Abagagga bacamudde abantu mu kwanjula

By Kizito Musoke

Abantu balabye ku bagagga bulijjo be bawulira obuwulizi ne bafa essanyu

Mba2 350x210

ABANTU abeetabye ku mukolo gw'okwanjula omwana w'omugagga baawuniikiridde, olw’okulaba ku bagagga b'omu kibuga Kampala be baludde nga bawulira.

Esther Ndagire, muwala w'omugagga Peter Segawa nnannyini Protea Hotel e Ntebe,ye yabadde ayanjula omulenzi we Joel Ssebabenga mu maka ga bakadde be ku kyalo Gayaza- Masaka.

 sther ngaliisa ku hani we oel Esther ng’aliisa ku hani we Joel 
Abagagga okuli; Godfrey Kirumira ssentebe wa Kwagalana, John Sebalamu, Haruna Sentongo, Hamis Kiggundu, Teopista Babirye, Kiyimba Freeman owa Buganda Twezimbe, Paul Sembatya Mulundanume Abalala kwabaddeko; Ephraim Ntaganda, Godfrey Nyeeya, Bocso Muwonge, Deus Kakeeto, Yoweri Musumba n'abalala.

Emikolo gy'okusaba gyakulembeddwa Rev. Kezekiel Kaweesi owa Katwe Martyrs Church, ng'ono yakubirizza abantu okuwa obufumbo ekitiibwa.

Wadde omuko yaleese ebintu bingi, kyokka obwedda buli muntu ali ku mukolo ng'anyumya kimu kya mboozi ya bagagga be babadde bawulira obulizi. Abayimbi okuli; David Lutalo ne Catherine Kusaasira ne Stecia Mayanja be bamu ku baasanyusizza abagenyi. Omukolo gwabaddewo nga December 27, 2015.

 Henr y Mukasa ne munne Mariam Nakitende nga bamema ku mukolo gwabwe ogw’okwanjula ogwaliwo gye buvuddeko mu maka ga Godfrey Senkomago ku kyalo Nabuti mu disitulikiti y ’e Mukono.

 Ssali Lwanga ne swiiti we, Flavia Nakana baagattiddwa mu Lutikko e Namirembe ne basembeza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Sliver Spring e Bugoloobi.