Eby''obugagga bitabudde abaana b’omugenzi Dr. Rashid Lukwago

By Musasi Wa

EBYOBUGAGGA bitabudde abaana b’omugenzi Dr. Rashid Lukwago, Munnayuganda eyasooka okutabula eddagala ly’ekinnansi eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu.

2015 9largeimg213 sep 2015 142309657 350x210

Bya MEDDIE MUSISI

EBYOBUGAGGA bitabudde abaana b’omugenzi Dr. Rashid Lukwago, Munnayuganda eyasooka okutabula eddagala ly’ekinnansi eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu.

Balukwago bonna batabuzi ba ddagala, naye baatandise okweyuzaayuza abamu ne batuuka n’okulangira bannaabwe okuba abafere n’obuyaaye.

Mu mbeera eno, abamu baatuuse n’okwagala okukuba omusika wa kitaabwe bwe bamufubutudde mu lukiiko lwe baatuuzizza mu Ndeeba okutema empenda z’okumalawo obutakkaanya buno. Olukiiko olwasembyeyo lwatudde nga August 20 mu wooteeri ya Harima Lukwago.

Enkaayana za famire zaatandika oluvannyuma lw’abamu ku baana 38, omugenzi Lukwago be yaleka okwekutulako ne bakola ekibiina ekyabwe ekirimu abaana mukaaga bwe bazaalibwa mu nda emu.

Ensonda mu famire eno zaategeezezza nti abaana ba Lukwago bano baatandika okweyuzaayuza omwaka oguwedde ne bagezaako okutuula mu nkiiko emirundi egiwera kyokka ne balemwa okukkaanya.

Enkiiko ebbiri ezaasooka zaatuula mu maka ga kitaabwe e Kabowa mu 2014 era zaalimu abaana abasinga obungi nga bonna bakola mulimu gwa kitaabwe ogw’okutabula eddagala. Kyokka zonna tezaavaamu kalungi, abamu ne baagala n’okwekuba ebikonde.

Omu ku booluganda ababadde beetaba mu nkiiko zino, yategeezezza nti obuzibu obusinga bwava ku baganda baabwe ababiri Saddam Lukwago ne Iddi Lukwago okutandikawo ekibiina ekirala ne baleka abaana abalala ebbali.

Ensonda zaayongedde ne zitegeeza nti waliwo n’abamu ku baana abaali mu nteekateeka z’okutunda amaka ga kitaabwe kyokka omusika Haruna Lukwago n’azigwamu era n’akibasuuza.

Mu lukiiko olw’abadde mu Ndeeba omwezi oguwedde, batuuse n’okwerangira omwabadde n’abamu ku baana okuvaayo ne balangira Saddam nga bw’ali omusosoze mu banne.

MU lukiiko luno olwatudde mu kawooteeri ka Halima Lukwago omu ku baana baatuuse n’okukiteeka ku Saddam Lukwago nga bwe yateeka omukazi atabangako mukka Lukwago mu kalango ke n’amukozesa nga nnyina ng’amusasudde ku ttivvi sso nga bo wadde Basiraamu Saddaamu yakozesa omukazi alina ne Ssappule mu bulago.

Omu ku baabadde mu lukiiko luno yagambye nti omukazi ono Saddam yamupangisa Rakai naye tabangako mukazi wa kitaffe kubanga baka Lukwago bonna baafa ne baggwaawo.

Yagambye nti muka Lukwago azaala abaana bano okuli ne Saddam ye kennyini yafa mu 1991 era yali Musiraamu
ate ono Saddam gwe yateeka mu kalango ke Mukatoliki.

Baakakyusa ekibiina kya kitaabwe emirundi esatu. Okusinziira ku nsonda ezeesigika mu famire, Lukwago we yafi ira
mu 1995, yaleka kkampuni ye eri mu linnya lya “Katonda y’awonya Herbal Research Clinic” kyokka oluvannyuma
baalikyusa.

Mu 2005, omusika Haruna Lukwago ng’ono akolera mu Kalittunsi e Mengo banne baamuwa obuyinza n’awandiisa
kkampuni empya ng’erimu abaana bonna 38 ne bagituuma “Balukwago Organic Medicine Uganda Limited. Omu ku bantu abamanyi obulungi famire eno yategeezezza nti Lukwago we yafiira, abaana be bangi baali bakyali bato ng’akola n’abakulu bokka okwali, Haruna Lukwago (omusika) ne Jamil Lukwago akolera e Mengo okumpi n’omuzikiti.

Awavudde obuzibu, mu 2014, Saddam Lukwago ne Iddi Lukwago bakwataganye ne bawandiisa kkampuni endala eri mu mannya ge gamu kyokka ng’eno erimu badayirekita mukaaga bokka abava mu lubuto olumu.

Badayirekita abali mu kibiina kino ekipya kuliko; Idd Lukwago, Saddam Lukwago, Haruna Lukwago, Abaas Lukwago, Yakub Lukwago, Halima Nakanjakko, ne Leilah Namikisa, nga bonna nnyaabwe y’omu

Haruna Rashid Lukwago, omusika

Baajingirira omukono gwange ng’omusika

 Haruna Rashid Lukwago, omusika: Nze mukulu wa Saddam ne Idd mu maama omu naye sikkiriziganya na nkola yaabwe mu bintu ebisinga kubanga egenderera kuyuzaayuza mu famire.

Amazima gali nti ekitutawaanya ku ssaawa eno byanfuna kubanga Saddam ne Idd balowooza nti be balina okutegeerera

abaana abalala bonna ekintu ekitali kituufu.

Kitaffe we yafi ira, abaana abo bonna baali bato era ekiraamo kyali kigamba nti ffe abaali basuumuseemu tulina okubakuza n’okubaweerera nga tukozesa omulimu gwe yatulekera.

Nze ng’omusika eyali asigadde mu bizinensi ya kitaffe nnakola kyonna ekisoboka okulaba nga mbaweerera kubanga abaana abato baali basoba mu 20 kyokka ne bagaana okusoma.

Mu 2003, bonna badduka mu masomero nga bali mu Pulayimale ne bayingira Jubilee Park e Katwe awaali akatale k’eddagala ly’ekinnansi ne batandika okusekula eddagala.

Omwana omu yekka mu Balukwago ffenna eyafaayo okusoma ye Aisha Lukwago era ye diguli yokka eri mu famire ey’abaana 38 kitaffe be yazaala.

Ku bino ekiriwo kati byonna biva ku bantu babiri Sadam ne Idd kubanga be batemyetemye mu famire era batuuse n’okuteeka ebirango ku leediyo ne ttivvi nga bategeeza nti be Balukwago bokka abatuufu.

Ekyo kikyamu era nze ng’omusika sikkiriziganya nakyo ndabira ddala nga baagala kuyuzaayuza mu famire.

Ekyo kye baakoze okuwandiisa ekibiina ekirala ekiri wansi w’erinnya lye limu ng’enda mu kkooti kubanga kimenya mateeka era baatuuse n’okuteekako omukono gwange nga sirina kye mmanyi

Abo nnugu y’ebatta - Saddam

ABO nnugu y’ebatta, kubanga balaba nga tufunye ettutumu okubasinga.

Ye omusika Haruna alina obuzibu bumu, nti ‘failure’ (yalemwa) awedde emirimu!

Tutudde nabo enfunda eziwera ne tubalaga obuzibu obutwolekedde nga kkampuni yaffe teriiwo mu mateeka naye byonna bibayita ku mutwe.

Tetulina kya kukolera bantu bafaanana ng’abo kubanga ffe omulimu gwaffe tugwagala era tulina okugusigalamu.

Tugenda kutambula n’abo abaagala, abatagala basigale mu byabwe ebikadde. Ffe tetukaayanira busika kubanga tetulina kye tugenda kubufunamu.

Twagala ekintu kimu kyokka mulimu gwa kitaffe kusigalawo.

Abo bbo balowooza nti famire bagigatta n’omulimu ekitali kituufu. Ku ky’omukyala ayogerwako mu kalango, oyo maama waffe omuto era kinneewuunyisa okuba nga baganda baffe abo batandise okusosola.

Asraf Lukwago

Baawandiisizza kkampuni empya ne bakyusizza ne baggyako dayirekita

Asraf Lukwago, e Kawempe Amazima gali nti obutakkaanya buno buva ku bintu ebiwerako naye ng’ekisinga obukulu

be bamu ku bannaffe abaagala okweddiza kkampuni ya kitaffe.

Saddam ne Idd ku ffenna mu famire tewali gwe bassaamu kitiibwa wadde omusika.

Mu 2005 twatuula ewange e Kawempe ne tukkiriziganya era ne tuwa omusika obuyinza awandiise kkampuni wansi w’amannya

“Balukwago Herbal Medicine” era n’akikola nga ffenna abaana mwetuli.

Ekyasinze okutwewuunyisa, be baganda baffe abo (Idd ne Saddam) okwesitula ne bagenda bawandiisa kkampuni endala eri

kumpi mu mannya ge gamu naye nga bataddemu ba dayirekita musanvu bokka.

Ekisinga okunneewuunyisa bwe bunnanfuusi obuli ku muganda wange Sadam kubanga ye muntu y’omu eyatandika ekibiina

kino, kyokka ate y’omu eyankubira essimu nga tegeeza ng’ekibiina ekyo ekitandikiddwaawo bwe kirimu obufere.

Tuzze tutuula mu nkiiko eziwerako ku nsonga ezo era twatuuka n’okuwa looya wa Basaddam amagezi akyuse ekibiina ekyo akiteekemu abaana bonna kyokka ne bigaana.

Mu kiseera kino amazima agali nti ekintu ekyo abaana abasinga twakigoba era tetukkiriziganya nakyo

Omululu guboonoonye

Shaban Lukwago.

Abaana abava mu lubuuto olumu nga bakulemberwa Saddam ne Idd baagala kusanyaawo kkampuni ya Lukwago. Ndabira ddala ng’abaana abo baagala kubba kkampuni ya kitaffe.

Mu mazima nkyalemeddwa okutegeera ekigendererwa ky’abantu bano ekituufu kubanga olaba batuuka okugenda ku mpewo za leediyo ne bagamba nti bano be baana ba Lukwago abatuufu kyewuunyisa.

Tugezezzaako okutuula mu nkiiko okulaba nga tuzza embeera mu nteeko, naye kirabika nga kigannye kubanga kasita bituuse mu mawulire kati embeera etabuse

Sarah Nalukwago

Omusika obutamuwa kitiiba kinnyiiza

Sarah Nalukwago Obuzibu obusinga buva ku kubeera nti tuva mu bamaama ba njawulo kubanga waliwo abalowooza nti

olw’okuba nnyaabwe yabazaala bangi nti be balina okuba abaana ba Lukwago abatuufu.

Kibi nnyo abaana abamu okuba nga tebawa musika waffe kitiibwa sso nga kitaffe ye yamutulondera ng’amulabyemu ekyama

‘Twetaaga ssaala’

Muhammed Rashid Lukwago: Kibi era kikwase ennaku okuba nga tutuusa ku ssa lino sso nga kitaffe yayagala tutambulire

wamu. Saddam ne Iddi be basinze okututabula kubanga batuuse n’okwewandiisa bo bokka ng’abaana abava mu ndya

emu nti be baana ba Lukwago abatuufu. Embeera yonna eriwo esaana ssaala zokka kubanga abantu ab’olubattu batutabudde

‘Enneeyisa ya Saddam ne Idd eswazizza kitaffe’

Jamil Lukwago by’agamba. Akavuyo konna mu famire kaleeteddwa Saddam ne Idd bandeetedde n’okulowooza

nti oba si baana ba Lukwago olw’enneeyisa yaabwe.

Kitaffe yali musajja mukkakkamu ate ng’awa buli muntu ekitiibwa ekitali ku baganda baffe abo. Ekyasinze okunneewuunyisa

ne Saddam okukola akalango n’ateekamu omukazi atabangako muka kitaffe ng’amuyita nnyina.

Oba ekiseera kituuse tuggyeyo ekyama tugenda kukikola kubanga abo b’olaba beewaana nti basawo bakugu nnyo, tebalina

bikolo bya ddagala biwera bitaano bye bamanyi, bafera bantu.

Abamu ku bantu abo batuuse n’okwagala okutunda amaka ga kitaffe ge yalekawo e Kabowa era mu kiraamo yatukuutira obutagatunda.

Baluubirira kusaanyaawo kkampuni ya taata

Faridah Nassali Lukwago.

Ebyenfuna bye bivuddeko bino byonna kubanga abantu abatono ennyo balowooza nti bategeera nnyo okusinga abalala.

Ekisinga okunnuma, kwe kuba nti n’omusika musajjawattu tebamuwa kitiibwa era baatuuka n’okumulangira obwavu.

Ndabira ddala ng’abantu abo ab’olubatu abaagala okusaanyaawo ekintu kitaffe kye yatulekera era ekitufudde kye tuli

Idd Rashid Lukwago ayogedde

ABAMU ku baganda baffe okuba nga batulinako obuggya olw’okuba tubasinza ssente. Waliwo n’abalala abeeyisa mu ngeri ey’ekiralu olw’okuba bakozesa ebiragalagala ne bibatabula emitwe.

Balowooza nti ekintu nga muzeeyi bwe yakireka bwe kirina okutambula sso nga beerabidde nti guno omulembe gwe tulimu ebintu bikyuse kinene.

Kkampuni kitaffe yali tagiwandiisanga mu mateeka ne tubagamba nti omuntu omugezigezi ayinza okuva eri n’agitubbako ffe kwe kwanguyiriza okugiwandiisa.

Kyokka bannaffe abo olw’emitima gyabwe emibi batulaba nga abaagala okubabba. Twatuula mu lukiiko ne tubanjulira ekintu kino era bangi baakisiima kyokka waliwo muganda waffe ow’e Masaka tayagalira ddala muntu amusinga. 

Ate ye omusika waffe musajjawattu ali awo yasigalira dda mu mirembe emikadde, tamanyi bintu bwe birina kutambula. 

Tetuyinza kudda ku bantu baagala kuggaza kkampuni yaffe. Tuuka e Kabowa olabe eringa nkambi za Poliisi, kubanga okuva

kitaffe lwe yafa tewali kyongeddwaako. Naye ffe tuli beetegeffu okutambula n’abaagala kasita ffe tulina ssente.

 

 

Eby''obugagga bitabudde abaana b’omugenzi Dr. Rashid Lukwago