Maama n’omwana bafumba mu ddya limu!

By Musasi wa Bukedde

Omuvubuka ono okumanya aleese ebizibu ku kyalo kino ekiyitibwa Kakaanhu, bakazi be ababiri (omwana ne nnyina) yabazimbira ku luggya lwa kitaawe Muzeeyi Patirisi Omwony, naye tebakyalima kambugu lwa bugwenyufu buno.

Mbwaali1 350x210

Bya TOM GWEBAYANGA

KUBAMU akafaananyi nga balo awasizza muwala wo, omwana ggwe kennyini gwe wakeera enkya n’osindika ate n’atakoma awo n’amuzaalamu omwana era n’amuzimbira awo okukuliraana!

Oyinza kukola ki?

Oba kale ng’abaana be wasindika ewa muganda wo okuwummula oba okusomerayo, akutteko omu n’amuganza era n’amufunyisa n’olubuto!

Obadde okimanyi nti ensi ‘bw’ekuze’ n’abantu ne ‘bakula’ ekivuddemu kukula muwawa amagezi ne bagaleka wansi?

Okimanyi nti ensangi zino, abasajja n’abakazi tebakyatya kuganza baana baabwe, naddala be batazaala butereevu?

Mu ggombolola y’e Namasagali mu disitulikiti y’e Kamuli y’eri omuvubuka Yowana Ochieng, 28, eyawasizza muwala we n’amuzaalamu n’omwana!

Omuvubuka ono okumanya aleese ebizibu ku kyalo kino ekiyitibwa Kakaanhu, bakazi be ababiri (omwana ne nnyina) yabazimbira ku luggya lwa kitaawe Muzeeyi Patirisi Omwony, naye tebakyalima kambugu lwa bugwenyufu buno.

Anti omwana ne nnyina bafumba mu ddya limu!

Maama wa Ochieng, Egenensi Babirye (50) bwe yagezezzaako okuyingira mu nsonga, abuulirire ku mutabani we, kabekasinge muwala we gwe yawasa amukyawe era amugobe mu maka ge, Ochieng yeeremye n’akkakkana ku nnyina n’amuyisaako ow’e Mbuya ate n’atakoma awo n’amuwangulamu n’amannyo munaana be ddu!

 owana agambibwa okuwasa maama ne muwala we Yowana agambibwa okuwasa maama ne muwala we.

 

Ochieng yasiba ennyama n’afunyisa muwala we Zaituna Mbwaali ow’emyaka 18 olubuto era baazadde ne bbebi omuwala kati awezezza omwezi gumu n’ekitundu!

Mbwaali ye muggulanda wa muka Ochieng ayitibwa Faziira Nangobi, (32), gwe yazaala mu ddya eryasooka bwe yali afumbiddwa ewa Zaidi Muyanga ow’e Namaganda mu ggombolola y’e Kitayunjwa e Kamuli.

Ewa Muyanga yanobayo n’afumbirwa Ochieng, eyaakamuzaalamu abaana bataano, okuli abawala basatu n’abalenzi babiri.

Kati ekitabudde abantu kwe kuba nti Ochieng anaabye ensonyi mu maaso n’akwana muwala we gwe yanaazanga era gwe yalabanga ng’akomba eminyira!

Olw’obulumi n’okuswala okw’ekika ekya waggulu nga buva ku mutabani okuleeta obuko ku luggya, muzeeyi Patiriisi ayagala bakolewo emikolo gy’obuwangwa okusindiikiriza ebibamba, kyokka mutabani yeeremye.

Yagambye, “ Awo tewali buko ate Mbwaali si waakuva wano!” Era olutalo oluliwo lwe lwavuddeko mutabani okuweweenyula bakadde be kibooko, n’akkakkana ne ku nnyina n’amuwangulamu amannyo!

Okumanya Yowana yasiba ennyama muwala we yamuzimbira n’ennyumba ey’essubi ku mabbali g’oluggya.

Abazadde n’Abataka kwe basinzira okumulumiriza nti yatongozza muwalawe abeere mukyala we nnamba bbiri. Kino yakikola kagenderere oluvannyuma lwa musajja munne (Taata wa Mbwaali) okumulooopa ku poliisi y’e Namasagali n’emukwata ng’amulanga okufunyisa “muwala waabwe” olubuto.

 kipande kyokugema ekiraga nti om ye taata wa bbebi Ekipande ky’okugema ekiraga nti Tom ye taata wa bbebi.

 

ENGERI GYE BYAJJA

Nnyina wa Yowana, Egenensi Babirye byonna abinyumya bwati: Fazira Nangobi, ng’ono ye Maama wa Zaituna Mbwaali yafumbirwa mutabani wange Yowana Ochieng emyaka 12 egiyise.

Engeri omukwano gye gwali gubatembye, yakisa bba omwana ono(gwe baazaddemu). Emyaka bwe gyekulungula, omutima gw’omuzadde gw’aluma Nangobi n’agenda e Namaganda ewa Zaidi Muyanga, n’amusaba amukkirize agende ne Zaituna Mbwaali amanye banne nabo bamumanye.

Bw’amutuusa awaka emyaka esatu egiyise, ensobi gye yaddamu okukola kwe kukisa bba ekituufu, bwe yamumulaga nti muto we, ekitegeeza nti Yowana amuyita “mulamu.”

Naye ffe twakola okunoonyereza ne tuzuula nti Nangobi y’azaala Mbwaali.

Engeri omuwala Mbwaali gye yalina ebbeere ery’ettutu ng’ate mumyufu muzibu, sitaani yakema mutabani wange n’atandika okutokota “mulamu” ne batandika okukukuta.

Ng’ennaku z’omubbi bwe ziba 40, n’ezabano zaggwaako kuba nze kennyini nabasanga, mutabani wange ne ‘mulamu we’!

Nalabira ddala ng’ekitalo kigudde awaka!

Ekyennaku mutabani ensonyi yazifuula obusungu n’anzikakkanako n’anfuuntula agakonde era kw’olwo amannyo gange asatu (3) tegaalutonda.

Naddukira ewa ssentebe wa LC , Robert Musenero ne mmuloopa naye oluvannyuma ng’omuzadde ne mmusonyiwa nga ndowooza ajja kweddako.

Nasigala nvumirira Yowana naye ng’okwandibadde okuwuliriza ate ampacca mpi, bikonde n’emiggo olumu era amannyo gange amalala awo we gaagendera.

Nkubuulire omwana afuuse ekyambika ku kyalo, ffenna twaswalaswala dda teri ayagala na kukyama mu luggya ewaffe.

 nnyumba eyebbaati ye ya maama ate eyessbi ye ya muwalawe bwali yebaamuzimbidde ku lujja Ennyumba eyebbaati ye ya maama ate eyessbi ye ya muwalawe Mbwali Gyebaamuzimbidde ku lujja.

 

POLIISI EKWATA YOWANA

Nga bwe bagamba nti ekiwoomereze kizaala enkenku, omukwano gwa taata n’omwana’ tegwalwa ne guvaamu olubuto, amawulire olwatuuka ku kazaalamwana, Zaidi Muyanga ow’e Namaganda mu Kitayunjwa, n’abuuka enswa.

Yazambalira ku mugongo tuba tuli awo ng’atuuse ne poliisi. Yatuukira wa muwala we n’amubuuza nnyini lubuto omwana kwe kukyatula nti Yowana.

Poliisi yamutwala kuba ebiseera ebyo yali tannaweza myaka 18, omuntu gye yeesalirawo.

Mu kavuvuηηano k’okutaasa bba, Nangobi yasaba muwala we akyuse ebikwata ku lubuto waakiri alusibe omuvubuka w’oku kyalo, Yowana awone omusango.

Omuwala yakola nnyina kye yamusaba n’afuna omuvubuka ku muliraano gwe yalusiba era Yowana ne bamuta. Kitaawe w’omuwala n’azaalukuka muwala we.

AZIMBIRA OMUWALA ENJU KU LUGGYA

Yowana olwateebwa yabakana na gwakuzimbira muwala nnyumba ey’essubi ku mabbali g’oluggya, eky’akakasa ekyalo nti bye baamuvaana bituufu kuba yali ono amutongozza. Bino byonna yabikola okumpi n’amaka ge amakulu nnyina w’omwana mw’asula!

KITUUFU NNINA ENSOBI ZE NAKOLA -MAAMA WA MWANA

Faziira Nangobi azaala omuwala agamba: Abantu ba kuno sibategeera n’eηηambo ze bazunza zintamye. Ani yabagamba nti baze ye yazaala mu mwana wange?

Ebyo baluka biruke, nnyazaala ne ssezaala wange be bakuηηaanya baabyo kuba balina akakuku ku baze.

Kituufu nnina ensobi ze nakola ng’omuntu, waliwo bye nnakisa baze, naye tekitegeeza nti balina kumulingiriza.

Eky’okumuzimbira ennyumba twalina ensonga, kuba kiswaza okuwalampanga ekitanda ng’omwana omukulu bwatyo alaba, kye twava tukkaanya n’amuzimbira.

 azadde ba owana  abirye ne mwony abagamba nti yabakuba olwokumugambako u ddyo maama ngalaga amannyo agaamuwangukamu olwebikonde Bazadde ba Yowana , Babirye ne Omwony abagamba nti yabakuba olw’okumugambako. Ku ddyo maama ng’alaga amannyo agaamuwangukamu olw’ebikonde.

 

YOWANA AWANDA MULIRO

“Ebigambo bya Mbwaali bintamye kuba ekyalo kinneesibiridde okunnengezza, laba bwe bampendulidde n’abaamawulire.

Omuwala bwe yatandika okulwala saakimanya nti lwali lubuto. Musajja munnange yandagira mumutwalire nange kye nakola (kitaawe w’omuwala amuzaalira ddala).

W’ayita lumu poliisi n’enkwata nga Muyanga y’ampawaabidde nti nasobya ku muwala we ne mmufunyisa n’olubuto.

Nakanda kwegaana nti yandiba omuvubuka Tom eyamutokotanga nga buteerere, era okwekunkumulako ekintu ne nteebwa kw’ali kusiitaana.

Mu kuswala n’okukuuma amaka nakkiriza okujjanjaba omulwadde okutuusa okussuuka. Engeri gy’ali omwana obwana, Mbwaali abuzaabuzibwa Abataka abamukemaakema n’obulabolabo n’abategeeza nti nze nnyini mwana, oluusi n’akyusa nti ate ye Tom.

Ye abaffe oba boogera boogere, omuwala talina gy’alaga era nja kumukuumira wano ne bbebi we, ndaba kitaawe yamungobya nti nze ne mukyala wange twamwonoona.

Ate wano omuwala awulirirawo emirembe kuba buli kye yeetaaga nkimuwa, ate ekirala, nnyina tamulinaako buzibu.”

Ye omuwala Zaituna Mbwaali bwe yatuukiridde ng’ali ne ‘kitaawe’ Yowana yategeezezza ng’omwana gw’alina bw’ali owa Tom nti kyokka taleeta buyambi, buno taata we (Yowana) y’abumuwa. Ye Tom ayogerwako teyasobose kufunika kubaako ky’ayogera.

 

OBUWANGWA BUGAMBA BUTYA?  

Okusinziira kw’amyuka Isabalangira w’Essaza ly’e Bugabula BB e Kamuli, Omulangira Emmanuel Babalanda Gabula, omuntu bw’ayagala omuntu gw’alinako oluganda ekyo bakiyita, “ekitalo.”

“Yadde omulembe gugenze gukyuka, obulombolombo bw’ebika bukyagobererwa era bwe busobezebwa buggyibwawo na mikolo gya kinnansi.

Omwana omujjanannyina aba wa mu luggya, era buba buko bwennyini taata bw’amukwana.

E Busoga, abagwagwawadde bwe batyo babatwala ku ttale ne babakolako emikolo gy’ekinnansi era babanaaliza ku muti.

Guba mukolo gwa maanyi era gugenda n’enkoko, embuzi ne ssente eziwerako. E Budaama, babazimbira akasiisira ak’essubi mwe babanaaliza, bwe bamala ne bakabuukamu buli omu n’akwata lirye ne bakookya omuliro ne kasirikka.  

SSENTEBE W’EKYALO BY’AGAMBA

Ssentebe wa LC1, Robert Musenero agamba: Mu February w’omaka guno, taata w’omuwala Zaidi Muyanga yajja n’ansaba obuyambi mmukwataganye ne poliisi emukwatire Yowana Ochieng eyali asobezza ku muwala we.

Ochieng yakwatibwa era n’asula mu kaduukulu okumala ennaku. Nnali nsuubira nti bamutwala mu kkooti ηηenda okuwulira nti baamutadde ku kakalu ka poliisi.

Entalo zaabwe nzibu kuba nnagezaako okubatabaganya ne bigaana, omulenzi mukambwe alwanira ne ku LC.

Namuwa amagezi omuwala amweggyeko adde ewaabwe yalemerako nti ajja kumukuuma, weebuuze lwaki amwesibako?”