Lt. Terikya avuze ennyonyi za bapulezidenti mukaaga

By Musasi Wa

Ying Lt. Col. Joseph Terikya yayingira amagye nga makanika w’ebimotoka by’amagye mu 1964. W’afiiridde y’abadde akanika ennyonyi za bapulezidenti ba Uganda!

2015 6largeimg230 jun 2015 151338203 350x210

Bya TOM GWEBAYANGA


Ying Lt. Col. Joseph Terikya yayingira amagye nga makanika w’ebimotoka by’amagye mu 1964. W’afiiridde y’abadde akanika ennyonyi za bapulezidenti ba Uganda!

Terikya bamuzaala Kakaanhu mu ggombolola y’e Namasagali e Kamuli. Okuviira ddala mu 1973, Terikya y’abadde yinginiya akebera n’okukakasa nti ennyonyi Pulezidenti gy’anaatambuliramu nnamu bulungi.

Terikya yafudde nga 18 June. Yasigadde mu byafaayo nga Yinginiya abadde yaakakuuma obulamu bwa bapulezidenti ba Uganda mukaaga. Y’abadde alabirira ne Gulf Stream ya Pulezidenti Museveni.

Yaziikiddwa e Kakaanhu mu bitiibwa by’ekijaasi ebijjuvu. Yayingira amagye mu 1964 nga Warant Officer, abangi lye bayita “kisaati.”

Moses Kizige, omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebweru yatenderezza Terikya okuba ng’emyaka egyo gyonna asoboddde okugenda ne tekinologiya w’ennyonyi abadde akyukakyuka.

Avuze ennyonyi za bapulezidenti okuli Idi Amin Dada (1973-1979), Apollo Milton Obote 11 (1980-1986, Yusuf Kironde Lule, Godfrey Lukongwa Binaisa, Tito Okkelo Lutwa ne Pulezidenti Museveni (1987-2009).

JOSEPH TERIKYA Y’ANI
Ye mutabani w’omugenzi John Lugaaya agalamidde e Kakaanhu, yazaalibwa mu 1942.
Pulayimale yagisomera Namasagali ate Siniya eyookuna n’agimalira mu Busoga College Mwiri.

Yalina ekitone ky’okukanika mmotoka, yingini z’ebyuma n’amasannyalaze, kitaawe kwe kumutwala mu Kyambogo Technical Insititute okukuguka era n’ayitira waggulu.

Mu 1964, yafuna omulimu gw’okukanika ebimotoka by’amagye, wabula oluvannyuma baamuwaliriza okwessogga amagye.

Eyo gye yayigira okukanika ttanka, ne bamuyingiza mu ggye ly’omu bbanga era mu 1968, yatwalibwa mu Canada okusoma Diguli y’obwayinginiya mu kukanika ennyonyi ennwaanyi.

Amin bwe yawamba Obote, Terikya yatwalibwa mu Yisirayiri okutendekebwa okukanika n’okuvuga ennyonyi ennwaanyi nga nnamunkanga, MIG ne Jet fighter, bwe yakomawo mu 1974 n’atandika okuvuga Amin.

Mu 1976, yazzibwayo mu Yisirayiri okwongera okukuguka mu kuvuga ennyonyi ez’ekika kya Gulf Stream 3 ne 4, ze yavuga wakati wa 1976-1979.

Mukwano gwe, Ali Kiiza, akulira abavuzi b’ennyonyi za Pulezidenti agamba nti gavumenti ya Amin bwe yagwa, Abakomboozi baabakwata ne babasibira mu nkambi y’amagye e Makindye, naye baabata oluvannyuma lwa wiiki emu yokka nga tewali asobola kuvuga nnyonyi ya Pulezidenti.

YALI MWEJAASI
Obutafaanana ng’omulembe guno, amagye bwe galimu amateeka amakakali, Terikya yafunangako akaseera n’avuga nnamunkanga oba Mig n’agitwala ku kyalo Kkakanhu, abatuuze ne basamaalirira!

“Yajjanga ne nnamunkanga oba Miigi n’azissa ku masomero oba ebibangirizi ebinene abantu ne beerolera,” Erisa Kitimbo, 50, ow’e Kakaanhu bwe yagambye.

Eno yatwalayo pulojekiti z’enkulaakulana nga ffaamu y’ente, obwaguuga bw’ennimiro abantu kwe bapakasa. Yasimba yiika z’emiti 50, n’amaka agomulembe agatudde ku yiika 2, okuli ggeeti n’ekikomera ekiwanvu.

Mu Kampala abaddeyo n’amaka. Yafudde ssukaali ne pulesa mu ddwaaliro ly’ekikungu e Nakasero.
Mu kuziika, ssentebe wa LC5 Kamuli, Salaamu Musumba yamutenderezza olw’okuteeka Busoga ku maapu.

Yadde abadde n’emirimu mingi, Lt. Terikya yacamudde abakungubazi olw’okuzaala abawala musanvu n’abalenzi musanvu!

Nnamwandu, Loy Terikya yassesezza abakungubazi, bwe yamuwaanye nga bw’abadde omusajja emmekete mu byalaavu, eyamwerabiza n’okuganza ebbali!

Mu 2010, Lt. Terikya yannyuka egya State House olw’emyaka wabula aba kkampuni ya Air Cargo ne bamuwa omulimu.

Mu baana be mulimu ayolekedde okumusikira, ng’ono asoma Diguli ya kuvuga nnyonyi.

Kamanda w’amagye g’omu bbanga, Gen Joshua Masaba, akulira abavuzi b’ennyonyi za Pulezidenti, Maj. Gen. Ali Kiiza, abakungu ba Air Cargo n’ebikonge bya Gavumenti bingi, beetabye mu kuziika.

 

Lt. Terikya avuze ennyonyi za bapulezidenti mukaaga