Ekibiina kirabudde ku njala kakutiya

By Musasi wa Bukedde

Ekibiina kirabudde ku njala kakutiya egenda okugwa mu mawanga ga Africa ag’omu buvanjuba omuli ne Uganda.

Unnamed21 350x210

Ekibiina kino ekiyitibwa Food Security and Nutrition Working Group (FSNWG) nga kye kivunaanyizibwa okulondoola oba abantu mu kitundu ekiyitibwa Greater Horn of Africa balina emmere emala kyalabudde nti abantu abasoba mu bukadde 10 mu mawanga omuli Uganda, Somalia, Kenya ne Ethiopia boolekedde okufa enjala olw’enkuba entono etonnya ate nga mu bitundu ebimu temuli wadde etondo.

Mu Uganda ekibiina kino kyanokoddeyo ekitundu ky’e Karamoja ng’ekimu ku ebyo ebigenda okukosebwa enjala.

Omwezi oguwedde ekibiina ekitaba bannamawulire abasaka ag’embeera y’obudde ekya Network of Climate Journalists of the Greater Horn of Africa (NECJOGHA) kyawandiika nti ab’enteebereza y’obudde mu Uganda, Kenya ne Tanzania baali bannyonnyodde nti ekivudde enkuba okulwawo okutonnya gwe muyaga ogwayita mu bitundu bya Mozambique ne gunywa empewo ezandibadde zireeta enkuba nga ziva mu liyanja lya Buyindi.

Bulijjo okuva mu mwezi gwa March okutuuka nga June gutandika bibeera biseera bya nkuba ey’omwero mu mawanga nga Uganda kyokka kumpi omwezi gwa March gwonna gwaweddeko nga teri nkuba etonnye ate ne April mwe yabadde esuubira mu bitundu ebimu yalumaggamagga.

Ate ku Lwokubiri lwa wiiki eno lipoota ey’awamu eyafulumiziddwa omukago gwa Bulaaya wamu n’ebitongole by’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte bibiri ebivunaanyizibwa ku by’emmere okuli ekya Food and Agriculture Organization (FAO), ne World Food Programme (WFP) yalaze nti amawanga 53 mu nsi yonna ge goolekedde okugwamu enjala nga ku gano kuliko aga Africa ataano okuli Democratic Republic of the Congo, Ethiopia, Nigeria, South Sudan ne Sudan.