Nnyina w'omukubi w'ebikonde eyabula alaajanidde Gavumenti

By Musasi wa Bukedde

Sula Segawa (light) ne Atanus Mugerwa (bantam) be bamu ku baggunzi beng'uumi abaakiirira Uganda mu mpaka za 'Eindhoven Boxing Cup' mu Budaaki wakati wa May 13-16 ne bawangula emidaali ebiri; ogwa zaabu ne feeza. Okuva olwo tebakomangawo nga baasooka kutegeeza nti tebalina ssente zibakomyawo tebazirina.

Nalugo1 350x210

Sula Segawa (light) ne Atanus Mugerwa (bantam) be bamu ku baggunzi beng'uumi abaakiirira Uganda mu mpaka za 'Eindhoven Boxing Cup' mu Budaaki wakati wa May 13-16 ne bawangula emidaali ebiri; ogwa zaabu ne feeza. Okuva olwo tebakomangawo nga baasooka kutegeeza nti tebalina ssente zibakomyawo tebazirina.

FRED KISEKKA yatuukiridde maama wa Segawa n'amunnyonnyola bw'ali okuva mutabani we lwe yagenda Nze Margaret Nalugo, eza nze nzaala Sula Ssegawa nga mbeera Kasubi, Katale Zooni mu ggombolola y'e Lubaga.

Segawa yantuukirira n'antegeeza nga bwali omu ku baalondeddwa ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga (UBF) okwetaba mu mpaka zino, wabula nga talina ssente zimutwala, sso nga yali ayagala nnyo okugenda ataangaaze omukisa gw'okwetaba mu mizannyo gya Olympics e Brazil.

Olwokuba nti ebiseera ebisinga nze mbadde mwefubako, saakigaana wadde nga ssente zaali tezaaliwo.

Ng'omuzadde ate omutetekanya, nnagenda mu bizinensi yange ey'engoye mu Kiyembe ne nzigyayo ku ssente, ate endala n'enziggya mu nnyumba z'abapangisa baze ze yandekera e Kasubi.

Nnaweza doola 1,000 (eza wano 3,350,000/-) kwe nagatta 600,000/- ezaampeebwa Musa Batantu, bwe bakuba ebikonde ne Ssegawa.

 segawa ku kkono ne ugerwa Ssegawa (ku kkono) ne Mugerwa.

 

Sula yangambako nti tagenda kuddirawo ng'empaka zaakaggwa kuba yalina okumalayo omwezi ng'atendekebwa okwetegekera akakung'uta ka Olympics e Baku mu Azerbaijan wabula oluvannyuma yantegeeza nti teyasobola kugenda kuba ssente UBF ze yalina okubawa zaabula.

Kino kyammenya omutima kuba bwe nnawaayo ezimutwala nnalowooza nti ezaali zisigadde UBF tejja kulemererwa kuzitoola. Kati buli lukya mukyala we gwe yaleka ng'ali lubuto asiiba amumbuuza kuba nze nnakola ku by'okugenda kwa bba.

Wabula nange sirina kyakumuddamu, kyokka nga yeetaaga obuyambi (mukazi wa Ssegawa yagaanyi okwogera ne Bukedde). Nsaba gwekikwatako yenna oba Gavumenti, bannyambe bakomyewo mutabani wange.

UBF ky'egamba: Omwogezi wa UBF, Fred Kavuma, yagambye nti kaweefube gwe baakola okukomyawo Segawa ne Mugerwa yagwa butaka oluvannyuma lw'okudduka we baalina okubaggya.

"Twakola ekisoboka okubakomyawo wabula ne tulemererwa, bwe twakizuula nti we twalina okubaggya baddukayo," Kavuma bw'annyonnyola, n'agattako nti kino kitegeeza nti baali tebaagala kudda.

Mu mpaka ze beetabamu e Budaaki, Mugerwa yawangula omudaali ogwa zaabu mu buzito bwa 'bantam' ate Ssegawa n'awangula ogwa feeza mu buzito bwa 'light'. Ye Andaman Daku, eyakola ku kubasuza n'okubayamba okutendekebwa mu jiimu ye eya 'Anda Boxing Club' esangibwa e Budaaki, yagambye tamanyi gye bali kuba oluvannyuma buli omu yakwata makubo ge.

NCS kw'esibidde: Akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga aka NCS, gye buvuddeko kaategeeza nti si be bavunaanyizibwa ku kukomyawo abazannyi bano kubanga empaka ze beetabamu tebaazimanyako, zaali zituukiriza bigendererwa bya UBF.

NCS egamba nti yakoma ku kubatwala Cameroon mu z'okusunsulamu kw'abaali bagenda mu Olympics.

Abeebikonde abalala abaalemera ebweru w'eggwanga mu ngeri ng'eyo Kassim Ouma; Mu 1998 yagenda mu Amerika okwetaba mu mpaka za 'World Military Games' ezaali mu kibuga Atlanta, era okuva okuva olwo teyakomawo.

Sharif Bogere; Yaduumira ttiimu y'eggwanga eya Bombers mu 2007, okukiikirira Uganda mu mpaka za 'World Amatuer Boxing Championship ezaali e Las Vegas mu Amerika era teyakomawo.

Jackson Asiku; Vicky Byarugaba, omu ku batendesi ba Bombers eyagenda nga maneja wa ttiimu mu mizannyo gya Olympics mu 2000 e Sydney mu Australia, agamba nti Asiku yadduka oluvannyuma lw'okuwangulwa era teyaddamu Sam Rukundo; Rukundo yali ku ttiimu ya Bombers eyeetaba mu Olympics mu 2004 mu kibuga Athens ekya Buyonaani wabula ye, Brian Mayanja ne Jolly Katongole kati omugenzi badduka ku ttiimu eno oluvannyuma lw'okuwandulwamu mu mpaka zino.

Wabula oluvannyuma yakomawo era omwaka guno yalondeddwa ku butendesi bwa Bombers. Phillip Adyak;Okuva lwe yeegatta ku kiraabu ya UPDF ng'ava e Mbale mu 1996, Adyak y'omu ku bakubi beebikonde amagye ge gakyasinze okwenyumirizaamu era yali mpajiruwaga ku ttiimu ya Bombers ey'emyaka gya 2000.

Wabula naye yadduka ku ttiimu eyali yeetabye mu mpaka za 'World Amatuer Boxing Championship' ezaali e Chicago mu America mu 2007. Abalala ye; Andaman Daku, Eddy Akora, Martin Mubiru, Kenetth Odeke, Dennis Mwanje, Sadat Tebazalwa ne Ronald Serugo.

Nasser Bukenya, Fazil Juma Kaggwa ne Willy Kyakonye nabo beetaba mu mpaka za 'Eindhoven Cup' mu Budaaki era olwawedde tebazzeemu kulabikako.