Gav’t ekole ku bisoomooza abalimi n’abalunzi - Omubaka wa Budaaki

By Musasi wa Bukedde

OMUBAKA wa Budaaki mu Uganda akubidde gavumenti ya Uganda omulanga okukola ku kusoomoozebwa kw’ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi eby’ebicupuli ebiyitiridde ku katale n’ebiremesezza abalimi n’abalunzi okukulaakulana.

Unity 350x210

Henk Jan Bakker bw’abadde atongoza ekyuma ekigatta omutindo ku mata ku ffaamu ya MUTANOGA eya Emmanuel Tayebwa mu disitulikiti y’e Kiruhura alaze obwennyamivu olw’engeri abalunzi n’abalimi gye bafiirizibwamu ssente zaabwe olw’ebikozesebwa ng’eddagala, ensigo, n’ebirala eby’ebicupuli so nga babissaamu ssente nnyingi.

“Mu kiseera kino Uganda ekwata ekifo kya kumwanjo mu mawanga g’Afrika agasinga okutunda ebikolebwa mu mata mu mawanga g’ebweru ate ng’obusobozi bwayo bukyali bwamaanyi ssinga gavumenti ekola ku bisoomooza abalunzi n’ebibalemesa okufulumya ekiwera”, Bakker bw’agamba.

Mu ngeri yeemu atongozza enkolagala y’okusuubulagana wakati wa MUTANOGA eya Tayebwa ne ANTE BV ey’e Budaaki okutondawo ANTE-UGANDA nga bano bagenda kuleeta kuno ebyuma ebipya n’ebikozeeko ebyeyambisibwa mu kugatta omutindo ku mata ne tekinologiya omulala.

“Nga tuyita mu pulojekiti ya SNV, Budaaki ng’eggwanga twagala okuva mu nkola y’okuwa abalimi, abalunzi ba Uganda obuyambi tudde mu nkola ya bizinensi nga buli omu asuubula okuva ku munne era ng’enkolagana nga zino ze zigenda okutuyamba okutuukiriza ebigendererwa byaffe”, Bakker bw’agamba.

Bakker ali mu kulambula abalunzi mu bitundu by’obugwanjuba bwa Uganda nga wakutuuka ku ffaamu z’abalunzi ab’enjawulo okuli eya Betty Mbaziira Kasabiti eyawangula empaka z’omulimi asinga 2018 n’abalala.

Rinus van Klinken akulira SNV mu Uganda agamba nti, Tayebwa afuuse entabiro y’obulunzi mu Kiruhura n’ebitundu ebiriranyeewo olw’okwewaayo kwe, obukozi, obuyiiya n’okwagaliza abalala ng’abagabanyiza ku magezi n’obukugu bw’alina.

“Tayebwa si kyakulabirako kyokka eri abalunzi wabula nsulo y’amagezi n’obukugu gye bali ng’ayita mu ttendekero ly’alina ku ffaamu ye mw’asomesereza abalunzi abalala ennunda y’ekikugu mwe basobola okuyita okutumbula amalundiro gaabwe”, Rinus bw’agamba.

Emanuel Tayebwa agamba nti, ekyuma kino yakireese okwongera ku nnyingiza ya ffaamu ye kyokka n’okuyamba abalunzi mu kitundu kye okufuna akatale k’amata gaabwe kuba basobola okugakuhhaanyiza ewuwe olwo ne gatwalibwa lumu ku dayale okugatunda.

“Ssinga nfuna liita 2,000 olunaku naye omusujja gw’enkwa gwannemesa nga mu kiseera kino nfuna liita 1,000.

Amata gano gabeera mangi nga kyetaagisa okutandika okugongerako omutindo nga tukolamu yogati, okugasiba n’ebirala bye tulowooza nti bya kuyamba abalunzi obutadondolwa”, Tayebwa bw’agamba.

Ono era y’agenda okubeera kitunzi wa ANTE BV okuyita mu ttabi eryatongozeddwa erya ANTE Uganda ng’omuntu yenna ayagala ebyuma ebikozesebwa mu kwongera omutindo ku mata asobola okumutuukirira n’akimufunira. Tayebwa asuubizza okwongera okusomesa abalunzi mu kitundu kye ku ngeri z’okulunda ez’omutindo okubasobozesa okufuna ekisinga mu malundiro gaabwe.

Mu ngeri y’emu asabye gavumenti n’ebitongole ebikola ku kunoonyereza okwongera okunoonyereza ku butonde bw’ente ekika kya ‘Ankole’, z’agamba nti ze zisinga nga zeetaaga kwongera kunoonyerezebwako zive ku liita essatu okutuuka mu liita kkumi n’okusoba kuba zikisobola.