Mutabani wa Sserwadda laavu emuttutte Kiruhura

By Musasi Wa

OMUTUME Dr. Joseph Sserwadda asabye Abasumba okukomya okukola ebikolwa ebivumaganya obulokole.

2015 8largeimg208 aug 2015 161739747 350x210

Bya MOSES LEMISA

OMUTUME Dr. Joseph  Sserwadda asabye Abasumba okukomya okukola ebikolwa ebivumaganya obulokole.
Dr. Joseph Serwadda nga y'akulira Abalokole mu ggwanga ate era nga ye Musumba omukulu ku Victory Christian Centre
mu Ndeeba yasinzidde ku mukolo gwa mutabani we Joshua Sserwadda eyayanjuddwa mwana munne Atlanta Katungi mu maka ga kitaawe Dennis Katungi, e Kazo mu Disitulikiti y’e Kiruhura ku Lwomukaaga oluwedde.

Abagole n’emperekeze zaabwe

Dr. Sserwadda yategeezezza nti yeebaza Katonda kubanga emyaka gy’amaze mu Bulokole talina kavuyo ke yali alabikiddemu mu mawulire.

Sserwadda (ku kkono) Joshua omugole Muky. Jennifer  Kiwanuka avunaanyizibwa ku mirimu gy’Ekkanisa ya Victory

Worship Centre.

Yategeezezza nti amaze ne mukyala we Freda emyaka 31 naye buli lukya amulaba ng’omugole n'asaba abafumbo okwagalana mu buli mbeera.

Abaana ba Sserwadda okuva ku (kkono) Joeline Ssewakiryanga, Joshua Sserwadda (omugole) ne Hannah.

Joshua ne Atlanta bagenda kugattibwa nga August 12 , 2015 mu kkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba ku ssaawa 6:00 ez’emisana oluvannyuma baakusembeza abagenyi baabwe mu maka g'Omutume Sserwadda e Namugongo

 

Mutabani wa Sserwadda laavu emuttutte Kiruhura