiwa ekyo kye kyetaaga.

Ekirungo kino ekitundibwa olina okukitabula mu mmere endala nga kasooli akubiddwa obuwunga nga tonnaba kukiwa nsolo yo.

“Emisomo gigenda kuyisa omulunzi mu kiki ekirina okukolebwa okulaba ng’afuna mu bulunzi bwe okuviira ddala ku kulonda olulyo, okuzimba ennyumba, okulwanyisa endwadde, endiisa n’ebirala,” Johan bw’agamba.

Emisomo gy’enkoko August 29, ku Mish farm - Kiwenda: Mish farm, esangibwa e Kiwenda ku luguudo lwa Gayaza - Ziroobwe nga wano omusomo ogusooka we gugenda okutegekebwa.

Faamu eno ya mukyala Celia Kansiime, eyawangula empaka z’Omulimi Asinga mu 2016 era ng’alina enkoko z’amagi ezisoba mu 30,000 z’alundira mu katimba kati okumala emyaka etaano era nga y’omu ku balunzi abaatwalibwa e Budaaki okwongera okuyigira ku balimi baayo.

“Mu kiseera ky’obugenyi kye naliko e Budaaki nakizuula nti abalunzi b’enkoko essira basinga kulissa ku bintu bisatu okuli olulyo olulungi, okuliisa obulungi n’okwerinda endwadde”, Kansiime bw’agamba era ng’agenda kugabana n’abalunzi abaneetaba mu musomo guno obukugu bw’alina okuyita mu by’ayiseemu nabo babeeko kye bamuyigirako.

Jeka Poultry farm, e Kamuli August 31: Omusomo guno gwakubeera ku Jeka poultry Farm, eya Johnson Basangwa, omuwangizi w’empaka z’Omulimi Asinga 2015. Faamu eno esangibwa mu munisipaali y’e Kamuli era omusomo gusuubirwa okuyamba abalunzi b’enkoko n’embizzi mu bitundu bya Busoga ne Teso.

Basangwa abadde mu Budaaki emirundi egy’enjawulo nga yasooka kugenda n’abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga n’oluvannyuma naddayo ku lulwe okwongera okusomesebwa enzirukanya ya faamu esinga era gye buvuddeko gye yagula enkoko ze ezibiika era nga kati alina enkoko ezisoba mu 30,000.

Okuva mu bugenyi n’okutendekebwa mu Budaaki okw’enjawulo nakizuula nti okulonda olulyo n’endiisa y’omutindo bikulu nnyo omulunzi bw’abeera wakufuna ekinga mu faamu ye”, Basangwa bw’agamba.

Okusinziira ku Basangwa abalunzi b’enkoko abasinga mu Uganda enkoko zaabwe baziriisa emmere ya bulujjo etabuddwa mu ccacu, ensigo za ppamba (cotton cake), mukene n’obusonko by’agamba nti oluusi bibeera tebitabuddwa bulungi enkoko ne zitasobola kussaako buzito butuufu oba okubiika amagi agawera”, Basangwa bw’agamba.

OKULUNDA EBYENNYANJA

Nangoma Fish farm, e Busia September 19: Olw’abantu okwettanira okulima ebyennyanja, wategekeddwaawo omusomo ku nnunda yaabyo ku faamu ya Nangoma Fish Farm e Busia eya Vincent Masiga Majanga esangibwa ku kyalo Masaba mu ggombolola y’e Masaba.

Ng’oggyeeko ebidiba omukaaga Masiga mw’afuna ssente, alina ekifo ebyennyanja we bizaalira eky’omulembe.

Joseph Masiga, mutabani wa Majanga eyagenda e Budaaki oluvannyuma lwa faamu yaabwe okuwangula empaka z’omulimi asinga, okusoomoozebwa okusinga okutawaanya abalimi b’ebyennyanja mu Uganda y’endabirira ya faamu embi.

“Bwe nakyala e Budaaki, nakizuula nti okuliisa okulungi kikulu nnyo eri obulunzi bw’ebyennyanja okufuna ekisinga nga binene bulungi”, Masiga bw’agamba Omusomo gugenda kutunuulira ebikwata ku kulunda n’okufuna mu byennyanja okutandikira ku kuzimba ebidiba, okufuna obwennyanja bw’okussa mu kidiba, okuzaaza ebyennyanja, endiisa, okugattako omutindo n’okunoonya akatale.

BY’OKO LA OKUFUNA MU NTE

Highmark Diary Farm e Mbarara October 17 Abantu bettanidde okulunda ente z’amata wabula basoomoozebwa obutamanya kituufu kirina kukolebwa okufuna mu faamu zaabwe.

Eno y’ensonga lwaki wagenda kubaawo omusomo gw’okulunda ente ku faamu ya Highmark Diary Farm eya Nicholas Matsiko e Mbarara okusomesa okulunda ente z’amata okutandikira ku kulonda olulyo, endiisa, endabirira ya faamu n’ebirala byonna ebikwata ku nte.

Matsiko omu ku baagenda e Budaaki oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’omulimi asinga agamba nti yakizuula nti olulyo, endiisa, endabirira ya faamu, okulwanyisa obulwadde n’ebirala bye biremesa abalunzi.

Bwasandeku Mixed Farm e Kalungu, October 19: Bashir Mayiga amanyiddwa nnyo olw’okulima obutunda wabula oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’omulimi asinga mu 2015, yakwatagana ne muwanguzi munne Johnson Basangwa n’aleeta enkoko okuva e Budaaki era nga waakusomesa okulunda enkoko.

Okusinziira ku Mayiga omusomo guno gwakutunuulira engeri y’okulunda enkoko ey’omulembe ofunemu n’ebirungi n’emisoso egy’okuleeta enkoko okuva ebweru.