Omwana gwe nnalonda ku kkubo y’anfudde kyendi kati

By Musasi Wa

“OMWANA eyakonziba gwe nnalonda ng’asuuliddwa ku mabbali g’oluguudo e Masaka yampa entandikwa ne gye buli kati nneebaza Mukama olw’ekirabo kino ekintuusizza wendi”, bwatyo ‘bisopu’ Arnold Muwonge bw’atandika emboozi ye ku kyakyusa obulamu bwe.

2015 8largeimg223 aug 2015 115536367 350x210

Bya SARAH ZAWEDDE

“OMWANA eyakonziba gwe nnalonda ng’asuuliddwa ku mabbali g’oluguudo e Masaka yampa entandikwa ne gye buli kati nneebaza Mukama olw’ekirabo kino ekintuusizza wendi”, bwatyo ‘bisopu’ Arnold Muwonge bw’atandika emboozi ye ku kyakyusa obulamu bwe.

“Omwana ono omuwala nnamulonda wa myaka munaana ku mabbali g’oluguudo e Kyabakuza, bwe nnali nva e Masaka okubuulira enjiri nga nnasanga abantu bajagaladde nga ba-mutunuulira olw’embeera gye yalimu nga mulwadde. ngenda okunoonyereza ku bimukwatako nga bazadde be baafa. Yali abeera n’abooluganda lwe ne bamusuulirira olw’embeera gye yalimu era baali balowooza ddogo kwe kumwesamba.

Olw’okuba omwana ono yali mu mbeera mbi abatuuze mu kitundu kino baagezaako okunnemesa okumutwala nga bangamba nti omwana ono baamuloga era agenda kunfiira mu ngalo.

Nnawulira nga kinkutteko ne mmuteeka mu kabangali gye twalimu ne mmuleeta ewange ebiseera ebyo nali mpangisa mu kibuga nga sinnazimba e Wakiso. Nnamuteekako nnansi okumujjanjaba ng’ono yamuwa amakerenda ga Vitamiini n’okumuliikiriza mu ngeri eyenjawulo n’asobola okutereera.

Ekisa kyankwata olw’embeera gye yalimu era oluvannyuma nafuna ekirowoozo ky’okulabirira n’abaana abalala abali mu mbeeera y’emu era kino kye kyampaliriza okutandikawo ekifo ekirabirira abaana abataliiko mwasirizi ekya Kampala Children’s Centre (KCC) mu Wakiso. Ekifo kino kyakamala emyaka 10 nga kati mpezezza abaana 130 be ndabirira era bonna bampita ddadi.

BULI WIIKI POLIISI ETUWA OMWANA ASUULIDDWA
Okuva ku mwana ono nnatandika okukuhhaanya abaana ab’enjawulo nga bangi basuulibwa ku nguudo n’ebifo omubadde entalo. Nnakwatagana n’ebitongole ebivunaanyizibwa ku baana naddala poliisi era buli wiiki poliisi etukubira essimu ng’etusaba okugiyamba okutwala abaana abalondeddwa nga basuuliddwa kye tuvudde tuweza omuwendo guno.
Ekifo kino nnakitandikawo kuyamba baana abataliiko mwasirizi

basobole okufuna omukwano n’okulabirirwa ng’abalala abalina abazadde.

Abamu ku baana nga bayigirizibwa okukama ente mwe banywa amata.

ENDABIRIRA
Olw’okuba nnali njagala abaana bano banywe amata buli kiseera, nnasalawo okugula ente maleeto era ziweze 10 ze nkama. Amata gano tugabateera mu buugi kibayambe okukula obulungi. Ku nte twongerako okulunda enkoko ne balya amagi n’ennyama.

Omwana ne bw’aba yaakazaalibwa mmugabirira amata n’akula ng’alinga eyayonka. Tulina ennimiro evaamu emmere n’enva endiirwa, bye ndiisa abaana bano.
Ente zino zitweyagaza kuba abaana baziyigirako engeri y’okuzirabirira, okukozesa obusa mu nnimiro n’okukola biogas.

NJAGALA BONNA BASOME
Engeri gye nnasoma ne nfuna diguli mu byobusuubuzi, mmanyi amakulu n’ebirungi ebiri mu kusoma, njagala abaana bano basome.

Atuusizza okusoma tumutwala mu nnasale era basoma mu Destiny Bridge Academy e Wakiso okutuusa lwe bamalako pulayimale ate
bwe bayingira siniya tubatwala mu Stride Academy nalyo liri mu Wakiso.

Omuwala gwe nnasooka okulabirira yamaliriza emisomo mu Makerere Yunivasite omwaka oguwedde nga yasomye byakompyuta. Ne banne abalala munaana ababadde mu kifo nga bano nnasooka kubalabirira wange nga sinnakitandika baatikkiddwa mu masomo ag’enjawulo.

Abamu ku baana abaasangiddwa mu kifo ekirabirira abaana e Wakiso ekyatandikibwawo Arnold Muwonge.

Abaana bano balina ebitone ebyenjawulo, tulinamu abayimbi era batendekebwa mu kuyimba nga ne gye buvuddeko beetaaba mu kuyimba mu kuggulawo olukuhhaana olwetabwamu abakulembeze okuva mu mawanga ga East Afrika.

ABAANA ABASINGA  GYE MBAGGYA

Abaana abasinga mbafuna okuva mu Kisenyi - Kampala n’ebifo nga Pader, Agago ne Lira. Ssente ezibalabirira nzifuna okuva mu mikwano n’abantu abalala ababaagaliza okubeera obulungi.
OBUZIBU BWE NSANGA

Gavumenti tefuddeeyo kutuyingiza mu nkola yaayo ng’ebaga amateeka agafuga abalabirira abaana bano. Emisoso mingi gye tuyitamu okukukwasa omwana okumulabirira ng’oluusi bw’oteewaayo mu ngeri eyenjawulo otendewalirwa n’obivaako omwana n’asigala gy’ali ng’abonaabona.

Abaana bano bava mu bifo bya njawulo n’emyaka gya njawulo nga kikutwalira ebbanga okubakwasisa empisa z’asanze mu

 

Omwana gwe nnalonda ku kkubo y’anfudde kyendi kati