Engeri abavubuka gye bazze beetooloolerwako ebyobufuzi bya Uganda

EBYOBUFUZI bya Uganda bizze byetooloolera ku bavubuka embulakalevu okuviira ddala ng’eggwanga terinnafuna bwetwaze.

 Museveni

Bya HUZAIMA KAWEESA 

EBYOBUFUZI bya Uganda bizze byetooloolera ku bavubuka embulakalevu okuviira ddala ng'eggwanga terinnafuna bwetwaze. Bano baakola kinene okulwana olutalo olwatuusa eggwanga ku bwetwaze mu 1962.

Wadde Uganda yafuna obwetwaze mu 1962, waliwo okusoomoozebwa okuzze kubeerawo nga mu mbeera zonna abavubuka bavaayo wadde ng'amaanyi agaalagibwa abavubuka abaalwanirira ameefuga leero kizibu okugalaba. Abavubuka bano bazze boogerwako nnyo era nga kizibu okwogera ku byobufuzi bwa Uganda n'obaleka ebbali.

 IGNATIUS KANGAVE MUSAAZI

Ono yatambulirwako nnyo olutalo olwanunula Uganda okufuna obwetwaze  mu 1962. Yazaalibwa mu 1905 nga we twafunira obwetwaze yalina emyaka 57. Ye yali munnabyabufuzi eyasooka okutondawo ekibiina ky'ebyobufuzi mu Uganda ekya Uganda National Congress (UNC) nga 2-03-1952.

Ofiisi ze zaali ku kizimbe kya Musajjalumbwa e Mengo mu Kampala. Ono yali yeetabako mu bwegugungo bwa 1945 mu Buganda nga bawakanya ebbeeyi ya ppamba n'emmwaanyi nga baagala n'okubeera n'abakulembeze abaabwe.

Oluvannyuma Sir John Hathorn Hall eyali Gavana mu kiseera ekyo yakimuteekako nti ye yakulemberamu abantu okwegugunga.

Musaazi yasibibwa emirundi 37 mu lutalo olwa Uganda okufuna obwetwaze ng'ayagala Bannayuganda okufuna eddembe n'okweyagalira mu nsi yaabwe. Yafa mu 1990 n'aziikibwa ng'omuzira ku kisaawe e Kololo. 

 usaazi Musaazi

 

BEN KIWANUKA

Ono yazaalibwa nga 8-05-1922.  We twafunira obwetwaze yalina emyaka 40 era nga munnamateeka omutendeke  yalwanirira nnyo eddembe ly'abantu n'okulaba nga tebatulugunyizibwa. Kiwanuka yasibibwa mu 1969 ku mulembe gwa Apollo Milton Obote. Yateebwa nga Idi Amin amaze okuwamba mu 1971.

Nga wayiseewo akaseera Kiwanuka yawakanya enfuga ya Amin ng'agamba nti avudde ku mulamwa. Yakwatibwa abaserikale ba Amin ng'agamba nti yali yeetabye mu lukwe okukomyawo Obote mu bufuzi. Kigambibwa yattibwa abaserikale ba Amin e Makindye mu 1972. 

SIR EDWARD MUTEESA II

Ono ye pulezidenti wa Uganda eyasookera ddala nga  Uganda efunye obwetwaze mu 1962 ng'alina emyaka 38. Yazaalibwa nga 19- Nov-1924 e Makindye.

Ye yali omwana owookutaano mu baana ba Ssekabaka Daudi Chwa II  eyali Kabaka wa Buganda eyawummula mu 1939. Yasomerako ku King's College

Ku myaka 15 nga Ssekabaka Daudi Chwa akisizza omukono,  yalondebwa okumuddira mu bigere era ono baamulindako n'aweza emyaka emituufu n'afunira ddala obuyinza obujjuvu. Oluvannyuma yagenda e Bungereza n'asoma ng'eno gye yafuukira kaputeeni.  

Oluvannyuma yajja akuzibwa mu madaala n'afuuka Maj. General era ye yali Omuddugavu eyasooka  okutuuka ku ddaala lino.

Wakati wa 1945 ne 1950 Muteesa yafuna okuwakanyizibwa Baganda banne nga bagamba nti aginya Abazungu.

Mu 1961 waliwo olukiiko olwakubibwa mu London nga baagala Buganda okwekutula ku Uganda era Muteesa ng'ayita mu kibiina kya Kabaka Yekka (KY) olwakomawo yakola omukago n'ekibiina kya UPC ne bawangula DP olwo Muteesa n'afuuka pulezidenti ku myaka 38. 

sekabaka uteesaSsekabaka Muteesa

 

APOLLO MILTON OBOTE

Yazaalibwa mu 1925 mu Akokoro. We twafunira obwetwaze yali w'amyaka 37  ng'asoma e Makerere. Yavaayo tamazeeko ng'agamba nti baali bamukaka okusoma by'atayagala kyokka kigambibwa nti yali agobeddwa ng'akulembeddemu okwekalakaasa.

e Makerere Obote yali yeetwala ng'omukulembeze ng'afunye ettuttumu mu bukiikaddyo bwa Uganda. Oluvannyuma yagenda e Kenya gye yeetabira mu byobufuzi byayo n'akolerayo emirimu egy'enjawulo mu kibiina kya Kenya African Union.

Mu 1960 yacankalanya Kangave Musaazi ne Ben Kiwanuka mu kibiina kya U.N.C n'afuuka pulezidenti waakyo. 

Oluvannyuma yakivaamu n'akola ekikye ekya Uganda People's Congress (UPC).

Mu 1962, ng'awanguddwa ab'ekibiina kya Democratic Party (DP) yakola omukago n'ekibiina kya Kabaka Yekka (KY) ne bawangula akalulu akaategekebwa era Obote yafuuka Ssaabaminisita ate Sir Edward Muteesa n'abeera omukulembeze w'eggwanga.

Mu 1964 omukago guno gwatandika okuyuuga era mu 1966 Obote yalagira Idi Amin eyali omuduumizi w'amagye ne balumba Olubiri lwa Kabaka e Mengo.

Mu 1969 yali atandise okufuna obutakkaanya n'abantu abamu mu kibiina kye era baayagalako n'okumuttira e Lugogo.

Mu 1970 bwe yafuna obutakkaanya n'Abazungu baaluka olukwe lw'okumuwamba era mu 1971 bwe yali agenze mu lukuhhaana e Singapore yawambibwa Idi Amin n'asalawo okugenda e Tanzania gye yasinziira okuteekateeka okulumba Amin era mu 1979 Obote yawamba Amin olwo n'addamu n'akulembera Uganda. 

 bote Obote

 

 

IDI AMIN

Yazaalibwa mu 1925 nga we twafunira obwetwaze ng'alina emyaka 37. Ono teyasoma wabula yafuuka ensonga mu byobufuzi bya Uganda ne ku lukalu lwa Africa  n'ensi yonna okutwaliza awamu.

Mu 1946 ku myaka 21, yayingira mu magye g'Abazungu ng'omufumbi w'emmere. Kino kyamuwaliriza okuyingirira ddala amagye n'agenda ng'alinnya amadaala ppaka mu 1965 lwe yafuuka omuduumizi w'amagye ga Obote.

Bwe yakizuula nti Obote ayagala kumusiba n'ategeka amagye era mu 1971 yawamba  ne yeerangirira ng'omukulembeze w'eggwanga omuggya.

Mu 1975 Amin yafuuka ssentebe w'omukago gwa Africa ogwa Organisation of African Unity ogwali gutaba amawanga ga Africa gonna wabula mu 1978 Amin yagezaako okuwamba akatundu ka Tanzania ke bayita Kagera n'alemesebwa Julius Nyerere.

Kino kyanyiiza Nyerere ne balumba Uganda era nga 11-04-1979 Amin wawambibwa n'awangangukira mu Libya gye yava n'agenda e Saudi Arabia gye yafiira mu 2003. 

 di min ada Idi Amin Dada

 

JEHOASH MAYANJA NKANGI

Ono yali munnamateeka, omulwanirizi w'eddembe ate nga munnabyabufuzi. Uganda we yafunira obwetwaze nga w'amyaka 31. Yaliko Katikkiro wa Buganda wakati wa 1962 ne 1993 ku mulembe gwa Sir Edward Muteesa II.

Yakolako ekibiina kya United Party oluvannyuma ekyatuumibwa United National Party (UNP). Mu 1962 yakisuulawo ne yeegatta ku Kabaka Yekka (KY) n'alondebwa okukiikirira Masaka East Constuency mu lukiiko lw'eggwanga mu 1962.

Mu 1962, Nkangi yalondebwa nga minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira mu kitongole ky'ebyenfuna we yava n'alondebwa ku bwa Katikkiro wa Buganda mu 1964 ku myaka 33.

Mu 1966 Obote we yalumbira olubiri Nkangi yali ne Kabaka Muteesa ne badduka mu mawanga g'ebweru. Oluvannyuma yakomawo mu 1971 okuteekateeka okutereka Ssekabaka Muteesa eyali akisizza omukono.

Nkangi yajja alondebwa mu bifo eby'enjawulo mu gavumenti ya wakati omwali ne ku bwa minisita w'ebyettaka wakati wa 2002 ne 20012 era ono abadde mpagi luwaga mu byobufuzi bya Uganda okutuusa we yafiira. 

 ayanja kangi Mayanja Nkangi

 

YOWERI KAGUTA MUSEVENI

Museveni ye mukulembeze wa Uganda aliko kati era ng'okuyingira ebyobufuzi kyajja ng'awakanya enfuga ey'abakulembeze abaali baasooka okwali Amin ne Obote.

Ono ku myaka 26 nga yaakamaliriza yunivasite mu 1970 yeegatta ku kibiina kya Obote era nga kino yakikola ng'ayagala okwekenneenya n'okulaba engeri gye batambuzaamu gavumenti era kino kyamuyamba nnyo mu lugendo lwe olw'ebyobufuzi.

Mu kulonda kwa 1980 yaleeta ekibiina ekikye ekya UPM naye akalulu bwe kabbibwa mu 1981 kwe kukola ekibinja ky'abayeekera ekya NRA nga kino kyasiisira mu bitundu bya Luweero ne Nakaseke era ng'ebitundu bino byaweebwa erinnya lya Luweero Triangle. 

Mu 1986 Gavumenti ya Obote eya UPC yamaamulwa mu buyinza Tito Lutwa olwo ne NRA ne bajja nga basembera ekibuga ppaka lwe baatuuka mu Kampala ne bawambira ddala obuyinza nga 26-01-1986.

 

ABAVUBUKA B'OLUVANNYUMA LW'AMEEFUGA ABASITUSE MU BYOBUFUZI

Justine Kasule Lumumba

Yazaalibwa mu 1972 mu Bugiri ng'ono musomesa omutendeke. Akoze bulungi nnyo ne mu byobufuzi bya Uganda era y'omu ku bakyala emmekete abatambuliddwaako ebyobufuzi bya Uganda okumala akaseera.

Wakati wa 1996 ne 1997 yali musomesa. Olw'okukola obulungi yalondebwa nga  kalabaalaba w'amasomero mu disitulikiti y'e Bugiri. Wakati wa 1998 ne 2001 yakola ng'omukugu mu by'enjigiriza mu kitongole ky'ebyenjigiriza.

Mu 2001 yayingirira ddala ebyobufuzi n'ayingira palamenti ku tikiti ya NRM. Yaddamu n'alondebwa mu kifo kye kimu ppaka mu 2014 bwe yaweebwa ekifo ky'obwa Ssaabawandiisi wa Gavumenti ppaka kati. 

 ao Mao

 

NOBERT MAO

Yazaalibwa mu 1967 nga yasomera ku yunivasite e Makerere wakati wa 1988 ne 1991 gye yafunira diguli mu by'amateeka.

E  Makerere yali mukulembeze w'abayizi (guild president) wakati wa 1990 ne 1991. Oluvannyuma yagenda mu yunivasite ya Yale okweyongerayo okusoma.

Yakolako nga munnamateeka mu bitongole eby'enjawulo oluvannyuma n'alondebwa okukiikirira munisipaali y'e Gulu mu palamenti. Ekifo kino yakivaako n'alondebwa nga ssentebe wa disitulikiti y'e Gulu mu 2006.

Oluvannyuma lw'okulaga nti ayagala kwesimbawo ku bwapulezidenti,  nga 20-02-2010 yalondebwa nga pulezidenti w'ekibiina kya DP  ne yeetaba kalulu k'obwa pulezidenti mu 2011 newankubadde yawangulwa. 

RUTH NANKABIRWA

Yazaalibwa mu 1965 e Kiboga era nga mu kalulu ka 1996 yalondebwa mu kifo ky'omubaka mu palamenti akiikirira disitulikiti y'e Kiboga ekifo ky'akyalimu okutuusa kati.

Wakati wa 1998 ne 2001 yali minisita wa Luweero Triangle mu ofiisi ya ssaabaminisita  ng'ono era yaliko minisita w'eby'obuvubi nga kino ky'ekifo kye yaliko ppaka bwe yalondebwa ku kifo ky'akyalimu kati ekya nnampala wa Gavumenti. 

 ankabirwa Nankabirwa

 

BETTY NAMBOOZE

Nambooze yazaalibwa mu disitulikiti y'e Mukono. Yatikkirwa mu mateeka n'oluvannyuma yatikkirwa mu misomo gy'okwekulaakulanya.

Okuyingira mu byobufuzi yasooka kulondebwa mu 2010 mu kulonda okwali okw'okuddamu ng'ono yajjira ku kaadi ya DP n'awangula munna NRM Peter Bakaluba Mukasa.

Nga tannaba kuyingira byabufuzi yakolako ku leediyo gye yava n'alondebwa ng'omwogezi wa DP.

Ono azze akwatibwa enfunda eziwera olw'ebyobufuzi nga ne mu 2016 yasibibwa oluvannyuma lw'okulumiriza nga bwe waaliwo okubba obululu mu kalulu ka 2016. 

IBRAHIM SSEMUJJU NGANDA

Bwe yamaliriza emisomo e Makerere yaliko omusasi w'amawulire okutuusa mu 2004. Yaliko n'omusomesa w'amawulire.

Bino yabiwummula ne yeesimbawo ku kifo ky'omubaka mu palamenti ekya Kyadondo County East ku tikiti ya FDC n'awangula wabula mu 2016 nga Kira munisipaali eweereddwa ekifo ekitongole mu palamenti okwawukana ku Kyadondo, Ssemujju yesimbawo n'awangula. 

ZAAKE FRANCIS

Zaake azaalibwa Mityana era emisomo gye yagimalira ku yunivasite e Ndejje. Eno yalondebwa okukulembera abayizi. Ono ali omu ku bannabyabufuzi abaamanyi mu kisinde kya People Power ekikulemberwa Robert Kyagulanyi.

Yayatiikirira nnyo mu byobufuzi mu kalulu akaali ak'okuddamu mu Arua munisipaali bwe yakubibwa n'afuna obuvune obwamutwaaza e Buyindi okujjanjabibwa. Zaake ye mubaka akiikirira Mityana munisipaali mu palamenti nga yalondebwa mu 2016. 

ROBERT KYAGULANYI SSENTAMU (Bobi Wine)

Yazaalibwa mu 1982  e Gomba kyokka yakulira  Kamwokya. Yasomera Makerere gye yafunira diguli mu kuyimba n'okusanyusa (music, dance & dramma).

Mu 2017 Kyagulanyi yalangirira okwesimbawo mu kalulu akaali ak'okuddamu e Kyadondo East era yagendanga nju ku nju ng'asaba akalulu. Kino kyakyamula nnyo abantu mu Kyadondo East ne bamuyiira obululu n'awangula.

Yayatiikirira nnyo mu kalulu k'okujjuza ekifo kya Arua munisipaali mu 2018 bwe baagenda mu Arua okunoonyezaako Casiano Wadri akalulu era bano kigambibwa nti baakuba emmotoka ya pulezidenti ejjinja ne kireetawo obunkenke obwaviirako ne ddereeva we Yasin Kawuma okukubwa amasasi agaamuttirawo.

Kyagulanyi yakwatibwa n'asibibwa e Luzira. Mu April wa 2019 ono yaddamu n'akwatibwa n'aggulwako emisango egy'okwekalakaasa  olw'omusolo ku social media okwaliwo mu 2018. Kati awuuba bendera ya People Power. 

JAMES AKENA

Yazaalibwa  Dr. Milton Obote nga September 25, 1967.  Ye mubaka akiikirira Lira munisipaali mu Palamenti nga yajjira ku kaadi ya UPC  ekyatandikibwa Obote.

Palamenti yagiyingira mu 2006 era nga akyaliyo na kati wabula nga wakati wa 1994 ne 2005.  Agezaako okubbulula ekibiina kya UPC kyokka naye kikyamuzitooweredde.

 REBECCA KADAGA

Yazaalibwa  May 24, 1956.  Munnamateeka akoze obulungi emirimu mu Uganda n'ebweru w'eggwanga.

Ye mubaka omukyala akiikirira Kamuli mu palamenti.  Yayingira mu byafaayo nga sipiika omukyala eyasookera ddala bukya Uganda efuna obwetwaze.

Yalondebwa mu 2011 ng'adda mu bigere bya Edward Kiwanuka Sekandi. Kadaga ayogerwako ng'omukyala alina obuvumu era akola okusalawo nga teyeekubidde. 

 ayiga Mayiga

 

CHARLES PETER MAYIGA

Yazaalibwa mu 1962  e Kasanje mu Masaka. Munnamateeka nga mu kiseera kino ye Katikkiro wa Buganda.  Nga tannafuuka Katikkiro ng'ali wamu ne Sseggona nga tebeerya ntama mu kulaga obutali bumativu ku byobufuzi ebinyigiriza.

Mu  1987 yakolanga n'abakungu mu bwakabaka bwa Buganda ekyamuyamba ennyo okwongera kukumanya kwe kw'ossa n'okukuguka mu by'obuwangwa ekyamuwa ennyo enkizo okufuuka ensonga mu bwa Kabaka. Mu 1991 Mayiga yalondebwa  ng'omuwandiisi ku kakiiko k'abakungu nga wano we yava n'afuuka omuwandiisi  w'olukiiko lwa Buganda.

Mu 1993 Mayiga yalondebwa nga minisita w'eby'amawulire era omwogezi w'obwa Kabaka era nga ekifo kino yakibeereramu ddala okutuusa mu 2013 bwe yafuuka Katikkiro.

LUKYAMUZI AWABUDDE

lJohn Kenny Lukyamuzi eyaliko omubaka wa Lubaga South agamba nti bw'ogeraageranya abavubuka b'edda n'aba leero mu byobufuzi enjawulo weeri nnene. Ab'edda baafunanga obuvumu okuviira ddala mu masomero.

Kino kyabawanga enkizo nnene nnyo era ng'omwana yagendanga okuva mu siniya okuyingira yunivasite ng'alina obuvumu obumala ng'asobola n'okwogera mu bantu ng'oyinza n'okulowooza nti musomesa ekitali ku bavubuka b'ennaku zino.

Kino kyabasobozesa okubeera abaamanyi ku myaka emito nga bayingira mu palamenti nga tebannaba kuweza myaka 35.

Lukyamuzi agamba nti ekivuddeko bannabyabufuzi abamu abaali abamaanyi okusirika ennyo kivudde ku gamu ku mateeka agayitiridde mu ggwanga wamu n'engeri embi gye bakwatibwamu ng'okubyewala olina okubyesonyiwa. 

MEDARD LUBEGA SSEGONA

Yazaalibwa September 1, 1975. Yasoma mateeka ng'akolera mu ba Lukwago & Co Advocates ng'era ye mubaka akiikirira Busiro County mu palamenti. Yaliko n'omusomesa ku Makerere University Business School (MUBS). Wakati  wa  2006 ne 2010 Ssegona yalondebwa nga minisita w'amawulire era omwogezi w'olukiiko lwa Buganda.  Mu 2006 yayingira palamenti gyali n'okutuusa kati.