Engeri ennyangu gy'osobola okukola ssente mu bulimiro bw'enva endiirwa

By Musasi wa Bukedde

Engeri gy'okola ssente ez'amangu mu kulima enva endiirwa wonna w'osula wadde mu bupangisa

Jemba3webuse 350x210

Bya Emmanuel  Ssekaggo

Bannakibuga abasinga ku mmere gye balya buli lunaku naddala mu  wooteeri basabirako enva endiirwa.

Mu zino mulimu doodo, ebbugga, nnakati, ejjobyo, eggobe n’enva endala nnyingi.

Kino kitegeeza nti, omuntu omukalabakalaba essaawa eno asobola okutandika okulima enva endiirwa n’afuna ssente mu bbanga eritasukka myezi ebiri.

Ekirungi ku nva endiirwa kiri nti, zisobola okulimibwa mu kyalo ne mu kibuga kubanga osobola okuzirimira awafunda.

 jemba ngasala spinach gwalima Jjemba ng'asala spinach gw'alima

 

Josephine Jjemba, omutuuze w’e Mpunga mu Wakiso mulimi wa nva ndiirwa era azirimidde ebbanga erisuka mu myaka esatu. Alima sukumawiki, spinach, emboga, kaamulali, obutungulu n’endala.

Agamba nti, okuzifunamu obulungi waliwo ennima emanyiddwa nga eya ‘Raised Garden’ ng’ennima ekika kino nnungi ku nva endiirwa.

Mu nnima eno omulimi atuuma ettaka ng’alinga atema ekikata wabula ng’akitema mu bukiika, nga ku ttaka lino erituumiddwa omulimi kw’asimba enva endiirwa.

 jemba ngali mu kaamulali gwalima Jjemba ng'ali mu kaamulali gw'alima

 

Bw’oba otuuma ettaka lino olina okukakasa nti amafunfugu gonna ogakuba n’ogamalamu. Kino bwe kiggwa oba olina okulitabulamu ekigimusa enva zo zisobole okukula obulungi era mu bwangu.

Kalimbwe y’asinga okuba omulungi ssinga oba ogenda okulima enva endiirwa era tekyandibadde kirungi n’okozesa ebigimusa ebirala kubanga enva zo ziyinza okubabuka.

Bw’omala okuteekamu ekigimusa, oyinza okufukirira akalimiro ko emirundi ng’ebiri oba esatu. Oluvannyuma lw’ettaka okunnyikira oba asobola okusimba enva zo endiirwa era mu bbanga eritali ddene oba ogenda kutandika okwenogera ensimbi ate ng’abantu bo bwe balya kasita ogoberera obulungi emitendera egyo.