Abantu be batulugunyizza balaajana

By Musasi wa Bukedde

KAFEERO yaakakwatibwa enfunda ssatu kyokka agamba nti, buli lwe bamukwata babadde bamutulugunya era y’omu ku balaajana olw’obulumi n’ebisago ebyamutuusibwako.

Torture1 350x210

Bya MUSASI WAFFE
 
KAFEERO yaakakwatibwa enfunda ssatu kyokka agamba nti, buli lwe bamukwata babadde bamutulugunya era y’omu ku balaajana olw’obulumi n’ebisago ebyamutuusibwako.
 
Charles Mutaasa Kafeero 32, ow’e Zzana ku luguudo lw’e Ntebe azze avunaanibwa emisango egiwera era egisinga nga gyetoloolera ku kwetaba mu nkuhhaana ezimenya amateeka n’okukuma omuliro mu bantu.
 
Agamba nti baasooka kumukwata mu December 2015 era nti n’atulugunyizibwa nnyo. Yattottodde nti: Nnali ntuuka e Kamwokya mu Kampala, abasajja basatu ne bansalako. Mmotoka yaabwe ekika kya Prado eyali esimbiddwa ku mabbali g’ekkubo baaginnyingiza ku kifuba.
 
Munda nasangamu bannaabwe abalala babiri, olwo abasajja ne bawera bataano. Bansiba kantuntunu ne bankubira omwo okujula okunzita.
 
Bantuusiza mu kasenge n’okutuusa leero ke siyinza kumanya gye kasangibwa. Kaali kakutte enzikiza nga bakozesa tooci okumulisa munda.
 

 

Omusajja eyalina ekyuma ekiwange mu kiti yayingira n’ambuuza lwaki nneetaba mu kukuma omuliro mu bantu beekalakaase; kyokka nnali sinnayanukula, omusajja oyo n’anteeka ekyuma ekyo ku lubuto era katono obulumi bunzite kubanga ekyuma kyali kyokya nnyo nga kiringa kye yali yaakaggya mu ttanuulu.
 
Waggulu waakyo kwaliko ekiti era omusajja oyo yali akutte ku kiti ekyo nga bw’atambuza omuggo ku lubuto lwange. Alina we yatuuka n’asimbawo omuggo ogwo okumala akaseera era enkovu awo yalemerawo.
 
Kafeero agamba nti oluvannyuma lw’ennaku munaana, abasajja baasalawo bamuyimbule. Nti baamusiba kantuntunu ne bamusuula ku Lugogo By-Pass ku ssaawa nga 8:00 ez’ekiro.
 
Aba Bodaboda nti baamuggyawo ng’ali mu mbeera mbi ne bamutwala e Mulago era eyo Dr. Kizza Besigye gye yamusanga n’asalawo bamwongereyo ku Case Hospital gye baamujjanjabira okutuusa lwe yawona n’asiibulwa nga December 17, 2015.
 
Kafeero nga ye yali Ssentebe wa National Youth Activists mu Uganda yagambye nti bazze babatulugunya ne banne abali mu kisinde ekyo okuli Yoweri Kintu, Nicholas Lwanga, Frank Baziwa, Dafara Ssenjakko, Edirisa Mutebi ne Syrock Nayesiga era buli lwe babakwata nti bavaayo banyiga biwundu.
 
Nga May 5, 2016 nti baamudda mu biwundu bwe yali yeekalakaasa ne banne mu Kampala nga bawakanya ebbula ly’emirimu mu bavubuka ne bamutulugunyiza mu kaduukulu ka poliisi.
 
Agamba nti baamukuba obukongovule n’amaviivi era yagenda okuvaayo nga takyasobola kutambula.
 
Omulundi ogwokusatu baamutwala Nalufenya era agamba nti baamutulugunya nnyo era yafuna obuweerero mu December 2016 ng’ebyali bimuvunaanibwa byonna kkooti ebigobye; wabula kati ayagala bwenkanya bamuliyirire era n’abaserikale abaamutulugunya bavunaanibwe.
 
Nicholas Lwanga 30, ye kati aliira ku nsiko oluvannyuma lw’okumukwata omulundi ogwokubiri ne bamutulugunya nnyo ng’avunaanibwa okukuma omuliro mu bantu.
 
Yasooka kusibibwa Nateete nga May 9, 2018 bwe yali yeekalakaasa n’ekibinja ky’abavubuka abalala abaali bakulembeddwa Habib Buwembo owa FDC nga bonna baavunaanirwa ku fayiro Ref. 52/9/5/18.
 
Oluvannyuma lw’aba famire ye ne mikwano gye okulafuubana ennyo, Lwanga yayimbulwa ku kakalu ka poliisi nga May 11, 2018 kyokka yaddamu n’akwatibwa abasajja abaali mu ngoye eza bulijjo mu November 2018 era ku mulundi ogwo lwe yatulugunyizibwa nga bamulumiriza okukuma omuliro mu bantu n’okwetaba mu nkung’aana ezimenya amateeka n’okwekalakaasa ku nsonga ezeekuusa ku kisinde kya People Power.
 
Banne wabula bagamba nti Lwanga yatoloka ku baserikale abaali bamukuumira e Kyengera nti era okuva olwo abadde mu kwekweka ng’atya okuddamu okukwatibwa n’okuddamu okutulugunyizibwa.
 
Ambrose Mulindwa omutuuze w’e Mutundwe mu Zooni 2 naye agamba nti baamukwata mu biseera by’okwekalakaasa ku nsonga za Bobi Wine era nti ne bamukuba nnyo nga na kati ali ku ttaka alaajana kimu bulumi.
 
Baamukwata ne banne okuli Jamiru Isiko, Ivan Mubiru, Ignatius Ssekimpi ne Lawrence Kibuule.
 
Abaserikale nti baabatambuza mu bitundu bingi bye bataasobola kumanya nti era ekifo we baasinga okubatulugunyiza, emmotoka baagiwulira eyingirira ddala mu nnyumba ng’eringa eyeesolossa mu kikko era eyo nti gye baabakubira okuboogoloza.
 
Obulumi obungi agamba nti abuwulira mu kifuba. Oluvannyuma lwa balooya okuyingira mu nsonga, baabaggyayo gye baali babakuumira ne babatwala ku poliisi e Nateete ne babaggulako omusango gw’okwetaba mu lukuhhaana olumenya amateeka ku fayiro CRB 350/2019 era gye baabaggya okubatwala ku kkooti ya Mwanga II eyabayimbula ku kakalu ka kkooti.
 
Mulindwa agamba nti alumizibwa nnyo mu kifuba era akozesa ssente nnyingi okufuna abasawo abakugu bamujjanjabira awaka, wabula abaamutulugunya nti tekuli yali
avunaaniddwa wadde n’okumuyambako ku bujjanjabi.
 
icholas wangaNicholas Lwanga

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, mu nkola ya poliisi, abaserikale tebakkirizibwa kutulugunya bantu era n’awa amagezi abalina okwemulugunya okukutwala mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa, kinoonyereze.
 
Mu nteekateeka z’olunaku lw’okulwanyisa okutulugunya abantu mu nsi yonna olugenda okukuzibwa ku Lwokusatu lwa wiiki ejja, emikutu gya Vision Group gigenda kukuwa emboozi ez’enjawulo ezikwata ku kutulugunya abantu.
 
Abamu batulugunyizibwa lwa ttaka, abalala baba bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka ate abamu baba babanoonyamu bujulizi.