Poliisi y’e Kajjansi: Abakuumaddembe bafuuka batya abatabanguzi b’emirembe!

By Musasi wa Bukedde

Wiiki eno, omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yakutte abakulira poliisi y’e Kajjansi lwa kutulugunya batuuze. Kyokka Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri okutulugunya abatuuze mu Kajjansi bwe kukolebwa abaserikale bangi omuli n’omu eyaakaggulwako emisango egiwera kyokka ne wabulawo amuvunaana.

Kajjansi1 350x210

Wiiki eno, omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yakutte abakulira poliisi y’e Kajjansi lwa kutulugunya batuuze.

Kyokka Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri okutulugunya abatuuze mu Kajjansi bwe kukolebwa abaserikale bangi omuli n’omu eyaakaggulwako emisango egiwera kyokka ne wabulawo amuvunaana.

WIIKI ewedde, abaserikale abakulu ku poliisi y'e Kajjansi baakwatiddwa ne baggalibwa ku poliisi e Kibuye nga bavunaanibwa kwenyigira mu kutulugunya batuuze b'oku kyalo Ssekiwunga.

Akulira eby’okunoonyereza ku poliisi eno ASP Richard Mwijukye n’atwala poliisi eno Philemon Ameru be baakwatiddwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango agamba nti abaserikale bano baali baweereddwa ebiragiro okukakasa nga bakuuma eddembe ng’ekiragiro kya kkooti kikolebwa kyokka ne beenyigira mu kukola ebimenya amateeka.

musirikale oshua siimwe abatuuze gwe balumiriza okubatulugunya Omusirikale Joshua Asiimwe abatuuze gwe balumiriza okubatulugunya

 

 

David Katumba yatwala ensonga mu kkooti ng'ayagala abatuuze bamuviire ku ttaka ly'agamba nti beesenzaako mu bukyamu okuva lwe yaligula ku Rose Naganda, era kkooti n'ekkiriza okusaba kwe.

Ekyewuunyisa nti aba poliisi abandibadde bakubiriza bawannyondo ba kkooti okusengula abantu mu mirembe, beenyigira mu kusaawa ensuku z'abantu n'okumenya amayumba ekyali kimenya amateeka.

Naye bino we bibeereddewo ng’abatuuze b’e Kajjansi n’ebitundu ebyetooloddewo balina ekifaananyi ekibi ku poliisi yaabwe.

Bagamba nti abapoliisi bakolagana n’ababbi, babatulugunya olutatadde oluusi n’okubasibako emisango. Omutuuze omu gye buvuddeko yatwalayo Sheikh omu ow’e Bwebajja eyabba pikipiki ye kyokka owapoliisi n’amuta, oluvannyuma n’amwefuulira era ssinga teyamala kuloopa musango mu bakulu basingawo osanga ssinga na kati akyali mu nkomyo!

Mu January wa 2015, abapoliisi y’e Kajjansi baakuba omuwala Rebecca Namirimu 24, amasasi mu kibegabega era ne leero akyali mu ddwaaliro e Nsambya!

 

Namirimu agamba nti abapoliisi abaamukuba kuliko Cpl Nelson Enyaga ne Thomas Oganya baali batambulira mu mmotoka nnamba UP 2547, nti kyokka ne bwe baawaaba mu bakama baabwe, ne mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa (PSU) ku nnamba PRS 96/2015, na buli kati tewali kyakolebwa!

Ng’oggyeeko okutulugunya abatuuze, abatuuze bwe bavaayo okuloopa abaserikale bano, abakulu ku poliisi eno batuulira emisango gyabwe oluusi egimu ne bagaana okugiyingiza mu bitabo.

Ensonga esinze okugulumbya poliisi eno n’abatuuze b’e Kajjansi ya muserikale Joshua Asiimwe, abatuuze gwe bagamba nti yeegezezza mu bantu abawerako, abalala abakubye n’abalekera obuvune ate abamu n’abatiisatiisa.

Ebikolobero bino omuserikale abikoze mu Kajjansi A gy’anywera omwenge. PC Joshua Asiimwe (nnamba 58516) omwaka oguwedde kata akube abantu 10 amasasi mu bbaala ya Rose Namulindwa nga bamugaanye okunywa ku mwenge gwabwe.

Mu be yali agenda okutuusaako obulabe mwalimu ne muserikale munne Nsereko eyamulwanyisa okumuggyako emmundu kyokka poliisi y’e Kajjansi n’egaana okuvunaana Asiimwe.

Fayiro eno baagituulira kyokka akulira poliisi n’omuntu waabulijjo, Anatoli Mureterwa bwe yategeera ku nsonga zino, yalagira poliisi y’e Kajjansi ekwate Asiimwe avunaanibwe naye tekyakolebwa!

 

Ku ntandikwa y’omwaka guno, omuserikale y’omu yali ayagala kuttira omusuubuzi mu bbaala bwe yali agenze okunonayo kuleeti ya bbiya.

Abapoliisi abalala be baataasa embeera kyokka Asiimwe obusungu n’abumalira ku mutuuze Ndeka. -Poliisi y’e Kajjansi omusango nagwo yagutuulira.

Nga April 12, 2016 ku ssaawa munaana ez'emisana, omuserikale y’omu yali ne banne nga bava okunywa mu bbaala ya Robert Ampaire n'alumba omukyala Scovia Namagga mu nnyumba ye n’amukuba nga bw’amuluma okutuusa abatuuze bwe baakuba enduulu.

Kyokka mu kifo ky'okuggalira Asiimwe, poliisi y’e Kajjansi yali ekwatamu Namagga nga bagamba nti ye yakuba omuserikale waabwe!

SCOVIA NAMAGGA

Ku olwo olwa April 12, ku ssaawa nga 8:00 ez’emisana, nali mu nnyumba yange nga mpa nkoko mazzi. Abasajja basatu be nali simanyi ne bayimirira ku mulyango gwange ne batandika okuwemula.

Nafuluma ngiweyo amazzi wabula nga sirina we mpita kubanga baali

 

bazibye omulyango.

Nababuuza ekyali kibaleese okutandika okuwemulira ku mulyango gwange. Omu ku basajja abo oluvannyuma gwe nategeera nti ye Asiimwe teyanninda na kumalayo n’ambuuza nti, “Oyogera ng’ani?”.

Yangwira n’atandika okunkuba ebikonde n’ensambaggere. Nagezaako okwerwanako naye ng’ansinza amaanyi. Kyokka ate ebikonde tebyamumalira, yannuma ku kibegabega, ne nkuba enduulu kyokka n’agaana okunvaako okutuusa baliraanwa bwe bajja olwo n’alyoka anvaako n’adduka.

Wabula bwe yali adduka, yatomera ekibaati ne kimusala mu kyenyi. Olw’okuba ye wa poliisi, yadduka mangu n’anzigulako omusango nti namukuba. Ogwo omusango guli ku SD41/12/04/16.

Nali nkyebuuza ku baliraanwa eky’okukola, aba poliisi bano ne bajja okunkwata nti nakuba omuserikale waabwe. Nnaabakyala w’ekyalo n’abatuuze be bannyamba okwogera ekyabaddewo.

Baze bwe yakomawo enkeera, twagenda ewa Ssentebe w’ekitundu kino Edward Kulubaija ne tumunnyonnyola nga bwe byali bibaddewo. Ssentebe yatukulemberamu ne tugenda ewa DPC Rwankas Kiconco ne yeefuula eyeewuunyizza ennyo ku kyali kigenda mu maaso.

Yatusindika we bayingiriza emisango n’atulagira tuguyingize era ne nzigulawo omusango gw’okunkuba ku fayiro nnamba SD21/13/04/16 kyokka okuva olwo tewali kigenda mu maaso.”

Nnaabakyala Nnaalongo Christine yagambye nti yali wuwe n’awulira akanyoolagano ewa Namagga, yagenda okulaba ng’abasajja abaali bamukolako effujjo badduka. Mu bbanga ttono ate abaserikale ba poliisi e Kajjansi ne bajja nga baagala kukwata Namagga.

 

EDWARD KULUBAIJA

Ye ssentebe bwe nayogeddeko naye ku nsonga ya poliisi y’e Kajjansi okutulugunya abatuuze yagambye: Owa poliisi lwe yakola effujjo ku mutuuze wange saaliwo naye bwe bantegeeza nakwatagana ne bba w’omukyala ono Henry Kakuba ne tugenda ku poliisi n’omukyala eyali akubiddwa.

Kyanneewuunyisa kubanga ssinga abatuuze tebaalemesa ba poliisi kutwala Namagga, yandibadde yasibwa!

Bwe nayogeddeko n’atwala poliisi eno, Rwankas Kiconco yangambye nti Asiimwe si wa poliisi wabula muyaaye era naye amunoonya!

JOHN SSEBUNNYA

Ono wa byakwerinda mu Kajjansi: Twali twesanyusaamu n’abatuuze abalala nga mwenda, obudde bwali bwa kiro. Ebiseera byali bya byabufuzi ng’aba miritale balawuna.

Baatusanga tunywamu ne batutawaanya. Nagezaako okubategeeza nti ndi wa byakwerinda ne batuvaako. Kyokka mu bbanga ttono ne wajja omusajja n’atandika okuwamba omwenge gwaffe nga bw’agunya ku bweerere, bwe twamunenya yatugamba nti ye muserikale.

Nakubira owa poliisi, Nsereko ne mmutegeeza embeera eyaliwo. Nsereko yajja n’amugamba nti engeri gy’ali owa poliisi, si kirungi kukola ffujjo.

Omuserikale oyo twali tulowooza akooye, naye waayitawo eddakiika ntono n’akomawo ng’ayambadde ekikooti kya poliisi eky’ebibomboola, ng’akutte n’emmundu.

Olwatutuukako n’atusongamu emmundu n’agamba, ‘kati abanzigyeko omwenge musabe essaala ezisembayo!’.

Mu kanyoolagano akaddirira, Asiimwe yaluma Nsereko olugalo kumpi kulukutulako nange n’annuma ku kugulu. Abapoliisi abalala we bajjira ne batutaasa ng'embeera esajusse!

Ekyatwewuunyisa kwe kulaba ng’omuserikale ono enkeera baamuta nga tavunaaniddwa musango gwonna newankubadde nga Nsereko yamuggulako omusango. Ffe olwalaba nga bavuluze owa poliisi munnaabwe, tetwatawaana kuggulawo misango!

Nagezaako okubuuliriza ku wa poliisi ono ne bangamba nti akolera ku poliisi ya CPS naye ate asiiba Kajjansi!” Owa poliisi Nsereko bwe namubuuzizza ku nsonga zino yagambye nti ye yaziwaayo mu bakama be.

 

SAMUEL KIWANUKA

Mu March w’omwaka guno, abasajja bajja ne banona kuleeti ya bbiya mu dduuka lyange. Waayitawo ekiseera omwana n'agenda aginoneyo ne bagaana okugimuwa. Nze bwe nagendayo ndabe abasajja abalemedde kuleeti yange, bwe nayingira mu kabaala, abasajja bataano be nategeera oluvannyuma nti baali ba poliisi nga Asiimwe y’abakulembera ne banzigalira ne batandika okunkuba.

Abaliraanye ebbaala eno, badduka ne bagenda ku poliisi e Kajjansi ne baleeta abaserikale abantaasa ku bannaabwe.

Naggulawo omusango ku poliisi e Kajjansi ne nfuna n'ebbaluwa z'abasawo naye natambula ebbanga ng’omusango gwe nawaaba tegutambula okutuusa aba poliisi abamu bwe bangamba nti mbiveeko kubanga oli nali nvunaana munnaabwe!

JONATHAN NDEKA

Bwe baatandika okukuba Kiwanuka, nayanguwa okuyita aba poliisi abajja ne bamutaasa. Wabula simanyi ngeri Asiimwe gye yategeera nti nze nayita banne, waayitawo akaseera katono n’ajja n'andabula bwe yali agenda okunkolako olw’okweyingiza mu nsonga ezitankwatako!

Kino teyakyogera mulundi gumu, kwe kwekubira enduulu ku poliisi y'e Kajjansi kyokka tebanfaako. Nagendako ne ku poliisi ya CPS e Kampala era nabo ensonga zange bazimanyiiko.

DPC RWANKAS KICONCO

Bwe namubuuzizza ekibagaanye okukwata Asiimwe yantegeezezza: Mu baserikale bange sirinaamu Joshua Asiimwe naye nsindikira abo abamwemulugunyaako kubanga nange mmunoonya naye si wapoliisi, oyo muyaaye!

RPC ANDREW KAGGWA

Nabuzizza omuduumizi wa poliisi mu maserengeta ga Kampala ku nneeyisa y’owa poliisi eno n’agamba: ngenda kukola ekisoboka tutereeze ensonga zino kubanga nze mbadde sikimanyi.

FRED ENANGA

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye: Abeemulugunya bagende mu kitongole ekikangavvula aba poliisi empisa ekya PSU bwe baba nga balina ennamba z'omusango kwe baaloopera bayambibwe.

Ebibuuzo

1. Oba Asiimwe si wa poliisi, lwaki asula mu nkambi y'aba poliisi e Kajjansi?

2. Dpc Kiconco asobola okunoonya Asiimwe n'amubula ebbanga eryo lyonna kyokka ng’asiiba mu layini ng’anywa omwenge ate ng’asula mu nkambi yaabwe?

3. Munene ki mu poliisi awaga Asiimwe alemesa amateeka okumukolako?