Okukyala kw’omuyimbi Ykee Benda kwafuuse kwanjula

By Musasi wa Bukedde

“NZE faama ono ye nnimiro yange naye kati mweyitira Malayika….” bwatyo omuyimbi Ykee Benda eyakuyimbira ‘Farmer’ ne Sheebah Karungi kati alina ‘Eva’ olukutte abavubuka omubabiro bwe yatandise ng’awaana omwagalwa we Omumbejja Julie Batenga.

Yanju1 350x210

Wiiki ewedde Ykee Benda ng’amannya ge amatuufu ye Wycliff Tugume yatandise ku kisuubizo kye eri Batenga eky’okumuwasa mu bufumbo Obutukuvu bwe yakyadde mu maka ga ssenga we, Lillian Nasolo e Nabutti- Mukono ng’ono ye mukyala w’omubaka Jonson Muyanja Ssenyonga omukulu.

 bimu ku bintu ebyaleeteddwa Ebimu ku bintu ebyaleeteddwa.

Wadde omukolo gwabadde gwa kukyala, naye ng’oyinza okulowooza kwanjula olw’engeri gye gwatambuziddwaamu n’obungi bw’abantu abaagwetabyeko okusingira ddala abooludda lw’omuwala era bano batudde mu weema.

 bamu ku bako abaawerekeddeko kee enda Abamu ku bako abaawerekeddeko Ykee Benda.

Batenga yakyusizza emirundi ebiri ate bwe baatuuse okubuuza abako, bassenga, abawala b’awaka ssaako n’abalenzi bazze nga bazinira ku bidongo nga n’ezimu ku nnyimba obwedda DJ zaakuba zaabadde za Ykee Benda olwo enduulu n’esaanikira ekidaala nga bwe basuusuuta omuko abamu obwedda gwe bayita ssereebu.

 senga ngagabula omuko ne besitimaani Ssenga ng’agabula omuko ne besitimaani.

Ykee Benda ebintu naye yatutte ebiwerako. Batenga muwala wa Harriet Birabwa ne David Walugembe ate Ykee Benda mutabani wa Ruth Mbabazi ne Alex Mpakanyi ab’e Kireka.