Ebyaliwo abatujju lwe batta abantu 76

By Benjamin Ssebaggala

WAAYITAWO wiiki emu nga bbomu zimaze okutta abantu, poliisi n’ekwata Ali Isa Senkumba 19. Ono baamukwatira Kenya ne bamuzza mu Uganda.

Bomb1 350x210

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

WAAYITAWO wiiki emu nga bbomu zimaze okutta abantu, poliisi n’ekwata Ali Isa Senkumba 19. Ono baamukwatira Kenya ne bamuzza mu Uganda.

Yakkiriza nti yali akolagana ne al Shabaab. Kitaawe Abdallah Muyingo yali abeera Makindye ng’avuga kagaali ka bodaboda ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa ate nnyina yali abeera Nabbingo.

Senkumba yategeeza nti bbomu zino baazikukusa kuva Somalia, zaali 8 kyokka baatulisaako 4 ezisigadde tewali yamanya mayitire gaazo.

Muyingo yategeeza nti mutabaniwe yali amaze emyezi 10 e Kenya kyokka nga tamanyi ky’akolayo. Yaddamu okumuwuliza nga bamukutte era Senkumba yategeeza nti aba al Shabaab baali batendeka abavubuka bangi.

July 30, 2010: Kkooti y’e Nakawa yasomera abasajja basatu; Idris Magondo ng’olumu yeeyita Christopher Magondu, Hussein Hassan Agad ne Muhammed Adam Abdow emisango 89 n’ebasindika ku limanda e Luzira.

Magondo baamusomera emisango nabwatuka n’aseka, munnansi wa Kenya yali akolera mu kkampuni ya Flexible Trading e Nairobi.

Abdow yali abeera Tawa Mukuen e Kenya ate Agad yali asomesa ddiini ya Busiraamu.

 

ENGERI GYE BAALUKA OLUKWE :

July 30, 2010: Eyali akulira ekitongole ky’amagye ekikessi, James Mugira yalaga abaamawulire abavubuka abannyonnyola engeri gye baalukamu olukwe lw’okutega bbomu ezatta abantu.

Issa Luyima yategeeza nti ye yasooka okutambuza Absomaali ne balambula ebifo eby’enjawulo ebisanyukirwamu mu Kampala balondeko kye baagala okutegamu bbomu.

Yannyonnyola nga bwe yalambuza Munnakenya ekifo kya Ethiopian Village Restaurant e Kabalagala eyatuukiriza misoni y’okutega bbomu ku lwa July 11 era ye yafiiramu.

Luyima yagamba nti ye yatwala bbomu ku Makindye House era ye yalina okunyiga essimu eginasula kyokka kyalema n’etatulika era abeebyokwerinda baagizuula oluvannyuma ne bagiggyayo.

Yagamba nti baatambulira ku bodaboda okuva e Namasuba nga bbomu eri mu kisawo, baali bagitaddemu essimu gye baalina okukuba ekankane enasule bbomu eno.

Yategeeza nti bino byonna baabimutendekera mu kibinja kya Foreign Fighters Camp e Somalia.

Edrisa Nsubuga yanyumya bwe baatulisa ez’e Lugogo:

Natuukawo nga bukyali ne mpummuza ekisawo wansi w’emmeeza. Nalinda Omusomali eyali asigadde ebweru nga ndaba tayingira kyokka ng’obudde buyita naye yali atidde okuyita ku mulyango nga yeekengedde abaserikale.

Oluvannyuma yafuna omwagaanya nga waliwo abakazi abalwana n’awagaanya n’ayingira era ye bbomu eyiye yali agyesibye.

Yandaga essaawa ng’antegeeza nti ku 5:15 nze ne nkitegeera nti we twalina okutulisiza.

Obudde olwatuuka ye n’atulisa eyiye, abantu nga badduka nange nanyiga essimu bbomu eyookubiri n’etulika, essimu nagisuula mu kaabuyonjo.

Yaddamu okubinnyonnyola Omulamuzi. Issa Luyima yategeeza nti yatendekerwa Somalia kyokka mu buto yasomera Kawempe High School n’akolerako ku Kampala International yunivasite era yabeerako e Nakulabye.

Ye Muhammed Mugisha kw’olwo yategeeza nti baamukwatira Kenya kyokka nga baluka olukwe lw’okukuba e Kampala yasooka kufuna nnyumba e Nakulabye we baalina okutegekera olukwe kyokka bwe yategeeza bakama be mu al-Shabaab ne beekengera kubanga ku muliraano waali wasulawo abaserikale.

Baasalawo okukyusa ne badda e Namasuba gye baapangisa ennyumba ne basinziira awo.

Yannyonnyola nti ekiseera ekyo baali bakulirwa mukama waabwe, Abu Zubair owa al-Shabaab ng’abeera Somalia.

OMUPOLIISI YALEETA EMITWE GY’ABANTU MU KKOOTI:

Oludda oluwaabi ku bajulizi be lwaleeta mu kkooti kwe kuli omupoliisi ASP Charles Aluma, eyawuniikiriza kkooti bwe yatuuka n’ategeeza nti ku bizibiti by’alina kuliko emitwe gy’abantu ebiri abateeberezebwa nti baali batujju.

Yannyonnyola nti abantu abaafa bonna abenganda zaabwe baanona emirambo ne bagenda ne bagiziika kyokka gino emitwe gyabulako agirondoola.

Bwe yali agiggyamu kkooti n’egaana okugiraga mu lujjudde okwewala ensisi n’okutiisa abantu, omulamuzi n’alagira bagira bagitereka mu ggwanika e Mulago.

Omuserikale omulala eyawa obujulizi ye Prossy Namukasa eyali akulira okunoonyereza ku poliisi e Kabalagala etwala awali Ethiopian Village. Nalaba emirambo mingi nga gisaasaanidde ekitundu ne mbalako 15.

Ennyama y’abantu yali esaasaanidde ekitundu kyonna ne tugironda nga tussa mu kiveera mwe twagitwalira mu ggwanika. Nalonda emitwe gy’abantu 2 nga givulubanye omusaayi ne ngiweereza ku ggwanika era bagireese mu kkooti.

Bernard Tagoya, naye mujulizi eyajja mu kkooti n’ategeeza nti okusinziira ku nsisi gye yafuna takyalya nnyama. Abantu babiri baamufiira mu ngalo okwali omukazi gwe yali agezaako okusitula bamutwale mu ddwaaliro n’akutuka, n’omusajja eyali ayambadde essaati enjeru nga teriiko mikono.

“Bwe ntuuka mu kifo ekirimu abantu abangi nga ku ppaaka ya takisi mu Kampala nneekanga ne ntandika okukankana.” Ekitongole kya Amerika ekikessi (FBI) nakyo kyaleese obujulizi mu musango guno, kyokka lwe bazze mu kkooti ebyokwerinda byanywezeddwa nnyo ku kkooti.