Lima ebitungotungo ofune ssente

By Musasi wa Bukedde

Engeri gy'oyongera omutindo ku bitungotungo n'ofuna ssente

Mawiki2webuse 350x210

Bya Stella Naigino

Abantu abasinga bakaaba bwe batafuna mu birime byabwe ate nga bateekamu kinene, naye omulimi w’ebitungotungo (sunflower) teyejjusa.

Richard Mawiiki omutuuze w’e Bukedea alima bitungotungo agamba nti, amaze emyaka 15 ng’alima ebitungotungo era agula ensigo ku 3,500/- buli kkiro.

Atereeza ennimiro n’alinda enkuba okutonnya wabula asobola okutereka amazzi n’okufukirira osobola okulima ekiseera kyonna.

Ebitungotungo bino, bisimbibwa nga bw’osiga kasooli, era osobola okubisimba awamu ne kasooli oba ebijanjaalo mu nnimiro emu era bikulira mu myezi ena ng’okungula.

 eeki ava mu bitungotungo gwe batabula mu mmere yenkoko Keeki ava mu bitungotungo gwe batabula mu mmere y'enkoko

 Akatale

Ng’oggyeeko okutunda ensigo, omulimi w’ebitungotungo asobola okufuna ssente ng’akoze bino:

Okukamulamu butto

Ensigo z’ebitungotungo zikamulwamu butto era ekidomola kitundibwa ssente ezisoba mu 100,000/-.

Kolamu ekirungo ekiteekebwa mu mmere y’embizzi n’enkoko

Muvaamu keeki nga kino kirungo ekissibwa mu mmere y’enkoko n’embizzi nga bakigula ku 1,000/- buli kkiro. Bino bikolebwa mu bisusunku oba ebisassalala ebisigala nga bamaze okukamulamu butto.

 

Ebigimusa

Ebisigala nga butto amaze okukamulibwa era bisobola okukola ng’ebigimusa mu nnimiro nga na bino osobola okubitunda n’ofunamu ssente oba okubikozesa mu nnimiro yo.