Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba abaana abavudde mu Kisaakaate kya Nnaabagereka

By Lilian Nalubega

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika mu ttaka

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 350x210

Bya Lilian Nalubega  

Nga enteekateeka ez’okutongoza ekisaakaate kya Gatonnya 2020 zigenda mu maaso, abateesiteesi baakyo bali mu kaweefube ow’okutema empenda ez’okulaba nga bamalawo obumulumulu obubadde bweyolekera mu Kisaakaate ebbanga eriyise.

bamu ku bayizi abalenzi abeetaba mu isaakaate kya naabagereka nga bayiga okusala nokulongoosa enkokoAbamu ku bayizi abalenzi abeetaba mu Kisaakaate kya Nnaabagereka nga bayiga okusala n'okulongoosa enkoko

 

Akulira Nnaabagereka Development Foundation (NDF), Adrian Mukiibi yagambye nti abaana bangi bwe bava mu kisaakaate balemwa okuyambibwako okussa mu nkola ebyo ebiba bibasomeseddwa n’okubuulirirwa okuba kubaweereddwa nga baakuteekawo enkola ey’okukyaza abazadde nabo mu Kisaakaate basomesebwe ku nkwata y’abaana nga bazzeEyo awaka.

“Amangu nga tumaze okumanya ebifa ku baana kumpi wakati mu nnaku z’Ekisaakaate tugenda kuyita abazadde, tujja kubamanyisa ebifa ku baana baabwe era n’engeri ey’okubayambamu tuleme kwoza nga twanika mu ttaka,” Mukiibi bwe yagambye.

 naabagereka agginda ngalambuzibwa ne atikkiro eter ayiga ebimu ku bintu abayizi bye baayiga mu isaakaate Nnaabagereka Nagginda (wakati) ng'alambuzibwa ne Katikkiro Peter Mayiga ebimu ku bintu abayizi bye baayiga mu Kisaakaate

 

Yannyonnyodde nti, Ekisaakaate kisoomoozeddwa n’ebisale by’okukiyimirizaawo ebbanga erya wiiki bbiri ng’abamu balowooza nti ensimbi ezisasulwa abaana ziba zimala ekitali kituufu kubanga ebyetaagisa okuyamba omwana okulabirira atuuke ku bigendererwa bye ziba nnyingi era wano we yasinzidde n’ategeeza nga bwe bakyetaaga abavujjirizi.

Ekisaakaate Gatonnya 2020 kyakutongozebwa nga August 7, omwaka guno  ab’essomero lya St. Joseph of  Nazareth bakwase aba Hanna International School akabonero k’embuga y’Ekisakaate.

 kulira  drian ukiibi ngannyonnyola ku kusoomoozebwa kwe basanga mukutegeka kisaakaate Akulira NDF, Adrian Mukiibi ng'annyonnyola ku kusoomoozebwa kwe basanga mukutegeka Ekisaakaate

 

Omulundi guno Ekisaakaate kyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Obuntubulamu empagi y’e Nkulaakulana”.