Eyasomosa Muteesa okuva mu Lubiri attottodde ebyaliwo

By Ponsiano Nsimbi

Muteesa yali n’abakuumi be George Maalo ne Katende, era we twabagwirako ne tubatwala okutuuka e Lubaga ku kigo gye twatuuka ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi.

Kamaanyi1 350x210

DANIEL Kamaanyi yali muvubuka wa myaka 29 mu 1966. Ye yavuga  Ssekabaka Sir Edward Muteesa II  mu mmotoka ye okuva mu Ndeeba  okumutuusa e Lubaga ng’atolose mu  Lubiri. 

Mutabani w’eyali minisita  w’eby’obugagga eby’omu ttaka mu  Gavumenti ya Buganda ku mulembe  gwa Ssekabbaka Muteesa, Ephraim  Kamaanyi.

Mutuuze w’e Lungujja mu Makamba Zooni era emboozi  y’okulumba Olubiri aginyumya bwati: 

We baalumbira Olubiri nalina  emyaka 29, nga nkola mu kkampuni  ensunsuzi y’emmwaanyi eya Shlutr  eyali esangibwa mu Industrial Area. 

Okuva edda Obuganda bwabanga  bumu mu buli kye bwakolanga, era  ekibiina kya UNC ekyatandikibwawo  Ignatius Kangavve Musaazi kyali mabega  w’okulwanirira obwetwaze bwa  Buganda okuva ku bafuzi b’amatwale. 

Obubonero bw’okulumba Olubiri  bwali buludde nga bweyoleka naye olunaku olwo olwa May 24, Obote lwe  yalumbira ddala tewali yali akisuubira. 

Mba ndi eka eyo nga bukya ne  mpulira amasasi, ne nzuukusa maama ne nkwata emmundu yange ne nfulumya  emmotoka yange ne mmugamba  nti njolekedde. 

Mu kiseera kino taata yali mu  Amerika era nasibira ku Lubiri oludda  lw’omu Ndeeba nga nneegattiddwaako  omuvubuka omulala Augustine  Mukasa. 

 

Eηηoma Buganda Bumu, Ssaabasajja gye yatongoza okuzza omwoyo gw’obwasseruganda.

Muteesa yali n’abakuumi be George  Maalo ne Katende, era we twabagwirako  ne tubatwala okutuuka e Lubaga  ku kigo gye twatuuka ku ssaawa nga  12:00 ez’akawungeezi. 

Ewa Kalidinali Emmanuel Kiwanuka  Nsubuga gye yava enkeera n’adda mu  maka ga nnyina eyali afumbiddwa Rev.  Kigozi. 

Emmere n’eddagala ery’okutambula  nalyo ffe twaligula era nga ndi ne  Mukasa twasala amagezi okufuna  emmotoka etemanyiddwa nnyo era  ye kwe kuηηamba tugendeko ewa  Walusimbi Mpanga. 

Wabula bwe twatuukayo yatusaasira  naye tetwamubuulira gye tutwala  mmotoka era naye teyatubuuza  n’agituwa buwi. 

Eno gye twatwaliramu Muteesa okuva  ewa Rev. Kigozi ne twolekera Ssentema,  naye n’avaamu n’abakuumi be  nga tetunnatuuka Ssentema ne bayitira  mu bukubo obw’obuwunjuwunju.”   

  ‘Nagezaako okubonereza  Obote okulumba Olubiri’ 

Kamaanyi agamba nti ng’Olubiri  terunnalumbibwa ekintu ekyavaako  ebizibu ebingi mu Buganda ne  Uganda, Abaganda baalina obumu  obutagambika. 

“Naye Obote bwe yalumba Olubiri  lwe namanya nti twalina abantu bangi  abalinga emisege mu ddiba ly’endiga. 

Mu nnaku ntono baali bazzeeyo  dda ku mirimu mu Kampala. Wadde  Buganda yali federo, nga yeemalira  ensonga zaayo naye era mwabangamu  ab’enkwe nga bwe kiri ne kati.

Bano  baakola kinene okulaba nga Buganda  esaanawo.  Abaganda edda baafangayo nnyo  ku mpisa z’abaana ng’omwana wa buli  omu era nga bw’asobya abonerezebwa  omuntu omukulu abaawo, kyokka  bino byonna tebikyaliwo. 

Abaganda abali mu Bungereza  baakuηηaaniranga ku Muteesa House  mu kibuga London buli mwaka  okulaga obumu bwabwe, byonna  byasaanawo. 

Luli ng’okudduukirira enduulu  ku kyalo kyabanga kya tteeka, bwe  wasigalanga mu buliri ng’enduulu  evuze ng’ekyalo kikucoomera nnyo,  era oluusi ng’ofuna n’ekibonerezo. 

Naye kati omuntu akuyitako ng’ababbi  bakukuba akatayimbwa oba n’okuba  enduulu n’ayongera kunyweza luggi  lwe!

Bingi ebikyuse ebiraga obumu  bw’Abaganda obwasereba.

Lwaki  bakujjukiza bujjukiza okugogola oluzzi  oba okulima ekituli ku luguudo oluyita  ewuwo? 

Luli ng’omuntu omuwa ebbaluwa  n’agituusa bulungi ewa nnyiniyo nga  tagisumuludde, kati tomanya oba  eneetuuka! 

Ku nnaku enkulu, abatuuze ku kyalo  nga bayinza okwesonda ne bagula  ente ne bagitta ne bagabana ennyama  buli omu n’afuna; naye olaba bameka  ennaku zino afuna ekintu n’awaako  muliraanwa we?

Nga Ssaabasajja  amaze okutoloka, twagezaako okubonereza  Obote nga tumukuba amasasi  e Bugoloobi okumpi ne wooteeri ya  Silver Springs, kyokka gaakwatamu  mulala! 

Nakwatibwa ne bansiba mayisa, Idi  Amin ye yamponya bwe yansumulula  mu 1972 ng’agenda okuzza enjole ya  Ssekabaka Muteesa nange ne nsobola  okumukungubagirako!” 

Emu ku ngeri abalabe ba Buganda    gye baakozesanga okwawulayawula  mu Baganda kwe kusaasaanya  amawulire nti ‘Abaganda ba nkwe!’. 

“Kino kyakolebwanga okutemaatema  mu Baganda, okubakyayisa  n’okulaga nti bw’onookolagana  ne Muganda munno waliwo ekijja  okukutuukako. 

Edward Lwanyaaga, 75, ow’e  Kammengo mu Mawokota agamba  nti yali muzimbi ku kasozi Bukoto  we baalumbira Olubiri mu 1966: 

Nnasulanga wa Paulo Kayi naye  ekiro ky’olunaku olwo tetwebaka, anti  emmundu yasula etokota. Enkeera  ng’olengera omukka e Kampala, ffenna  twali mu kutya n’okwennyamira. 

Bingi bye twafiirwa, naye ekirungi nti  Abaganda bategedde era bagezaako  okwezimba mu ngeri yaabwe.” 

Ssaabagabo w’eggombolola y’e  Nsangi, Vincent Kayongo agamba  nti obumu n’obwasseruganda edda  bwatandikiranga mu maka, mu  kika, ku kyalo ng’abantu babeera  n’enkolagana ennungi. 

“Abakyala baabanga n’ebibiina  bya Munno mu kabi nga bidduukirira  abantu ku mikolo egy’essanyu ne  mu nnaku mu bintu ebikozesebwa  ng’emmere, enku n’okubakwatizaako  emirimu era nga tewali yeeganya. 

Omuntu bwe yakyazanga abagenyi  nga talina mmere banne baamudduukiriranga,  oluusi ng’ayinza  n’okubayita ne bamwaniririzaako ku  bagenyi be. 

Ng’omuntu bw’atta  enkoko n’agirya ku muliraanwa  we oyinza okumwewuunya  kubanga enkoko  eno yatakuliranga  ku muliraano ekitegeeza  nti buli omu yalina okugirabirira. 

 

Bino byonna  byakuumanga obumu  mu bantu baffe. Luli  ng’oyinza okulambula  munno n’omalayo  omwezi; kale emmere  yabangawo nga  n’eby’okukola si bingi  nnyo, naye lwaki ne  kaakati omuntu akulabako  essaawa ebbiri omwekaanya! 

Omuganda bwe yayiisanga omwenge  yagabulanga ekyalo, ne bwe  gwabanga gwa kutunda ng’aggyako  ekidomola ky’abantu abaamuyambangako,  kati ne muliraanwa omuyitako  kkuutwe.” 

Omumbejja Nnaalongo  Grace Nnaabakaabya  ow’e Kyengera agamba nti  ebibiina byobufuzi bikoze  kinene okwawula abantu. 

“Abaana tebaayenjeeranga  nnyo, ate nga  buli w’agenda waliwo  ‘muzadde we’ amulondoola.  Nga basomera mu  masomero ga ddiini, kati  n’omusomesa tekimukwasa  nsonyi kukabawaza  mwana gw’omuwadde. Kale obumu bunaabaawo  butya?,” bw’abuuza. 

Hannington Kyobe  ow’e Buddo agamba  nti okukuza ennaku  enkulu mu Buganda  yabanga emu ku ngeri  y’okukuuma obumu  n’obwasseruganda.  “Abantu baakuηηaananga  ne bafumba ekijjulo  eky’awamu.

Okulimira  awamu nakyo kyakolebwanga,  ng’amaka ng’asatu  geegatta ne gasooka  galima ewa gundi, ne  gadda ew’omulala. Bino  byonna byakuumanga obumu.  OMWAMI W’OMULUKA  Ono ye yabeeranga omukulembeze  w’oku ntikko mu kitundu,  nga y’abeera n’ennyumba esinga  obunene. 

Ekyabazimbisanga  ennyumba ennene  kyali nti edda  abantu abaatambulanga  eηηendo  empanvu baawummuliranga  wa  mwami wa kyalo.  Akantu ako  okalaba ng’akatono  naye kaakuumanga  obumu, omanya nti  gy’ogenze tojja kufa  njala.

Ekitawuluzi 

Ekitawuluzi kye  kifo ekyabeeranga  ku buli muluka omwami w’ekyalo we  yatuuzanga enkiiko ez’okutawulula  enkaayana ku kyalo. Okwawukanako  n’omulembe guno, mu biseera ebyo  ekitawuluzi kyabeeranga kizimbe bulungi  naye abantu bwe bajja beesenza  mu Buganda, ebitawuluzi byamenyebwa ate ebimu byagwa olw’obutafiibwako. 

Amakulu agaabanga mu kuzimba  ekitawuluzi gaali ga kyalo kumala nsonga  zaakyo naye ennaku zino ogwo omukisa  teguliiwo, gwe basobezza addukira ku  poliisi, gye biggweera nga bali mu kkooti. 

EKIKOLEBWA OKUZZA OBUMU 

Minisita omubeezi owa gavumenti  ezeebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki  agamba nti ebika byakuumanga obumu  bw’Abaganda. “Enkiiko z’ebika zaafangayo  okukumaakuma abazzukulu. Kati tukubiriza  ebika okuzza obumu obwo nga biyita  enkiiko mu biseera ebigere. Bwe zinaafuulibwa  ez’enkulaakulana obumu mu byo  bujja kudda mangu. 

Ebyemizannyo okuviira ddala ku mipiira  gy’ebika n’egy’amasaza tebitandiise kati,  byaliwo kuva dda lwa kukuuma bumu  n’okugatta abantu ba Ssaabasajja.

Kye twagala  kati be baamasaza n’abakulu b’ebika  okutwala ebyemizannyo ng’ekikulu kuba  birina omulimu gwe bitukolamu.  Ssaabasajja olw’okuba alaba nti obumu  mu bantu ba Buganda bwetaagisa ye mulokozi  waffe, kye kyamuteesaawo eηηoma  Buganda Bumu, okujjukizanga abantu ba  Buganda nti obumu bwe bujja okutukulaakulanya,”  bwe yagambye.