Kuva mu ssomero nga ndi mukulembeze: Ssuubi Kyinyamatama

By Scovia Babirye

JULIET Ssuubi Kyinyamatama y’omu ku babaka abasinga obuto mu Palamenti ey’ekkumi. Ku myaka 27 gy’alina ye mubaka omukyala wa disitulikiti y’e Rakai, engeri gy’alinnyerinnye amadaala okutuuka w’ali yeewuunyisa.

Nya 350x210

JULIET Ssuubi Kyinyamatama y’omu ku babaka abasinga obuto mu Palamenti ey’ekkumi. Ku myaka 27 gy’alina ye mubaka omukyala wa disitulikiti y’e Rakai, engeri gy’alinnyerinnye amadaala okutuuka w’ali yeewuunyisa.

Kyinyamatama muwala wa Benon Ssuubi Kyinyamatama n'omukyala Immaculate Ssuubi abe Buyamba- Kacheera, ye mwana omuberyeberye ku baana abataano. “Erinnya Kyinyamatama lya jjajjaffe omusajja naye simanyi kye litegeeza.

Pulayimale nagisomera mu Ronald Ruta P/S e Lyantonde- Kabula okuva mu 1993 okutuuka mu 2001 gye nava ne ηηenda mu Aisha Girls e Mbarara- Kabingo mu S1 mu 2002.

Oluvannyuma nagenda mu Valley College e Bushenyi okuva mu 2003 okutuusa mu 2007 gye namalira S4 ne S6.

Diguli nagisomera mu Uganda Christian University e Mukono okuva mu 2009 okutuuka mu 2012 oluvannyuma ne ηηenda ku Carnegie Mellon University e Washington Pittsburgh mu Amerika gye nasomera diguli eyookubiri mu ssaayansi w’ebyobufuzi,” bw’agamba.

Okuva mu pulayimale, Kyinyamatama abadde mukulembeze. Agamba nti ng’ali mu P5 ye yali akulira ebyobuyonjo mu bayizi, mu S1 n’abeera nga y’akulira okukwata obudde, mu S3 ng’amyuka pulifekiti w’ebyobulamu.

“Bwe natuuka mu siniya neetaba nnyo mu kibiina ekikubaganya ebirowoozo, era nassaawo ekibiina ky’ebyobufuzi mu ssomero lyaffe ekiyitibwa Liberal Party nga nze nkikulira n’okutuula ku kakiiko akakwasisa empisa ak’essomero.

Nga ndi mu Yunivasite sseesimbawo kubanga nalina ekiruubirirwa ky'okwesimbawo wabweru ng'omumyuka wa ssentebe w'abavubuka ba NRM mu Nakawa Divizoni era nayitamu,” bw’agamba. Ayinza okuba y’asoose okubeera omukuloembeze mu famire yaabwe, wadde okukulira ekyalo! Bonna ba nneekoleragyange.

OKUKOLA EMIRIMU

Anyumya: Nga mmaze okutikkirwa ku UCU nasaba omulimu mu kitongole ky'amawanga amagatte mu 2013 gye bampa omulimu nga ndi muyambi wa ‘Social welfare’ mu Uganda, Rwanda, South Sudan ne Burundi era gye mbadde nkolera okutuusa omwaka oguwedde lwe nvuddeyo ne nzija nneesimbawo okuvuganya ku ky'omubaka w’e Rakai.

Omulimu guno gwetoloolera mu kulabirira bantu naddala abateesobola omuli abakadde, abalwadde b'obulwadde obw'enjawulo, abaana abato, abatayina mwasirizi n'ebirala.” Kyinyamatama agamba nti kuva buto bwe yaddanga eka n’anyumiza kitaawe ebyabadde ku ssomero, naddala mu kulonda abakulembeze ng’amubuuza ‘weesimbawo ddi?’ “Kino yakimbuuzanga nnyo ku buli mutendera.

Kino bwe nakigattako okusikirizibwa abakyala abali mu byobufuzi ne nsalawo okwesimbawo. Nyumirwa kulaba omukyala ayogera mu bantu abangi naye nga bonna bamuwuliriza,” bw’agamba.

Agamba nti agenda kulondoola enteekateeka za Gavumenti okulaba nti buli kimu kituuka we kirina okugenda sso si kubulira mu kkubo.

Ayagala okukozesa pulogulaamu ya Gavumenti okutuusa amazzi mu bitundu by'e Rakai byonna kuba ky'ekizibu ekisinga obunene mu bantu baayo. “Nja kujjukira Pulezidenti kuba yatusuubiza okufuna amazzi e Rakai nga tugaggya mu nnyanja Kacheera n’e Kajeera.

Ebitundu bye Kooki n’e Buyamba bye bisingamu ebbula ly'amazzi. Bwe nali nsaba akalulu nategeeza abantu nti essira ηηenda kulissa ku kukomya okufumbiza abaana abawala abatanneetuuka n'okutumbula ebyenjigiriza mu baana abawala era nja kukituukiriza,” bw’agamba.

Agamba nti omwana asaanye okulekebwa asome, bw’amaliriza olwo n’afumbirwa nga yeeyagalidde. “Olwo aba ajja kuleeta n'ebisinga ku nte obungi n'ebbeeyi kuba buli lw'asoma obwongo bwe bugenda bweyongera okuyiiya,” bw’agamba.

Yagambye nti ekizibu ky’okufumbiza abaana abatanneetuuka kinene nnyo e Rakai,

ENTEEKATEEKA KU MIRIMU MU BAVUBUKA

“Abavubuka ηηenda kubatwalira abakugu babasomese emirimu gy'emikono, bayige basobole okwetandikirawo emirimu egyabwe.

Ekizibu ekira kya bakazi abafa nga bazaala. Naye nja kutuula n’abakyala mu byalo tusalire wamu amagezi.

ηηenda kulwana okulaba nga nsitula omutindo gw’ebyobulamu e Rakai, okulaba ng’eddagala eriri mu malwaliro teribbibwa, n’okujjukiza be kikwatako nti e Rakai tulinayo obwetaavu bwe buti kikolebweko,” bw’awera.

Kyinyamatama si mufumbo. Agamba nti kino kijja kumuwa obudde bw’ayagala okukolerera abantu abaamulonda.

Agamba nti okuba nga yalondebwa nga y’omu ku babaka abasinga obuto mu Palamenti kye kiraga nti abantu b’e Rakai bamwesiga nti ajja kubakolera bye baagala.

“Nkubiriza buli muntu okufuba okulaba nti asoma okufuuka ekyo ky'ayagala okubeera ate n'okubeera n'essuubi buli kiseera,” bw’agambga.