Owa Vision Group akoze embaga ey’omulembe !

By Ponsiano Nsimbi

OMUKOZI wa Vision Group, Robert Kyobe akoze embaga ey’ebyafaayo bw’abadde agattibwa ne mukyala we Vick Ntongo.

Kyobe1 350x210

Bya PONSIANO NSIMBI

OMUKOZI wa Vision Group, Robert Kyobe akoze embaga ey’ebyafaayo bw’abadde agattibwa ne mukyala we Vick Ntongo.

Abagole baagattiddwa Omusumba Jesse Lukayi mu Kkanisa y’Omusumba Micheal Kyazze eya Omega Healing Centre esangibwa e Namasuba.

Lukayi yakaalatidde abagole okukuuma ebiragaano bye bakubye mu lujjudde era n’abeebaza olw’okwevaamu ne bakola omukolo guno ate n’okuyita bantu okubeerawo ng’abajjulizi.

 akyobe nga beeraga amapenzi Bakyobe nga beeraga amapenzi.

 

Omugole omwami yayambadde ssaati ya lineni ne kalabalabaawe eyabadde Omuzungu ssaako ne mutabani waabwe eyabadde omu ku mperekeze era ng’abaana baabwe abasatu be baawerekedde.

Omugole omukyala yayambadde kadaali n’anyuma wabula ye okwawukanako n’omugole omwami n’emperekeze endala zonna, ye yekka eyakyusizza engoye.

Abagole baatambulidde mu Prado TX ng’eno teyabaddeko yadde akamuli akagyawula ku mmotoka endala.

Abagenyi baabwe baabasemberezza ku Lindsay Cottages e Lubowa ng’omukolo guno gwabadde gwa kkaadi era kyabadde kizibu omuntu atayitiddwa okwetaba ku mbaga eno.

 akyobe nga beeraga amapenzi Bakyobe nga beeraga amapenzi.

 

Paasita Micheal Kyazze yakuutidde abagole okukulembeza Katonda mu bye bakola okusobola n’okukuliza abaana baabwe mu ddiini.

Kyokka ono yakyamudde abagenyi ku mbaga bwe yazinye amazina agaanyumidde ennyo abantu ne mukyala we.