Engeri gy'ofuna mu mafuta g'e Bunyoro

By Musasi wa Bukedde

OKUSIMA amafuta kuyingidde omutendera oguliko ebifuna! Omudidi gw’ensimbi gwe bategese okuyiwamu kati gubadde tegunnalabwako era okufuna ku butitimbe buno, tandikirawo kati okutega.

Mafuta1 350x210

Bya RICHARD KAYIIRA

OKUSIMA amafuta kuyingidde omutendera oguliko ebifuna! Omudidi gw’ensimbi gwe bategese okuyiwamu kati gubadde tegunnalabwako era okufuna ku butitimbe buno, tandikirawo kati okutega.

Mu bbanga ery’emyaka 12 bukya amafuta gavumbulwa, omugatte gw’ensimbi ezaakateekebwamu zibalirirwa okubeera mu buwumbi bwa doola 3 n’ekitundu.

Wabula ku mulundi guno, ssente ezigenda okuteekebwamu zikubisaamu emirundi kumpi mukaaga mw’ezo zonna ezaakassibwamu.

 luguudo olugenda mu kitundu kya ingfisher awali enzizi endala Oluguudo olugenda mu kitundu kya Kingfisher awali enzizi endala.

 

Ssente ezibalirirwa okuteekebwamu ku mutendera guno zigenda kukunukkiriza mu buwumbi bwa doola 20. Ssente zino ziri mu miteeko ena:

1 Okusima (new exploration) bagenda kuyiwamu obuwumbi busatu obwa doola

2 Okutereeza ebifo we banaasima amafuta (development of fields) babaliridde obuwumbi munaana obwa doola

3 Okuzimba payipu etambuza amafuta kwakuteekebwamu obuwumbi busatu n’ekitundu obwa doola

4 Okuzimba essengejjero ly’amafuta (refinery) kuteekebwemu obuwumbi buna obwa doola.

Mu kiseera kino, bajeti ya Uganda eri mu buwumbi bwa doola munaana era okugiyiwamu obuwumbi obulala obukunukkiriza mu 20 kisuubirwa okuleeta enjawulo ey’amaanyi.

Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta mu ggwanga ekya Petroleum Authority Uganda (PAU) Ernest Rubondo yagambye nti, guno gwe mukisa buli Munnayuganda okutandika okunoga ku ssente z’okusima amafuta kubanga kati zigenda kubeera mu bungi.

 luzzi lwamafuta nga bwe lufaanana Oluzzi lw'amafuta nga bwe lufaanana.

 

ENGERI GY’OFUNA KU SSENTE Z’AMAFUTA

Rubondo yagambye nti ng’oggyeeko okufuna emirimu (egy’ekikugu n’egitali gya kikugu) engeri ennyangu Bannayuganda gye basobola okufuna ku ssente zino kwe kwenyigira mu kuguza amakampuni agasima amafuta ebintu bye geetaaga okukozesa mu mulimu guno wamu n’ebyo ebiyamba abakozi.

Emirimu 13,000 gye gibaliriddwa ku mutendera guno. Emirimu egisinga ku gino gya mikono ate emirala gya bayinginiya. Abantu abali wakati wa 100,000 ne 150,000 nabo baakufuna emirimu nga giva mu pulojekiti ezinaamerukawo nga zeekuusa ku kusima amafuta.

Ku baagala okukola bizinensi mu by’amafuta, ekikulembera mu byonna kwe kussaawo kkampuni era bw’omala okufuna ebiwandiiko byayo ng’ogiwandiisa mu makampuni agakkirizibwa okukola bizinensi mu by’amafuta.

Asangiddwa ng’olina kkampuni, ggwe owandiisa mpandiise n’egattibwa ku lukalala lw’amakampuni agasunsuddwa mu nteekateeka eyatuumiddwa National Suppliers Database (NSD).

Amakampuni agamaze okusunsulwa aba Petroleum Authority Uganda (PAU) ge gokka agakkirizibwa okukola bizinensi mu by’amafuta era kino ky’ekifuula okwewandiisa okubeera okukulu ennyo.

 bakozi ba kkampuni esima amafuta eya Abakozi ba kkampuni esima amafuta eya CNOOC.

 

Ttani akakaadde kamu n’ekitundu ak’ebikozesebwa mu kuzimba bye babaliridde okukozesa ku mutendera guno.

Bizinensi ezitunuuliddwa ennyo mulimu eya wooteeri ne loogi okusuza abantu, okutunda ebyokulya n’eby’okunywa mu makampuni agasima amafuta n'okupangisibwa okukola ku by’entambula.

Abalina ettaka mu bifo ebigenda okuzimbwako ekisaawe ky’ennyonyi n’awagenda okuyita payipu y’amafuta kw’ossa awagenda okuteekebwa eddongoosezo ly’amafuta nabo beesunga.

Abamu ku bantu abatetenkanya, bazze bagula ettaka mu bifo ebyo kubanga enkulaakulana enaaleetebwa amafuta esuubirwa okulinnyisa ebbeeyi y’ettaka bafune amagoba.